Mikka
1 Ekigambo kya Yakuwa ekyajjira Mikka*+ ow’e Moleseesi mu kiseera kya Yosamu,+ Akazi,+ ne Keezeekiya,+ bakabaka ba Yuda;+ ekigambo kye yafuna mu kwolesebwa ekikwata ku Samaliya ne Yerusaalemi:
2 “Muwulire mmwe amawanga mmwenna!
Ssaayo omwoyo ggwe ensi ne byonna ebikuliko,
Era Yakuwa Mukama Afuga Byonna k’abalumirize+
—Yakuwa ng’ayima mu yeekaalu ye entukuvu.
3 Laba! Yakuwa ava mu kifo kye,
Ajja kukka alinnyirire ebifo by’ensi ebigulumivu.
4 Ensozi zirisaanuukira wansi we,+
N’ebiwonvu* biryeyasaamu;
Biriba ng’envumbo esaanuuka olw’omuliro,
Era ng’amazzi agayiibwa ku kaserengeto.
5 Ebyo byonna biribaawo olw’obujeemu bwa Yakobo,
Olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.+
Ani avunaanyizibwa olw’obujeemu bwa Yakobo?
6 Ndifuula Samaliya entuumu y’ebifunfugu mu ttale,
Ekifo eky’okusimbamu emizabbibu;
Ndiyiwa amayinja ge mu kiwonvu,
Era ndyerula emisingi gye.
7 Ebifaananyi bye byonna ebyole birimenyebwamenyebwa,+
Era ebirabo byonna bye yafuna mu kwetunda* biryokebwa omuliro.+
Ndizikiriza ebifaananyi bye byonna.
Kubanga yabifuna mu ssente ze yasasulwanga mu bwamalaaya,
Era biritwalibwa awalala okusasula bamalaaya.”
Ndiwoowoola ng’ebibe,
Era ndikaaba nga mmaaya.
Era kituuse ne ku mulyango gw’abantu bange; kituuse e Yerusaalemi.+
10 “Temukirangirira mu Gaasi;
Era temukaaba.
Mwevulunge mu nfuufu mu Besu-afula.*
11 Mmwe ababeera* mu Safiri mugende mu buwaŋŋanguse nga muli bukunya era nga muswadde.
Abo ababeera* e Zanani tebafulumye.
Mu Besu-ezeri walibaayo okukuba ebiwoobe, era kirirekera awo okubayamba.
12 Abo ababeera* e Malosi babadde balindiridde birungi,
Naye ebibi bye bivudde eri Yakuwa ne bijja ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13 Musibe amagaali ku mbalaasi mmwe ababeera* e Lakisi.+
Mmwe mwali entandikwa y’okwonoona kwa muwala wa Sayuuni,
Kubanga obujeemu bwa Isirayiri bwasangibwa mu mmwe.+
14 Eyo ye nsonga lwaki muliwa Moleseesi-gaasi ebirabo ng’agenda.*
Ennyumba za Akuzibu+ zaali ng’ekintu eky’obulimba eri bakabaka ba Isirayiri.
15 Mmwe ababeera* e Malesa,+ ndibaleetera oyo awamba.+
Ekitiibwa kya Isirayiri kirituukira ddala mu Adulamu.+
16 Salako enviiri zo era omwe omutwe gwo olw’abaana bo b’oyagala ennyo.
Ekiwalaata kyo kigaziye kibeere ng’eky’empungu,
Kubanga bakuggiddwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.”+