Isaaya
45 Bw’ati Yakuwa bw’agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo,+
Gw’akutte ku mukono gwe ogwa ddyo+
Okuwangula amawanga mu maaso ge,+
Okuggyako bakabaka eby’okulwanyisa,*
Okuggulawo enzigi mu maaso ge,
Emiryango gibe nga si miggale:
Ndimenyaamenya enzigi ez’ekikomo,
Era nditemaatema ebisiba eby’ekyuma.+
3 Ndikuwa eby’obugagga ebiri mu kizikiza
N’eby’obugagga ebyakwekebwa mu bifo ebyekusifu,+
Olyoke omanye nti nze Yakuwa,
Katonda wa Isirayiri, akuyita erinnya lyo.+
4 Ku lw’omuweereza wange Yakobo era ku lwa Isirayiri gwe nnalonda,
Nkuyita erinnya lyo.
Nkuwa erinnya ery’ekitiibwa, wadde nga wali tommanyi.
5 Nze Yakuwa era teri mulala.
Teri Katonda mulala okuggyako nze.+
Ndikuwa amaanyi, wadde nga wali tommanyi,
6 Abantu balyoke bamanye
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba
Nti teri mulala okuggyako nze.+
Nze Yakuwa era teri mulala.+
7 Nkola ekitangaala+ era ntonda ekizikiza,+
Ndeetawo emirembe+ era ntonda akabi;+
Nze Yakuwa, nze nkola ebintu ebyo byonna.
8 Ggwe eggulu, tonnyesa obutuukirivu ng’enkuba;+
Ebire ka bitonnyese obutuukirivu.
Ensi k’esumulukuke ebale obulokozi,
Era mu kiseera kye kimu k’emeze obutuukirivu.+
Nze Yakuwa, nze nnagitonda.”
9 Zimusanze oyo awakanya Oyo eyamutonda,
Kubanga alinga oluggyo obuggyo
Oluli mu nzigyo endala eziri ku ttaka!
Ebbumba liyinza okubuuza Omubumbi* nti: “Kiki ekyo ky’okola?”+
Oba kye wakola kiyinza okugamba nti: “Talina mikono”?
10 Zisanze oyo agamba taata nti: “Kiki kye wazaala?”
Era agamba omukazi nti: “Ozaala ki ekyo?”*
11 Bw’ati Yakuwa, Omutukuvu wa Isirayiri,+ Oyo eyamubumba, bw’agamba:
“Oyinza okumbuuza ebintu ebigenda okujja
Era n’ompa ebiragiro ku baana bange+ n’emirimu gy’emikono gyange?
12 Nnakola ensi+ era ne ntonda abantu abagiriko.+
13 “Nnyimusizza omuntu mu butuukirivu,+
Era nditereeza amakubo ge gonna.
Y’alizimba ekibuga kyange+
Era alisumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa+ nga tasasuddwa, wadde okuweebwa enguzi,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
14 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Amagoba ga* Misiri n’ebyamaguzi bya* Esiyopiya n’Abasabiya, abantu abawanvu,
Balijja gy’oli ne baba babo.
Balikugoberera nga bali mu njegere.
Balijja ne bakuvunnamira.+
Balikuwa ekitiibwa nga bagamba nti, ‘Mazima ddala Katonda ali naawe,+
Teri mulala; teri Katonda mulala.’”
15 Ai Katonda wa Isirayiri, Omulokozi,+
Mazima ddala oli Katonda eyeekweka.
16 Bonna baliswazibwa era balitoowazibwa;
Bonna abakola ebifaananyi balifeebezebwa.+
17 Naye Yakuwa alirokola Isirayiri n’obulokozi obutaliggwaawo.+
Temuliswazibwa wadde okufeebezebwa emirembe n’emirembe.+
18 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba,
Eyatonda eggulu,+ Katonda ow’amazima,
Eyatonda ensi, eyagikola n’aginyweza,+
Teyagitondera bwereere,* wabula yagitonda okubeeramu abantu:+
“Nze Yakuwa, era tewali mulala.
19 Saayogerera mu kifo ekyekusifu,+ mu nsi ey’ekizikiza;
Saagamba zzadde lya Yakobo nti,
‘Munnoonyeze bwereere.’
Nze Yakuwa ayogera eby’obutuukirivu era alangirira eby’obugolokofu.+
20 Mwekuŋŋaanye wamu mujje.
Musembere wamu, mmwe abawonyeewo okuva mu mawanga.+
Abo abasitula ebifaananyi ebyole tebalina kye bamanyi
Era basaba katonda atasobola kubalokola.+
21 Mwogere, mwanje ensonga zammwe.
Ka bateese nga bali bumu.
Kino ani yakiragula okuva edda nti kiribaawo
Era n’akiranga okuva mu biseera eby’edda?
Si nze Yakuwa?
Buli vviivi lirinfukaamirira,
Na buli lulimi lulirayira bwesigwa+
24 Ne lugamba nti, ‘Mazima ddala mu Yakuwa mwe muli obutuukirivu obwa nnamaddala n’amaanyi.
Abo bonna abamusunguwalira balijja gy’ali nga baswavu.
25 Ab’ezzadde lya Isirayiri bonna balikiraba nti baali batuufu okwesiga Yakuwa,+
Era balimwenyumiririzaamu.’”