Olubereberye
34 Dina, omuwala Leeya+ gwe yazaalira Yakobo, yagendanga okukyalira* abawala b’omu nsi eyo.+ 2 Sekemu mutabani wa Kamoli Omukiivi,+ omukungu ow’omu nsi eyo, bwe yamulaba n’amutwala n’amusobyako. 3 Sekemu n’asikirizibwa nnyo eri Dina muwala wa Yakobo, n’amwagala nnyo era n’ayogera naye mu ngeri emusendasenda.* 4 Oluvannyuma Sekemu n’agamba Kamoli+ kitaawe nti: “Mpasiza omuwala ono.”
5 Yakobo we yawulirira nti Sekemu yali asobezza ku Dina muwala we, batabani be baali ku ttale n’ebisolo bye. Yakobo n’asirika okutuusa lwe baakomawo. 6 Oluvannyuma Kamoli kitaawe wa Sekemu n’agenda okwogera ne Yakobo. 7 Batabani ba Yakobo bwe baawulira ekyali kibaddewo, mangu ddala ne bakomawo okuva ku ttale. Kyabaluma era ne basunguwala nnyo kubanga Sekemu yali akoze ekintu ekiweebuula Isirayiri bwe yeebaka ne muwala wa Yakobo,+ so ng’ekintu ng’ekyo kyali tekirina kukolebwa.+
8 Kamoli n’ayogera nabo ng’agamba nti: “Sekemu mutabani wange ayagala nnyo muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase, 9 era mufumbiriganwenga naffe. Mutuwenga bawala bammwe era nammwe mutwalenga bawala baffe.+ 10 Musobola okubeera naffe era mukozese ensi nga bwe mwagala. Mugibeeremu mugisuubulirengamu era mugituulemu mukkalire.” 11 Awo Sekemu n’agamba taata wa Dina ne bannyina nti: “Ka nsiimibwe mu maaso gammwe era kyonna kye munansaba nja kukibawa. 12 Munsalire ebintu bingi n’ekirabo.+ Ndi mwetegefu okubawa kyonna kye munaŋŋamba; naye mumpe omuwala mmuwase.”
13 Batabani ba Yakobo ne basalawo okulimba Sekemu ne Kamoli kitaawe, kubanga Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina. 14 Ne babagamba nti: “Tetusobola kukola kintu ng’ekyo, okuwaayo mwannyinaffe eri omusajja atali mukomole,*+ kubanga ekyo kiba kivve gye tuli. 15 Tujja kukkiriza kye mugamba bwe munaakola kino: mubeere nga ffe mukomole abasajja bammwe bonna.+ 16 Olwo tujja kubawa bawala baffe naffe tutwale bawala bammwe, era tujja kubeera nammwe tufuuke omuntu omu. 17 Naye bwe mutaatuwulirize ne mugaana okukomolebwa, tujja kutwala muwala waffe tugende.”
18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli+ ne Sekemu mutabani wa Kamoli.+ 19 Omuvubuka n’atalwawo kukola kye baamugamba+ kubanga yali ayagala nnyo muwala wa Yakobo; era ye yali asinga okuba ow’ekitiibwa mu nnyumba ya kitaawe.
20 Awo Kamoli ne Sekemu mutabani we ne bagenda ku mulyango gw’ekibuga ne boogera n’abasajja b’omu kibuga kyabwe+ ne babagamba nti: 21 “Abasajja bano baagala kuba mu mirembe naffe. Kale ka babeere mu nsi era bagisuubuliremu kubanga ngazi bulungi, nabo basobola okugibeeramu. Tusobola okuwasa bawala baabwe era nabo basobola okuwasa bawala baffe.+ 22 Kyokka, abasajja abo okukkiriza okubeera naffe tubeere omuntu omu, kino kye tulina okukola: buli musajja mu ffe alina okukomolebwa nga nabo bwe bakomolebwa.+ 23 Awo ebintu byabwe n’obugagga bwabwe n’ensolo zaabwe, tebiibe byaffe? Kale ka tukole kye batugamba basobole okubeera naffe.” 24 Bonna abaali bafuluma mu mulyango gw’ekibuga kye ne bawuliriza Kamoli ne Sekemu mutabani we, era abasajja bonna ne bakomolebwa, abo bonna abaali bafuluma mu mulyango gw’ekibuga.
25 Naye ku lunaku olw’okusatu, bwe baali nga bakyalumizibwa, batabani ba Yakobo ababiri, Simiyoni ne Leevi bannyina ba Dina,+ ne bakwata buli omu ekitala kye ne bazinduukiriza ekibuga ne batta buli musajja.+ 26 Ne batta n’ekitala Kamoli ne Sekemu mutabani we, era oluvannyuma ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne bavaayo. 27 Batabani ba Yakobo abalala ne bajja eri abasajja abaali battiddwa ne banyaga ekibuga, kubanga mwannyinaabwe yali asobezeddwako.+ 28 Ne batwala ebisibo byabwe n’amagana gaabwe n’endogoyi zaabwe n’ebintu ebyali mu kibuga era n’ebyo ebyali ku ttale. 29 Ne batwala n’ebintu byabwe byonna, ne bawamba abaana baabwe ne bakazi baabwe, era ne banyaga n’ebintu byonna ebyali mu mayumba.
30 Awo Yakobo n’agamba Simiyoni ne Leevi+ nti: “Mundeetedde ebizibu eby’amaanyi* nga munfuula ekyenyinyaza mu bantu ababeera mu nsi, Abakanani n’Abaperizi. Tuli batono, era bajja kwegatta wamu bannumbe bansaanyeewo nze awamu n’ab’ennyumba yange.” 31 Naye ne bamuddamu nti: “Waliwo omuntu yenna asaanidde okuyisa mwannyinaffe nga malaaya?”