LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi afuulibwa kabaka wa Isirayiri yonna (1-5)

      • Yerusaalemi kiwambibwa (6-16)

        • Sayuuni, Ekibuga kya Dawudi (7)

      • Dawudi awangula Abafirisuuti (17-25)

2 Samwiri 5:1

Footnotes

  • *

    Oba, “tukulinako oluganda olw’omusaayi.”

Marginal References

  • +2Sa 2:1, 11; 1By 12:23
  • +1By 11:1-3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2005, lup. 9

2 Samwiri 5:2

Footnotes

  • *

    Obut., “ggwe wafulumyanga era ggwe wayingizanga Isirayiri.”

Marginal References

  • +1Sa 18:13; 25:28
  • +Lub 49:10; 1Sa 16:1; 25:30; 2Sa 6:21; 7:8; 1By 28:4; Zb 78:71

2 Samwiri 5:3

Marginal References

  • +2Sk 11:17
  • +1Sa 16:13; 2Sa 2:4; Bik 13:22

2 Samwiri 5:4

Marginal References

  • +1By 29:26, 27

2 Samwiri 5:5

Marginal References

  • +Lub 14:18

2 Samwiri 5:6

Marginal References

  • +Kuv 23:23; Yos 15:63; Bal 1:8, 21
  • +1By 11:4-6

2 Samwiri 5:7

Marginal References

  • +1Sk 2:10; Nek 12:37

2 Samwiri 5:9

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “era yakituuma.”

  • *

    Oba, “Millo.” Kigambo kya Lwebbulaniya ekitegeeza “okujjuza.”

Marginal References

  • +1Sk 9:15, 24; 11:27; 2By 32:5
  • +1By 11:7-9

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2026

2 Samwiri 5:10

Marginal References

  • +1Sa 16:13; 2Sa 3:1
  • +1Sa 17:45

2 Samwiri 5:11

Footnotes

  • *

    Oba, “olubiri.”

Marginal References

  • +1Sk 5:1, 8
  • +2By 2:3
  • +2Sa 7:2; 1By 14:1, 2

2 Samwiri 5:12

Marginal References

  • +2Sa 7:16; Zb 41:11; 89:21
  • +Zb 89:27
  • +1Sk 10:9; 2By 2:11

2 Samwiri 5:13

Marginal References

  • +2Sa 15:16
  • +1By 3:5-9; 14:3-7

2 Samwiri 5:14

Marginal References

  • +Luk 3:23, 31
  • +2Sa 12:24

2 Samwiri 5:17

Marginal References

  • +2Sa 5:3
  • +Zb 2:2
  • +1Sa 22:1, 5; 24:22; 2Sa 23:14; 1By 14:8

2 Samwiri 5:18

Marginal References

  • +Yos 15:8, 12; 1By 11:15; 14:9

2 Samwiri 5:19

Marginal References

  • +Kbl 27:21
  • +1By 14:10-12

2 Samwiri 5:20

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Mukama w’Okuwaguza.”

Marginal References

  • +2Sa 22:41
  • +Is 28:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 11

2 Samwiri 5:22

Marginal References

  • +Yos 15:8, 12; 1By 11:15; 14:13-17

2 Samwiri 5:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 11

2 Samwiri 5:25

Marginal References

  • +Lev 26:7
  • +Yos 18:21, 24
  • +Yos 16:10

General

2 Sam. 5:12Sa 2:1, 11; 1By 12:23
2 Sam. 5:11By 11:1-3
2 Sam. 5:21Sa 18:13; 25:28
2 Sam. 5:2Lub 49:10; 1Sa 16:1; 25:30; 2Sa 6:21; 7:8; 1By 28:4; Zb 78:71
2 Sam. 5:32Sk 11:17
2 Sam. 5:31Sa 16:13; 2Sa 2:4; Bik 13:22
2 Sam. 5:41By 29:26, 27
2 Sam. 5:5Lub 14:18
2 Sam. 5:6Kuv 23:23; Yos 15:63; Bal 1:8, 21
2 Sam. 5:61By 11:4-6
2 Sam. 5:71Sk 2:10; Nek 12:37
2 Sam. 5:91Sk 9:15, 24; 11:27; 2By 32:5
2 Sam. 5:91By 11:7-9
2 Sam. 5:101Sa 16:13; 2Sa 3:1
2 Sam. 5:101Sa 17:45
2 Sam. 5:111Sk 5:1, 8
2 Sam. 5:112By 2:3
2 Sam. 5:112Sa 7:2; 1By 14:1, 2
2 Sam. 5:122Sa 7:16; Zb 41:11; 89:21
2 Sam. 5:12Zb 89:27
2 Sam. 5:121Sk 10:9; 2By 2:11
2 Sam. 5:132Sa 15:16
2 Sam. 5:131By 3:5-9; 14:3-7
2 Sam. 5:14Luk 3:23, 31
2 Sam. 5:142Sa 12:24
2 Sam. 5:172Sa 5:3
2 Sam. 5:17Zb 2:2
2 Sam. 5:171Sa 22:1, 5; 24:22; 2Sa 23:14; 1By 14:8
2 Sam. 5:18Yos 15:8, 12; 1By 11:15; 14:9
2 Sam. 5:19Kbl 27:21
2 Sam. 5:191By 14:10-12
2 Sam. 5:202Sa 22:41
2 Sam. 5:20Is 28:21
2 Sam. 5:22Yos 15:8, 12; 1By 11:15; 14:13-17
2 Sam. 5:25Lev 26:7
2 Sam. 5:25Yos 18:21, 24
2 Sam. 5:25Yos 16:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 5:1-25

