Mikka
2 “Zibasanze abo abayiiya ebintu ebibi,
Abalowooza okukola ebibi nga bali ku bitanda byabwe!
Bwe bukya ku makya ne babikola,
Olw’okuba balina amaanyi n’obusobozi okubikola.+
2 Beegomba ebibanja ne babinyaga,+
N’amayumba ne bagatwala;
Omusajja bamutwalako ennyumba ye,+
Bamutwalako obusika bwe.
3 N’olwekyo bw’ati Yakuwa bw’agamba:
‘Laba nteekateeka okuleeta akabi ku bantu bano,+ akabi ke mutaliyinza kwewala.+
Muliba temukyatambuza malala+ kubanga kiriba kiseera kizibu nnyo.+
4 Ku lunaku olwo abantu baligera olugero olubakwatako mmwe,
Era balibayimbira oluyimba olw’okukungubaga.+
Baligamba nti: “Tuzikiridde!+
Omugabo gw’abantu bange aguwaanyisizza—agunzigyeeko!+
Ebibanja byaffe abigabidde atali mwesigwa.”
5 Toliba na muntu mu kibiina kya Yakuwa aleega omuguwa ogupima,
Okusobola okugabanyaamu ensi.
6 “Mulekere awo okubuulira!” babuulira,
“Tebalina kubuulira bintu bino;
Tetuliswazibwa!”
7 Ggwe ennyumba ya Yakobo, abantu bagamba nti:
“Omwoyo gwa Yakuwa tegukyagumiikiriza?
Bino bye bikolwa bye?”
Abo abatambulira mu bugolokofu ebigambo byange tebibaleetera ebirungi?
8 Jjuuzi abantu bange baafuuka ng’abalabe.
Musika kyeere ebintu eby’omuwendo ku byambalo*
By’abo abatambula nga tebalina kye batya, nga bali ng’abo abava mu lutalo.
9 Mugoba abakazi ab’omu bantu bange mu mayumba mwe beeyagalira.
Abaana baabwe mubaggyako ebintu ebirungi bye mba mbawadde era temubibaddiza.
10 Yimuka ogende, kubanga kino si kifo kya kuwummuliramu.
Olw’obutali bulongoofu,+ wajja kubaawo okuzikiriza, okuzikiriza okw’amaanyi.+
11 Omuntu bw’agoberera empewo n’obulimba era n’alimba ng’agamba nti:
“Nja kukubuulira ebikwata ku nvinnyo n’ebitamiiza,”
Olwo oyo y’aba omubuulizi w’abantu bano!+
Kabaka waabwe aliyitamu ng’abakulembeddemu,
Era Yakuwa alibeera mu maaso gaabwe.”+