LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Okubikkulirwa 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda (1-21)

        • Biyiibwa ku nsi (2), ku nnyanja (3), ku migga ne ku nsulo z’amazzi (4-7), ku njuba (8, 9), ku ntebe y’obwakabaka ey’ensolo (10, 11), ku Mugga Fulaati (12-16), ne ku mpewo (17-21)

        • Olutalo lwa Katonda ku Amagedoni (14, 16)

Okubikkulirwa 16:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 16:17
  • +Zb 69:24; Zef 3:8

Okubikkulirwa 16:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 8:7
  • +Kuv 9:10
  • +Kub 13:16, 18
  • +Kub 13:15; 19:20

Okubikkulirwa 16:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 8:8
  • +Kuv 7:20
  • +Is 57:20

Okubikkulirwa 16:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 8:10
  • +Kuv 7:20; Zb 78:44

Okubikkulirwa 16:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 1:4
  • +Zb 145:17; Kub 15:4
  • +Ma 32:4; Zb 119:137

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 286-288

Okubikkulirwa 16:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 79:3
  • +Is 49:26
  • +Kub 18:20

Okubikkulirwa 16:7

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 6:3
  • +Zb 19:9; 119:137; Kub 19:1, 2

Okubikkulirwa 16:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 8:12

Okubikkulirwa 16:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 10:21; Is 8:22

Okubikkulirwa 16:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 9:13, 14
  • +Yer 50:38
  • +Is 44:27, 28

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2012, lup. 17-18

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 281

Okubikkulirwa 16:13

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “Ne ndaba emyoyo emibi.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 12:3

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2009, lup. 4

Okubikkulirwa 16:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 13:11, 13
  • +Kub 19:19
  • +Is 13:6; Yer 25:33; Ezk 30:3; Yow. 1:15; 2:1, 11; Zef 1:15; 2Pe 3:11, 12

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2019, lup. 8-9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2015, lup. 2

    2/15/2009, lup. 4

    12/1/2005, lup. 4

Okubikkulirwa 16:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 5:2; 2Pe 3:10
  • +Luk 21:36
  • +Kub 3:18

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2005, lup. 18

    1/1/2004, lup. 16

    12/1/1999, lup. 30

    3/1/1997, lup. 24-29

Okubikkulirwa 16:16

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Mu Luyonaani, Kalumagedoni, ekiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Olusozi lw’e Megiddo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2By 35:22; Zek 12:11; Kub 19:19

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2019, lup. 8-9

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2013

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2012, lup. 5-6

    12/1/2005, lup. 4

Okubikkulirwa 16:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 16:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2009, lup. 4

Okubikkulirwa 16:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 38:19; Dan 12:1; Beb 12:26

Okubikkulirwa 16:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 17:18
  • +Kub 18:2
  • +Yer 25:15; Kub 15:7

Okubikkulirwa 16:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 6:14

Okubikkulirwa 16:21

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Ttalanta y’Abayonaani yali yenkana kilo 20.4. Laba Ebyong. B14.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 38:22, 23
  • +Kuv 9:24

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Okusinza Okulongoofu, lup. 198

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2015, lup. 16

    2/15/2009, lup. 4

    7/15/2008, lup. 7

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2114-2115

Ebirala

Kub. 16:1Kub 16:17
Kub. 16:1Zb 69:24; Zef 3:8
Kub. 16:2Kub 8:7
Kub. 16:2Kuv 9:10
Kub. 16:2Kub 13:16, 18
Kub. 16:2Kub 13:15; 19:20
Kub. 16:3Kub 8:8
Kub. 16:3Kuv 7:20
Kub. 16:3Is 57:20
Kub. 16:4Kub 8:10
Kub. 16:4Kuv 7:20; Zb 78:44
Kub. 16:5Kub 1:4
Kub. 16:5Zb 145:17; Kub 15:4
Kub. 16:5Ma 32:4; Zb 119:137
Kub. 16:6Zb 79:3
Kub. 16:6Is 49:26
Kub. 16:6Kub 18:20
Kub. 16:7Kuv 6:3
Kub. 16:7Zb 19:9; 119:137; Kub 19:1, 2
Kub. 16:8Kub 8:12
Kub. 16:10Kuv 10:21; Is 8:22
Kub. 16:12Kub 9:13, 14
Kub. 16:12Yer 50:38
Kub. 16:12Is 44:27, 28
Kub. 16:13Kub 12:3
Kub. 16:14Kub 13:11, 13
Kub. 16:14Kub 19:19
Kub. 16:14Is 13:6; Yer 25:33; Ezk 30:3; Yow. 1:15; 2:1, 11; Zef 1:15; 2Pe 3:11, 12
Kub. 16:151Se 5:2; 2Pe 3:10
Kub. 16:15Luk 21:36
Kub. 16:15Kub 3:18
Kub. 16:162By 35:22; Zek 12:11; Kub 19:19
Kub. 16:17Kub 16:1
Kub. 16:18Ezk 38:19; Dan 12:1; Beb 12:26
Kub. 16:19Kub 17:18
Kub. 16:19Kub 18:2
Kub. 16:19Yer 25:15; Kub 15:7
Kub. 16:20Kub 6:14
Kub. 16:21Yob 38:22, 23
Kub. 16:21Kuv 9:24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubikkulirwa 16:1-21

