1 Ebyomumirembe Ekisooka
3 Bano be baana ba Dawudi ab’obulenzi abaamuzaalirwa mu Kebbulooni:+ omubereberye yali Amunoni+ era nnyina ye yali Akinowamu+ ow’e Yezuleeri; ow’okubiri yali Danyeri era nnyina ye yali Abbigayiri+ Omukalumeeri; 2 ow’okusatu yali Abusaalomu+ mutabani wa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka wa Gesuli; ow’okuna yali Adoniya+ mutabani wa Kaggisi; 3 ow’okutaano yali Sefatiya era nnyina ye yali Abitali; ow’omukaaga yali Isuleyamu era nnyina ye yali Egula mukazi wa Dawudi. 4 Abaana abaamuzaalirwa mu Kebbulooni baali mukaaga; eyo yafugirayo emyaka 7 n’emyezi 6, ate mu Yerusaalemi n’afugirayo emyaka 33.+
5 Bano be yazaalira mu Yerusaalemi:+ Simeeya, Sobabu, Nasani,+ ne Sulemaani;+ abana abo baali ba Basu-seba+ muwala wa Ammiyeri. 6 Ate abalala omwenda be bano: Ibukali ne Erisaama ne Erifereti 7 ne Noga ne Nefegi ne Yafiya 8 ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti. 9 Abo bonna be baana ba Dawudi nga totaddeeko baana ba bazaana, era mwannyinaabwe yali ayitibwa Tamali.+
10 Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,+ Lekobowaamu yazaala Abiya,+ Abiya n’azaala Asa,+ Asa n’azaala Yekosafaati,+ 11 Yekosafaati n’azaala Yekolaamu,+ Yekolaamu n’azaala Akaziya,+ Akaziya n’azaala Yekowaasi,+ 12 Yekowaasi n’azaala Amaziya,+ Amaziya n’azaala Azaliya,+ Azaliya n’azaala Yosamu,+ 13 Yosamu n’azaala Akazi,+ Akazi n’azaala Keezeekiya,+ Keezeekiya n’azaala Manase,+ 14 Manase n’azaala Amoni,+ Amoni n’azaala Yosiya.+ 15 Abaana ba Yosiya be bano: omubereberye Yokanani, ow’okubiri Yekoyakimu,+ ow’okusatu Zeddeekiya,+ ow’okuna Salumu. 16 Omwana* wa Yekoyakimu yali Yekoniya.+ Yekoniya yazaala Zeddeekiya. 17 Abaana Yekoniya be yazaala nga musibe be bano: Seyalutyeri, 18 Malukiramu, Pedaya, Senazzali, Yekamiya, Kosama, ne Nedabiya. 19 Abaana ba Pedaya be bano: Zerubbaberi+ ne Simeeyi. Abaana ba Zerubbaberi be bano: Mesulamu ne Kananiya (ne Seromisi mwannyinaabwe); 20 ate abataano abalala be bano: Kasuba, Okeri, Berekiya, Kasadiya ne Yusabu-kesedi. 21 Abaana ba Kananiya be bano: Peratiya ne Yesukaya. Omwana* wa Yesukaya yali Lefaya. Omwana* wa Lefaya yali Alunani. Omwana* wa Alunani yali Obadiya. Omwana* wa Obadiya yali Sekaniya. 22 Abaana ba Sekaniya be bano: Semaaya n’abaana be (Kattusi, Igali, Baliya, Neyaliya, ne Safati)—bonna awamu baali abaana mukaaga. 23 Abaana ba Neyaliya be bano: Eriwenayi, Kizukiya, ne Azulikamu; baali basatu. 24 Abaana ba Eriwenayi be bano: Kodaviya, Eriyasibu, Peraya, Akkubu, Yokanani, Deraya, ne Anani; baali musanvu.