LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi ayenda ku Basuseba (1-13)

      • Dawudi akola olukwe Uliya attibwe (14-25)

      • Dawudi atwala Basuseba okuba mukazi we (26, 27)

2 Samwiri 11:1

Marginal References

  • +2Sa 12:26
  • +1By 20:1

2 Samwiri 11:2

Footnotes

  • *

    Oba, “olw’eggulo ennyo.”

  • *

    Oba, “lubiri.”

2 Samwiri 11:3

Marginal References

  • +2Sa 12:24; 1Sk 1:11
  • +1By 3:5, 9
  • +2Sa 23:8, 39; 1Sk 15:5
  • +Lub 10:15; Ma 20:17

2 Samwiri 11:4

Footnotes

  • *

    Oboolyawo yali yaakava mu nsonga.

Marginal References

  • +Kuv 20:14, 17
  • +Lev 18:20; 20:10; Nge 6:32; Beb 13:4
  • +Lev 12:2; 15:19; 18:19

2 Samwiri 11:8

Footnotes

  • *

    Obut., “onaabe ebigere byo.”

  • *

    Oba, “omugabo gwa kabaka,” kwe kugamba, omugabo akyazizza gw’aweereza omugenyi ow’ekitiibwa.

2 Samwiri 11:11

Marginal References

  • +2Sa 6:17; 7:2
  • +Lev 15:16; 1Sa 21:5

2 Samwiri 11:15

Marginal References

  • +Zb 51:14; Nge 3:29

2 Samwiri 11:17

Marginal References

  • +2Sa 12:9

2 Samwiri 11:21

Marginal References

  • +Bal 9:50-53
  • +Bal 6:32; 7:1

2 Samwiri 11:24

Marginal References

  • +2Sa 11:17

2 Samwiri 11:25

Marginal References

  • +2Sa 12:26

2 Samwiri 11:27

Footnotes

  • *

    Obut., “kyali kibi nnyo mu maaso ga.”

Marginal References

  • +2Sa 5:13; 12:9
  • +Lub 39:7-9; 1Sk 15:5; Zb 5:6; 11:4; Beb 13:4

General

2 Sam. 11:12Sa 12:26
2 Sam. 11:11By 20:1
2 Sam. 11:32Sa 12:24; 1Sk 1:11
2 Sam. 11:31By 3:5, 9
2 Sam. 11:32Sa 23:8, 39; 1Sk 15:5
2 Sam. 11:3Lub 10:15; Ma 20:17
2 Sam. 11:4Kuv 20:14, 17
2 Sam. 11:4Lev 18:20; 20:10; Nge 6:32; Beb 13:4
2 Sam. 11:4Lev 12:2; 15:19; 18:19
2 Sam. 11:112Sa 6:17; 7:2
2 Sam. 11:11Lev 15:16; 1Sa 21:5
2 Sam. 11:15Zb 51:14; Nge 3:29
2 Sam. 11:172Sa 12:9
2 Sam. 11:21Bal 9:50-53
2 Sam. 11:21Bal 6:32; 7:1
2 Sam. 11:242Sa 11:17
2 Sam. 11:252Sa 12:26
2 Sam. 11:272Sa 5:13; 12:9
2 Sam. 11:27Lub 39:7-9; 1Sk 15:5; Zb 5:6; 11:4; Beb 13:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 11:1-27

2 Samwiri

11 Ku ntandikwa y’omwaka, ekiseera bakabaka we bagendera okutabaala, Dawudi yasindika Yowaabu n’abaweereza be n’eggye lya Isirayiri lyonna okuzikiriza Abaamoni, era ne bazingiza Labba,+ nga Dawudi asigadde e Yerusaalemi.+

2 Lwali lumu akawungeezi* Dawudi n’ava ku kitanda kye, n’atambulatambula waggulu ku nnyumba* ya kabaka. Bwe yali waggulu ku nnyumba n’alengera omukazi ng’anaaba, era omukazi oyo yali alabika bulungi nnyo. 3 Dawudi n’atuma omuntu abuulirize ebikwata ku mukazi oyo, omuntu oyo n’amugamba nti: “Oyo si ye Basu-seba+ muwala wa Eriyaamu+ era mukyala wa Uliya+ Omukiiti?”+ 4 Awo Dawudi n’atuma ababaka bamumuleetere.+ Omukazi n’agenda eri Dawudi, Dawudi ne yeebaka naye.+ (Ekyo kyaliwo mu kiseera omukazi oyo kye yali yeetukulizaamu obutali bulongoofu bwe.*)+ Oluvannyuma omukazi yaddayo ewuwe.

