1 Samwiri
24 Sawulo olwakomawo ng’ava okuwondera Abafirisuuti, ne bamugamba nti: “Dawudi ali mu ddungu ly’e Eni-gedi.”+
2 Awo Sawulo n’atwala abasajja 3,000 abaalondebwa mu Isirayiri yonna n’agenda okunoonya Dawudi n’abasajja be mu njazi embuzi ez’omu nsozi gye zibeera. 3 Sawulo n’atuuka ku biyumba by’endiga eby’amayinja ebyali ku luguudo, awaali empuku, n’ayingira okweyamba,* nga Dawudi n’abasajja be bali mu mpuku munda awasemberayo ddala, nga batudde.+ 4 Abasajja ba Dawudi ne bagamba Dawudi nti: “Luno lwe lunaku Yakuwa lw’akugamba nti, ‘Laba! Omulabe wo mmuwaddeyo mu mukono gwo,+ era oyinza okumukola kyonna ky’oyagala.’” Awo Dawudi n’ayimuka n’agenda kasoobo n’asala ku lukugiro lw’ekizibaawo kya Sawulo ekitaliiko mikono. 5 Naye oluvannyuma omutima gwa* Dawudi ne gumulumiriza+ olw’okusala ku lukugiro lw’ekizibaawo kya Sawulo ekitaliiko mikono. 6 Awo n’agamba abasajja be nti: “Mu maaso ga Yakuwa tekiba kituufu n’akamu nze okukola mukama wange Yakuwa gwe yafukako amafuta ekintu ng’ekyo, nga mmugololerako omukono gwange, kubanga Yakuwa yamufukako amafuta.”+ 7 Bw’atyo Dawudi n’akoma ku basajja be* ng’abagamba ebigambo ebyo, era n’atabakkiriza kutuusa kabi ku Sawulo. Awo Sawulo n’ayimuka n’ava mu mpuku n’agenda.
8 Awo Dawudi n’ayimuka n’ava mu mpuku n’akoowoola Sawulo ng’agamba nti: “Mukama wange kabaka!”+ Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avunnama era ne yeeyala wansi. 9 Dawudi n’agamba Sawulo nti: “Lwaki owuliriza ebigambo by’abantu abakugamba nti, ‘Dawudi ayagala okukukolako akabi’?+ 10 Olwa leero olabye engeri Yakuwa gy’akuwaddeyo mu mukono gwange mu mpuku. Naye bwe wabaddewo aŋŋambye nti nkutte,+ nkukwatiddwa ekisa ne ŋŋamba nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta.’+ 11 Ate era kitange laba akatundu k’olukugiro lw’ekizibaawo kyo ekitaliiko mikono ke nkutte; kubanga bwe nkasazeeko sikusse. Kaakano okirabye era okitegedde nti saagala kukukolako kabi wadde okukujeemera, era sirina kibi kye nnali nkukoze,+ so ng’ate ggwe onjigga okunzita.+ 12 Yakuwa k’alamule wakati wange naawe,+ era Yakuwa k’akuwoolereko eggwanga ku lwange,+ naye ggwo omukono gwange tegujja kukukolako kabi.+ 13 Ng’olugero olw’edda bwe lugamba nti, ‘Mu babi mwe muva ebintu ebibi,’ naye omukono gwange tegujja kukukolako kabi. 14 Ani kabaka wa Isirayiri gw’awondera? Ani gw’ogoba? Embwa enfu? Enkukunyi emu bw’eti?+ 15 Yakuwa k’abeere omulamuzi, alamule wakati wange naawe, era ajja kutunula mu nsonga, ampolereze,+ annamule, era annunule mu mukono gwo.”
16 Dawudi olwamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n’agamba nti: “Eryo ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?”+ Awo Sawulo n’akaaba nnyo, 17 era n’agamba Dawudi nti: “Oli mutuukirivu okunsinga, kubanga ggwe ompisizza bulungi, naye nze nkusasuddemu bibi.+ 18 Olwa leero ombuulidde ekirungi ky’onkoledde, Yakuwa bw’angabudde mu mukono gwo n’otonzita.+ 19 Kubanga muntu ki asanga omulabe we, n’amuleka n’agenda nga tamukozeeko kabi? Yakuwa ajja kukuwa empeera+ olw’ekyo ky’onkoledde olwa leero. 20 Nkimanyidde ddala nti ojja kufuga nga kabaka,+ era nti obwakabaka bwa Isirayiri bujja kusigala mu mukono gwo. 21 Kale kaakano ndayirira mu linnya lya Yakuwa+ nti tolisaanyaawo bazzukulu bange* abaliddawo nga nvuddewo, era nti tolisaanyaawo linnya lyange mu nnyumba ya kitange.”+ 22 Awo Dawudi n’alayirira Sawulo, oluvannyuma Sawulo n’addayo ewuwe,+ naye Dawudi n’abasajja be ne bagenda mu kifo ekizibu okutuukamu.+