LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Matayo 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okufuusibwa kwa Yesu (1-13)

      • Okukkiriza okwenkana akasigo ka kalidaali (14-21)

      • Addamu okwogera ku kufa kwe (22, 23)

      • Ssente eggiddwa mu kamwa k’ekyennyanja ekozesebwa okusasula omusolo (24-27)

Matayo 17:1

Marginal References

  • +Mak 9:2-8; Luk 9:28-36

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 193

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2008, lup. 30

    4/1/2000, lup. 19-20

Matayo 17:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ne biba byeru.”

Marginal References

  • +Kub 1:13, 16

Matayo 17:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2005, lup. 9-10

Matayo 17:4

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

Matayo 17:5

Marginal References

  • +Zb 2:7; Is 42:1; Mat 3:17; 2Pe 1:17, 18
  • +Ma 18:15; Mak 9:7; Luk 9:35; Bik 3:22, 23; Beb 2:3

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 51

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2019, lup. 10

    Omuyigiriza, lup. 15

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2000, lup. 20

    10/1/1999, lup. 11

    3/1/1992, lup. 21

Matayo 17:9

Marginal References

  • +Mat 16:20; Mak 9:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2000, lup. 20

Matayo 17:10

Marginal References

  • +Mak 9:11

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

Matayo 17:11

Marginal References

  • +Is 40:3; Mal 4:5, 6; Mat 11:13, 14; Mak 9:12; Luk 1:17

Matayo 17:12

Marginal References

  • +Mak 9:13
  • +Mat 16:21; Luk 23:24, 25

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

Matayo 17:14

Marginal References

  • +Luk 9:37

Matayo 17:15

Marginal References

  • +Mak 9:17-29; Luk 9:38-42

Matayo 17:17

Marginal References

  • +Ma 32:5, 20

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 146

Matayo 17:18

Marginal References

  • +Mat 8:13; 9:22; 15:28; Yok 4:51, 52

Matayo 17:19

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 147

Matayo 17:20

Marginal References

  • +Mat 21:21; Mak 11:23; Luk 17:6

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 147

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2008, lup. 30

    10/1/1992, lup. 20

Matayo 17:21

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A3.

Matayo 17:22

Marginal References

  • +Mat 20:18; Luk 9:44, 45

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 148

Matayo 17:23

Marginal References

  • +Mat 16:21; Mak 9:31

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 148

Matayo 17:24

Footnotes

  • *

    Obut., “dulakima bbiri.” Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Kuv 30:13, 14

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 148

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2114

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 21

    3/1/1988, lup. 8

Matayo 17:25

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 148

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 18-19

    4/1/1999, lup. 15

    3/1/1988, lup. 8

Matayo 17:26

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 148

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 18-19

    4/1/1999, lup. 15

    3/1/1988, lup. 8

Matayo 17:27

Footnotes

  • *

    Obut.,“sutateri.” Kirabika kyali kinusu ekya dulakima ennya. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +1Ko 10:32; 2Ko 6:3

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2114

    3/1/1988, lup. 8

General

Mat. 17:1Mak 9:2-8; Luk 9:28-36
Mat. 17:2Kub 1:13, 16
Mat. 17:5Zb 2:7; Is 42:1; Mat 3:17; 2Pe 1:17, 18
Mat. 17:5Ma 18:15; Mak 9:7; Luk 9:35; Bik 3:22, 23; Beb 2:3
Mat. 17:9Mat 16:20; Mak 9:9
Mat. 17:10Mak 9:11
Mat. 17:11Is 40:3; Mal 4:5, 6; Mat 11:13, 14; Mak 9:12; Luk 1:17
Mat. 17:12Mak 9:13
Mat. 17:12Mat 16:21; Luk 23:24, 25
Mat. 17:14Luk 9:37
Mat. 17:15Mak 9:17-29; Luk 9:38-42
Mat. 17:17Ma 32:5, 20
Mat. 17:18Mat 8:13; 9:22; 15:28; Yok 4:51, 52
Mat. 17:20Mat 21:21; Mak 11:23; Luk 17:6
Mat. 17:22Mat 20:18; Luk 9:44, 45
Mat. 17:23Mat 16:21; Mak 9:31
Mat. 17:24Kuv 30:13, 14
Mat. 17:271Ko 10:32; 2Ko 6:3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Matayo 17:1-27

