Koseya
12 “Efulayimu alya mpewo.
Olunaku lwonna agoba mpewo ey’ebuvanjuba.
Ayitiriza okulimba n’okukola ebikolwa eby’obukambwe.
Bakola endagaano ne Bwasuli,+ era batwala amafuta e Misiri.+
2 Yakuwa alina ky’avunaana Yuda;+
Ajja kubonereza Yakobo ng’amakubo ge bwe gali,
Era ajja kumusasula ng’ebikolwa bye bwe biri.+
4 Yalwana ne malayika era n’awangula.
Yakaaba ne yeegayirira aweebwe omukisa.”+
Katonda yamusanga e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe,+
5 Yakuwa Katonda ow’eggye,+
Yakuwa lye linnya kw’ajjukirirwa.+
6 “Kale dda eri Katonda wo,+
Oyolekenga okwagala okutajjulukuka n’obwenkanya;+
Era essuubi lyo libeerenga mu Katonda wo bulijjo.
7 Omusuubuzi alina minzaani ey’obulimba mu mukono gwe;
Ayagala okukumpanya.+
Era tebaliraba kikyamu kyonna oba kibi kyonna mu kutegana kwange kwonna.’
9 Naye nze Yakuwa Katonda wo okuviira ddala ng’okyali mu nsi ya Misiri.+
Nja kuddamu okukubeeza mu weema
Nga bwe kiba mu nnaku z’embaga.
10 Nnayogeranga ne bannabbi,+
Nnabawa okwolesebwa kungi,
Era nnayogeranga engero nga mpita mu bannabbi.
11 Mu Gireyaadi mulimu obulimba+ n’ebitali bya mazima.
Bawaddeyo ssaddaaka z’ente ennume mu Girugaali.+
Ebyoto byabwe biringa entuumu z’amayinja mu mbibiro z’ennimiro.+
12 Yakobo yadduka n’agenda mu nsi ya Alamu;*+
Isirayiri+ yaweerereza eyo okufuna omukazi,+
Era yalunda endiga okusobola okufuna omukazi.+
14 Efulayimu yanyiiza nnyo Katonda,+
Era alina omusango gw’okuyiwa omusaayi.
Mukama we alimusasula olw’ekivume kye yamuleetako.”+