LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Essanduuko eggibwa e Kiriyasu-yalimu (1-14)

        • Uzza afa (9, 10)

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:1

Marginal References

  • +1By 15:25

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:2

Marginal References

  • +Kbl 35:2

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:3

Marginal References

  • +1Sa 7:2
  • +1Sa 14:18

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:5

Footnotes

  • *

    Oba, “okuva e Sikoli.”

  • *

    Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”

Marginal References

  • +Kbl 34:2, 8
  • +1Sa 6:21-7:1; 2Sa 6:1, 2; 1By 15:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2005, lup. 10

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:6

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “wakati wa.”

Marginal References

  • +Yos 15:9, 12
  • +Kuv 25:22; Kbl 7:89; 1Sa 4:4; 2Sa 6:2

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:7

Marginal References

  • +Kuv 37:5
  • +2Sa 6:3-8

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:8

Marginal References

  • +Kuv 15:20
  • +1By 25:1
  • +2By 5:13

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:10

Marginal References

  • +Kbl 4:15
  • +Lev 10:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2005, lup. 31-32

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:11

Footnotes

  • *

    Oba, “n’anakuwala.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2005, lup. 11

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:12

Marginal References

  • +2Sa 6:9-11

1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:14

Marginal References

  • +Lub 30:27; 39:5

General

1 Byom. 13:11By 15:25
1 Byom. 13:2Kbl 35:2
1 Byom. 13:31Sa 7:2
1 Byom. 13:31Sa 14:18
1 Byom. 13:5Kbl 34:2, 8
1 Byom. 13:51Sa 6:21-7:1; 2Sa 6:1, 2; 1By 15:3
1 Byom. 13:6Yos 15:9, 12
1 Byom. 13:6Kuv 25:22; Kbl 7:89; 1Sa 4:4; 2Sa 6:2
1 Byom. 13:7Kuv 37:5
1 Byom. 13:72Sa 6:3-8
1 Byom. 13:8Kuv 15:20
1 Byom. 13:81By 25:1
1 Byom. 13:82By 5:13
1 Byom. 13:10Kbl 4:15
1 Byom. 13:10Lev 10:1, 2
1 Byom. 13:122Sa 6:9-11
1 Byom. 13:14Lub 30:27; 39:5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:1-14

1 Ebyomumirembe Ekisooka

13 Awo Dawudi n’ayogera n’abaali bakulira enkumi n’abakulira ebikumi na buli mukulu;+ 2 Dawudi n’agamba ekibiina kya Isirayiri kyonna nti: “Bwe kiba nga kirungi gye muli era nga Yakuwa Katonda waffe akikkiriza, ka tutumye baganda baffe abasigaddeyo mu bitundu byonna ebya Isirayiri ne bakabona n’Abaleevi abali mu bibuga byabwe+ ebiriko amalundiro bajje batwegatteko, 3 tuleete Essanduuko+ ya Katonda waffe.” Kubanga baali tebagifuddeeko mu kiseera kya Sawulo.+ 4 Ekibiina kyonna ne kikkiriza okukola bwe kityo, kubanga abantu bonna baakiraba nga kirungi. 5 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Isirayiri yonna okuva ku mugga* gw’e Misiri okutuuka e Lebo-kamasi,*+ baleete Essanduuko ya Katonda ow’amazima okuva e Kiriyasu-yalimu.+

6 Awo Dawudi ne Isirayiri yonna ne bagenda e Bbaala,+ e Kiriyasu-yalimu ekya Yuda, okuggyayo Essanduuko ya Katonda ow’amazima atuula waggulu wa* bakerubi,+ Essanduuko abantu we bakoowoolera erinnya lya Yakuwa. 7 Naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima baagitambuliza ku kigaali ekipya+ nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu, era Uzza ne Akiyo be baali abagoba b’ekigaali.+ 8 Dawudi ne Isirayiri yonna baali bajaganya mu maaso ga Katonda ow’amazima n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba, nga bakuba entongooli, ebivuga eby’enkoba ebirala, obugoma obutono,+ ebitaasa,+ n’amakondeere.+ 9 Naye bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata Essanduuko kubanga ente zaali zigenda kugisuula. 10 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Uzza, n’amutta kubanga yagolola omukono gwe okukwata Essanduuko;+ n’afiira awo mu maaso ga Katonda.+ 11 Dawudi n’asunguwala* olw’okuba obusungu bwa Yakuwa bwali bubuubuukidde Uzza; ekifo ekyo ne kituumibwa Pereezi-uzza n’okutuusa leero.

12 Dawudi n’atya Katonda ow’amazima ku lunaku olwo, n’agamba nti: “Nnyinza ntya okutwala Essanduuko ya Katonda ow’amazima gye mbeera?”+ 13 Essanduuko Dawudi n’atagitwala gye yali abeera mu Kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obedi-edomu Omugitti. 14 Essanduuko ya Katonda ow’amazima n’ebeera n’ab’ennyumba ya Obedi-edomu. N’ebeera mu nnyumba ye okumala emyezi esatu; Yakuwa n’awa omukisa ab’ennyumba ya Obedi-edomu ne byonna bye yalina.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share