Mikka
Olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa+
Lulinywezebwa waggulu w’ensozi,
Era luligulumizibwa okusinga obusozi,
Era abantu okuva mu mawanga balyekuluumululira okwo.+
2 Amawanga mangi galigenda ne gagamba nti:
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa
Ku nnyumba ya Katonda wa Yakobo.+
Anaatuyigiriza amakubo ge,
Era tunaatambulira mu mpenda ze.”
Kubanga etteeka* liriva mu Sayuuni,
N’ekigambo kya Yakuwa kiriva mu Yerusaalemi.
Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi,
N’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo.+
Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo,
Era tebaliyiga kulwana nate.+
4 Buli muntu alituula* wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,+
Era tewalibaawo n’omu abatiisa,+
Kubanga akamwa ka Yakuwa ow’eggye ke kakyogedde.
5 Buli ggwanga linaatambuliranga mu linnya lya katonda waalyo,
Naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe+ emirembe n’emirembe.
6 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Ku lunaku olwo
Ndikuŋŋaanya abantu abaali bawenyera;
Ndikuŋŋaanya abaasaasaana+
Awamu n’abo be nnabonereza.
7 Abo abaali bawenyera ndibalekawo ng’ensigalira,+
Abaali baatwalibwa ewala ndibafuula eggwanga ery’amaanyi.+
Okuva olwo Yakuwa alibafuga nga kabaka ku Lusozi Sayuuni
Emirembe n’emirembe.
8 Ggwe omunaala gw’ekisibo,
Akasozi ka muwala wa Sayuuni,+
Obufuzi obwasooka* bulikuddira,+
Obwakabaka bwa muwala wa Yerusaalemi.+
9 Lwaki oleekaana?
Tolina kabaka?
Oba oyo akuwa amagezi asaanyeewo?
Eyo ye nsonga lwaki oli mu bulumi ng’obw’omukazi azaala?+
10 Ggwe muwala wa Sayuuni, wenyoole era osinde
Ng’omukazi azaala,
Kubanga ojja kuva mu kibuga ogende obeere ku ttale.
Ojja kugenda e Babulooni,+
Eyo gy’olinunulibwa;+
Era eyo Yakuwa gy’alikugula mu mukono gw’abalabe bo.+
11 Amawanga mangi galikuŋŋaana okukulwanyisa,
Galigamba nti, ‘Ka kyonoonebwe,
Era amaaso gaffe ka galabe kino nga kituuka ku Sayuuni.’
12 Naye tegamanyi birowoozo bya Yakuwa,
Tegategeera kigendererwa kye;
Kubanga aligakuŋŋaanya ng’ebinywa by’emmere ey’empeke eyaakakungulwa n’agatwala mu gguuliro.