2 Samwiri

5 Nga wayiseewo ekiseera, ebika bya Isirayiri byonna byagenda eri Dawudi e Kebbulooni+ ne bimugamba nti: “Laba! Tuli ggumba lyo era tuli mubiri gwo.*+ 2 Mu kiseera Sawulo we yabeerera kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo zaayo;*+ era Yakuwa yakugamba nti: ‘Ojja kulunda abantu bange Isirayiri, era ojja kubeera mukulembeze wa Isirayiri.’”+ 3 Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka e Kebbulooni, Kabaka Dawudi n’akola nabo endagaano+ e Kebbulooni mu maaso ga Yakuwa. Oluvannyuma ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri.+

4 Dawudi yalina emyaka 30 we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 40.+ 5 Yafuga Yuda okumala emyaka 7 n’emyezi 6 ng’ali mu Kebbulooni, era yafuga Isirayiri yonna ne Yuda okumala emyaka 33 ng’ali mu Yerusaalemi.+ 6 Awo kabaka n’abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwanyisa Abayebusi+ abaali babeerayo. Abayebusi ne basoomooza Dawudi nga bagamba nti: “Toliyingira muno, kubanga ne bamuzibe n’abalema balikugoba.” Abayebusi baali balowooza nti: ‘Dawudi taliyingira muno.’+ 7 Wadde kyali kityo, Dawudi yawamba ekigo kya Sayuuni, era ekyo kaakano kye Kibuga kya Dawudi.+ 8 Ku lunaku olwo Dawudi yagamba nti: “Abo abanaalumba Abayebusi bayite mu mukutu gw’amazzi, batte bamuzibe n’abalema Dawudi b’atayagala!” Awo we waava enjogera egamba nti: “Bamuzibe n’abalema tebaliyingira mu nnyumba.” 9 Dawudi n’atandika okubeera mu kigo, era ne kituumibwa* Ekibuga kya Dawudi; awo Dawudi n’atandika okuzimba okwetooloola wonna, okuviira ddala ku Kifunvu*+ okudda munda.+ 10 Bw’atyo Dawudi n’agenda nga yeeyongera okuba ow’amaanyi,+ era Yakuwa Katonda ow’eggye yali naye.+

11 Awo Kabaka Kiramu+ owa Ttuulo n’atuma ababaka eri Dawudi, era n’amuweereza n’embaawo z’entolokyo,+ n’ababazzi, n’abazimbi abazimbisa amayinja, ne batandika okuzimbira Dawudi ennyumba.*+ 12 Dawudi n’ategeera nti Yakuwa yali anywezezza obwakabaka bwe ku Isirayiri+ era nti yali agulumizza obwakabaka bwe+ ku lw’abantu be Isirayiri.+

13 Dawudi yeeyongera okufuna abakazi abalala n’abazaana+ mu Yerusaalemi ng’amaze okuva e Kebbulooni, era baamuzaalira abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.+ 14 Gano ge mannya g’abaana be yazaalira mu Yerusaalemi: Sammuwa, Sobabu, Nasani,+ Sulemaani,+ 15 Ibukali, Eriswa, Nefegi, Yafiya, 16 Erisaama, Eriyada, ne Erifereti.

17 Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yali afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri,+ bonna ne bagenda okumunoonya.+ Dawudi bwe yakiwulira, n’agenda mu kifo ekizibu okutuukamu.+ 18 Abafirisuuti ne bagenda ne babuna mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+ 19 Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa+ ng’agamba nti: “Ŋŋende nnwanyise Abafirisuuti? Onoobawaayo mu mukono gwange?” Yakuwa n’agamba Dawudi nti: “Genda, kubanga nja kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.”+ 20 Dawudi n’agenda e Bbaali-perazimu n’abalwanyisa n’abatta. N’agamba nti: “Yakuwa ankulembeddemu n’awaguza mu balabe bange+ ng’amazzi bwe gawaguza.” Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo yakituuma Bbaali-perazimu.*+ 21 Abafirisuuti ne baleka eyo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi n’abasajja be ne babitwala.

22 Oluvannyuma Abafirisuuti baddayo ne babuna mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+ 23 Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa, naye n’amugamba nti: “Tobalumba butereevu, wabula weetooloole obave emabega obalumbire mu maaso g’obuti bwa bbaka. 24 Bw’onoowulira mu masanso g’obuti bwa bbaka omusinde gw’abatambula, ositukiramu n’obaako ky’okolawo, kubanga Yakuwa ajja kuba akukulembeddemu okutta eggye ly’Abafirisuuti.” 25 Dawudi n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, n’atta Abafirisuuti+ okuva e Geba+ okutuukira ddala e Gezeri.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share