Matayo

17 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga, Yesu yatwala Peetero, Yakobo ne muganda we Yokaana, n’abambusa ku lusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka.+ 2 Awo n’afuusibwa nga balaba; n’ayakaayakana mu maaso ng’enjuba, ebyambalo bye eby’okungulu ne byakaayakana* ng’ekitangaala.+ 3 Era laba! Musa ne Eriya ne babalabikira nga banyumya ne Yesu. 4 Amangu ago Peetero n’agamba Yesu nti: “Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano. Bw’oba oyagala, nja kusimba wano weema ssatu, ng’emu yiyo, endala nga ya Musa, ate endala nga ya Eriya.” 5 Bwe yali ng’akyayogera, laba! ekire ekimasamasa ne kijja ne kibasiikiriza, era eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima.+ Mumuwulire.”+ 6 Abayigirizwa bwe baawulira ekyo ne batya nnyo ne beeyala wansi. 7 Yesu n’abasemberera, n’abakwatako, n’abagamba nti: “Temutya, muyimuke.” 8 Bwe baayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu n’omu okuggyako Yesu. 9 Era bwe baali bava ku lusozi, Yesu n’abagamba nti: “Temubaako yenna gwe mubuulira ku kwolesebwa kuno okutuusa Omwana w’omuntu lw’alizuukira mu bafu.”+

10 Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki abawandiisi bagamba nti Eriya y’alina okusooka okujja?”+ 11 N’abaddamu nti: “Mazima ddala, Eriya ajja era ajja kuzzaawo ebintu byonna.+ 12 Naye mbagamba nti Eriya yajja dda naye tebaamutegeera era baamukola byonna bye baayagala.+ N’Omwana w’omuntu bw’atyo bw’ajja okubonyaabonyezebwa.”+ 13 Abayigirizwa ne bakitegeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.

14 Bwe baatuuka awali ekibiina ky’abantu,+ omusajja n’ajja w’ali n’afukamira wansi n’amugamba nti: 15 “Mukama wange, saasira omwana wange kubanga agwa ensimbu era ali mu mbeera mbi nnyo. Atera okugwa mu muliro ne mu mazzi.+ 16 Nnamuleese eri abayigirizwa bo naye ne batasobola kumuwonya.” 17 Yesu n’abagamba nti: “Mmwe ab’omulembe guno ogutalina kukkiriza era ogwakyama,+ ndibeera nammwe kutuusa ddi? Ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Mumundeetere.” 18 Awo Yesu n’aboggolera dayimooni n’emuvaako, era omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.+ 19 Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu nga bali bokka ne bamubuuza nti: “Lwaki twalemereddwa okugigoba?” 20 N’abagamba nti: “Kubanga okukkiriza kwammwe kutono. Mazima mbagamba nti singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ era lujja kuvaawo, era tewali kijja kubalema.”+ 21 *​—

22 Bwe baali e Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti: “Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu,+ 23 era bamutte, naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.”+ Ne banakuwala nnyo.

24 Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abasajja abaali basolooza omusolo gwa yeekaalu* ne batuukirira Peetero ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza wammwe asasula omusolo gwa yeekaalu?”+ 25 N’abaddamu nti: “Asasula.” Naye bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti: “Olowooza otya Simooni? Bakabaka b’ensi empooza oba omusolo babiggya ku baani? Ku baana baabwe oba ku bantu abalala?” 26 Bwe yagamba nti: “Ku bantu abalala,” Yesu n’amugamba nti: “Bwe kiba bwe kityo, abaana tebasasula musolo. 27 Naye olw’obutabeesittaza,+ genda ku nnyanja osuule eddobo, era ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa, bw’onooyasamya akamwa kaakyo ojja kusangamu ssente eya ffeeza.* Ojja kugitwala ogibawe osasulire nze naawe.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share