5 Omukazi oyo yafuna olubuto, era n’aweereza obubaka eri Dawudi ng’amugamba nti: “Ndi lubuto.” 6 Awo Dawudi n’aweereza Yowaabu obubaka ng’amugamba nti: “Nsindikira Uliya Omukiiti.” Yowaabu n’asindika Uliya eri Dawudi. 7 Uliya bwe yatuuka eri Dawudi, Dawudi n’amubuuza Yowaabu n’abasirikale bwe baali, era n’olutalo bwe lwali lugenda. 8 Oluvannyuma Dawudi yagamba Uliya nti: “Genda mu nnyumba yo owummuleko.”* Uliya bwe yava mu nnyumba ya kabaka n’agenda, kabaka n’amugobereza ekirabo.* 9 Kyokka Uliya yasula ku mulyango oguyingira mu nnyumba ya kabaka n’abaweereza ba mukama we abalala bonna, era teyagenda mu nnyumba ye. 10 Ne bategeeza Dawudi nti: “Uliya teyagenze mu nnyumba ye.” Awo Dawudi n’agamba Uliya nti: “Wabadde waakakomawo okuva ku lugendo. Lwaki tewagenze mu nnyumba yo?” 11 Awo Uliya n’addamu Dawudi nti: “Essanduuko+ n’abantu ba Isirayiri n’aba Yuda basula mu weema, ne mukama wange Yowaabu n’abaweereza ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nze nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya n’okunywa n’okwebaka ne mukazi wange?+ Nga bw’oli omulamu, ekyo sijja kukikola!”

12 Dawudi n’agamba Uliya nti: “Sigala wano n’olwa leero, enkya nja kukusiibula ogende.” Awo Uliya n’asigala mu Yerusaalemi ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira. 13 Dawudi n’atumya Uliya agende gy’ali alye era anywere wamu naye, era n’amutamiiza. Kyokka akawungeezi Uliya n’agenda ne yeebaka mu buliri bwe awamu n’abaweereza ba mukama we, era teyagenda mu nnyumba ye. 14 Ku makya Dawudi yawandiikira Yowaabu ebbaluwa n’agiwa Uliya agimutwalire. 15 Mu bbaluwa eyo yawandiika nti: “Muteeke Uliya mu maaso awali okulwana okw’amaanyi, oluvannyuma mumwabulire, bamufumite afe.”+

16 Yowaabu yali yeetegerezza bulungi ekibuga, era yateeka Uliya mu kifo we yali amanyi nti waliwo abalwanyi ab’amaanyi. 17 Abasajja b’omu kibuga bwe baafuluma ne balwanyisa Yowaabu, abamu ku baweereza ba Dawudi battibwa, nga mw’otwalidde ne Uliya Omukiiti.+ 18 Awo Yowaabu n’ategeeza Dawudi amawulire gonna agakwata ku lutalo. 19 Yagamba omubaka nti: “Bw’onooba omaze okutegeeza kabaka amawulire gonna agakwata ku lutalo, 20 kabaka ayinza okusunguwala n’akugamba nti, ‘Lwaki mwasemberera nnyo ekibuga nga mukirwanyisa? Temwamanya nti bandibalasizza obusaale nga bayima waggulu ku bbugwe? 21 Ani yatta Abimereki+ mutabani wa Yerubbesesi?+ Omukazi si ye yamusuulako enso ng’ayima waggulu ku bbugwe, n’afiira e Sebezi? Lwaki mwasemberera nnyo bbugwe?’ Awo n’olyoka omugamba nti, ‘N’omuweereza wo Uliya Omukiiti yafudde.’”

22 Awo omubaka n’agenda n’ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yali amutumye okumutegeeza. 23 Omubaka n’agamba Dawudi nti: “Abasajja baabwe baatusinzizza amaanyi, era baafulumye okutulwanyisa ku ttale, naye ne tubazzaayo okutuukira ddala ku mulyango oguyingira mu kibuga. 24 Abalasi b’obusaale baabadde balasa abaweereza bo nga bayima waggulu ku bbugwe, era abamu ku baweereza ba kabaka baafudde; omuweereza wo Uliya Omukiiti naye yafudde.”+ 25 Awo Dawudi n’agamba omubaka nti: “Bw’oti bw’onoogamba Yowaabu: ‘Ekyo kireme kukweraliikiriza, kubanga omuntu yenna asobola okufiira mu lutalo. Weeyongere okulwanyisa ekibuga okiwambe.’+ Ate era muzzeemu amaanyi.”

26 Muka Uliya bwe yawulira nti bba Uliya afudde, n’amukungubagira. 27 Ekiseera eky’okukungubaga olwali okuggwaako, Dawudi n’atumya Basu-seba n’amutwala mu nnyumba ye, n’afuuka mukazi we,+ era n’amuzaalira omwana ow’obulenzi. Naye ekintu Dawudi kye yakola kyanyiiza nnyo* Yakuwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share