Oluyimba lwa Sulemaani
7 “Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,
Ggwe omuwala ow’omutima omulungi!
Ebisambi byo ebyakula obulungi biringa amajolobero,
Agaakolebwa omukugu.
2 Ekkundi lyo kibya ekyekulungirivu.
Ka kiremenga kubulamu mwenge omutabule.
Olubuto lwo lulinga entuumu y’eŋŋaano,
Eyeetooloddwa amalanga.
3 Amabeere go gombi galinga enjaza ento,
Abaana b’enjaza abalongo.+
4 Ensingo yo+ eringa omunaala ogw’amasanga.+
Ennyindo yo eringa omunaala gwa Lebanooni,
Ogutunudde e Ddamasiko.
Kabaka asikirizibwa enviiri zo empanvu era ezirabika obulungi.
6 Ng’olabika bulungi era ng’osanyusa!
Ggwe omuwala gwe njagala, osinga ebirala byonna ebisanyusa.
7 Wawanvuwa ng’olukindu,
N’amabeere go galinga ebirimba by’entende.+
8 Nnagamba nti, ‘Nja kulinnya olukindu,
Nnoge ebibala byalwo.’
Amabeere go ka gabeere ng’ebirimba by’ezzabbibu,
N’akawoowo k’omukka gw’ossa ka kabeere ng’aka apo,
9 N’akamwa ko* ka kabeere ng’omwenge ogusingayo obulungi.”
“Ka gukkirire bulungi mu mumiro gw’omwagalwa wange,
Guyite mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10 Nze ndi wa mwagalwa wange,+
Era nze gw’ayagala.
12 Tukeere tugende mu nnimiro y’emizabbibu,
Tulabe obanga emizabbibu gireese emitunsi,
Tulabe obanga ebimuli byanjuluzza,+
Tulabe obanga enkomamawanga zaanyizza.+
Eyo gye nnaakulagira omukwano.+