LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 41
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Isimayiri atta Gedaliya (1-10)

      • Isimayiri adduka ku Yokanani (11-18)

Yeremiya 41:1

Footnotes

  • *

    Obut., “ow’omu zzadde ly’obwakabaka.”

Marginal References

  • +2Sk 25:23; Yer 40:14
  • +2Sk 25:25

Yeremiya 41:5

Marginal References

  • +1Sk 12:1
  • +Yos 18:1
  • +1Sk 16:23, 24
  • +Lev 19:27, 28; Ma 14:1
  • +Lev 2:1

Yeremiya 41:9

Marginal References

  • +1Sk 15:22; 2By 16:6

Yeremiya 41:10

Marginal References

  • +Yer 40:12
  • +Yer 40:7
  • +Yer 40:14

Yeremiya 41:11

Marginal References

  • +Yer 40:13; 43:2

Yeremiya 41:12

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekidiba ekinene.”

Yeremiya 41:14

Marginal References

  • +Yer 40:6

Yeremiya 41:16

Marginal References

  • +Yer 41:2

Yeremiya 41:17

Marginal References

  • +Lub 35:19
  • +2Sk 25:26; Yer 42:14; 43:7

Yeremiya 41:18

Marginal References

  • +Yer 41:2

General

Yer. 41:12Sk 25:23; Yer 40:14
Yer. 41:12Sk 25:25
Yer. 41:51Sk 12:1
Yer. 41:5Yos 18:1
Yer. 41:51Sk 16:23, 24
Yer. 41:5Lev 19:27, 28; Ma 14:1
Yer. 41:5Lev 2:1
Yer. 41:91Sk 15:22; 2By 16:6
Yer. 41:10Yer 40:12
Yer. 41:10Yer 40:7
Yer. 41:10Yer 40:14
Yer. 41:11Yer 40:13; 43:2
Yer. 41:14Yer 40:6
Yer. 41:16Yer 41:2
Yer. 41:17Lub 35:19
Yer. 41:172Sk 25:26; Yer 42:14; 43:7
Yer. 41:18Yer 41:2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 41:1-18

Yeremiya

41 Mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri+ mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama, eyali ow’omu lulyo olulangira* era eyali omu ku bakungu ba kabaka yagenda n’abasajja abalala kkumi eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa.+ Bwe baali baliira wamu ekijjulo e Mizupa, 2 Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja ekkumi abaali naye ne basituka ne batta Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’ekitala. Bw’atyo n’atta oyo kabaka wa Babulooni gwe yali alonze okufuga Yuda. 3 Isimayiri era yatta n’Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya mu Mizupa, awamu n’abasirikale Abakaludaaya abaaliyo.

4 Ku lunaku olw’okubiri nga Gedaliya amaze okuttibwa, nga tewannabaawo akitegeddeko, 5 abasajja 80 bajja nga bava e Sekemu,+ e Siiro,+ n’e Samaliya.+ Baali basazeeko ebirevu byabwe, nga bayuzizza ebyambalo byabwe, nga beesaze emisale,+ era nga balina ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’obubaani obweru+ eby’okutwala mu nnyumba ya Yakuwa. 6 Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’ava mu Mizupa n’agenda okubasisinkana, ng’agenda akaaba. Bwe yabatuukako n’abagamba nti: “Mujje eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.” 7 Naye bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne babatta ne babasuula mu luzzi.

8 Naye mu bo mwalimu abasajja kkumi abaagamba Isimayiri nti: “Totutta, kubanga tulina emmere gye tukwese ku ttale: eŋŋaano, ssayiri, amafuta g’ezzeyituuni, n’omubisi gw’enjuki.” Awo bo n’abaleka n’atabattira wamu ne baganda baabwe. 9 Isimayiri yasuula emirambo gyonna egy’abasajja be yali asse mu luzzi olunene, Kabaka Asa lwe yasima bwe yali ng’atiisibwatiisibwa Kabaka Baasa owa Isirayiri.+ Olwo lwe luzzi Isimayiri mutabani wa Nesaniya lwe yajjuza emirambo gy’abasajja abattibwa.

10 Isimayiri yawamba abantu abalala bonna abaali mu Mizupa,+ nga mw’otwalidde ne bawala ba kabaka n’abantu bonna abaali basigadde mu Mizupa, Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi be yali akwasizza Gedaliya+ mutabani wa Akikamu. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yabawamba n’agenda eri Abaamoni.+

11 Yokanani+ mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna bwe baawulira ebintu ebibi byonna Isimayiri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze, 12 ne bagenda n’abasajja bonna okulwanyisa Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne bamusanga awali amazzi amangi* mu Gibiyoni.

13 Abantu bonna abaali ne Isimayiri ne basanyuka bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye. 14 Awo abantu bonna Isimayiri be yali awambye mu Mizupa+ ne bakyuka ne baddayo ne Yokanani mutabani wa Kaleya. 15 Naye Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be munaana ne badduka ku Yokanani ne bagenda eri Abaamoni.

16 Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye baagenda n’abantu abalala abaava e Mizupa, be baanunula mu mukono gwa Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya+ mutabani wa Akikamu. Baakomyawo okuva e Gibiyoni abasajja, abasirikale, abakazi, abaana, n’abakungu b’omu lubiri. 17 Awo ne bagenda ne babeera mu kisulo kya Kimamu okumpi n’e Besirekemu,+ nga bateekateeka okugenda e Misiri+ 18 olw’okutya Abakaludaaya, olw’okuba Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse n’ekitala Gedaliya mutabani wa Akikamu, kabaka wa Babulooni gwe yali alonze okufuga Yuda.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share