Okubikkulirwa

16 Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga liva mu kifo ekitukuvu+ nga ligamba bamalayika omusanvu nti: “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda.”+

2 Eyasooka n’agenda, n’ayiwa ekibya kye ku nsi.+ Amabwa agaluma ennyo era amabi ennyo+ ne gakwata abantu abaalina akabonero k’ensolo+ era abaali basinza ekifaananyi kyayo.+

3 Ow’okubiri n’ayiwa ekibya kye mu nnyanja.+ N’efuuka ng’omusaayi+ gw’omuntu afudde era buli ekirina obulamu ne kifa, kwe kugamba, ebintu ebiri mu nnyanja.+

4 Ow’okusatu n’ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z’amazzi,+ ne bifuuka musaayi.+ 5 Ne mpulira malayika alina obuyinza ku mazzi ng’agamba nti: “Ggwe aliwo era eyaliwo,+ Omwesigwa,+ oli mutuukirivu kubanga osaze emisango gino.+ 6 Olw’okuba baayiwa omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,+ naawe obawadde omusaayi bagunywe.+ Kibagwanira.”+ 7 Ne mpulira ekyoto nga kigamba nti: “Weewaawo, Yakuwa* Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ emisango gy’osala gya mazima era gya butuukirivu.”+

8 Ow’okuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba;+ enjuba n’ekkirizibwa okwokya abantu omuliro. 9 Abantu ne bookebwa ebbugumu eringi, naye ne bavvoola erinnya lya Katonda eyalina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo, era tebeenenya basobole okumuwa ekitiibwa.

10 Ow’okutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe y’ensolo ey’obwakabaka. Obwakabaka bwayo ne bukwata ekizikiza,+ abantu ne batandika okuluma ennimi zaabwe olw’obulumi, 11 naye ne bavvoola Katonda w’eggulu olw’obulumi bwabwe n’olw’amabwa gaabwe era tebeenenya bikolwa byabwe.

12 Ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati,+ era amazzi gaagwo ne gakalira,+ bakabaka abava ebuvanjuba basobole okuteekerwateekerwa ekkubo.+

13 Ne ndaba ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebitali birongoofu* bisatu ebifaanana ng’ebikere nga biva mu kamwa k’ogusota+ ne mu kamwa k’ensolo ne mu kamwa ka nnabbi ow’obulimba. 14 Mu butuufu, ebyo bigambo ebyaluŋŋamizibwa badayimooni, ebikola obubonero+ era ebigenda eri bakabaka b’ensi yonna, okubakuŋŋaanya awamu balwane olutalo+ olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.+

15 “Laba! Nzija ng’omubbi.+ Alina essanyu oyo asigala ng’atunula+ n’ataggibwako byambalo bye eby’okungulu, kubanga singa babimuggyako, asigala ali bwereere abantu ne balaba ensonyi ze.”+

16 Ne bibakuŋŋaanya wamu mu kifo ekiyitibwa Amagedoni* mu Lwebbulaniya.+

17 Ow’omusanvu n’ayiwa ekibya kye mu mpewo. Awo eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu kifo ekitukuvu+ ku ntebe y’obwakabaka nga ligamba nti: “Kiwedde!” 18 Ne wabaawo okumyansa, amaloboozi, okubwatuka kw’eggulu, ne musisi ow’amaanyi atabangawo kasookedde abantu babeera ku nsi;+ musisi oyo yali wa maanyi nnyo. 19 Ekibuga ekinene+ ne kyeyasaamu ebitundu bisatu, era ebibuga by’amawanga ne bizikirira; Katonda n’ajjukira Babulooni Ekinene,+ okukiwa ekikopo eky’omwenge ogw’obusungu bwe obungi.+ 20 Buli kizinga ne kidduka, era n’ensozi tezaalabika.+ 21 Omuzira ogw’amaanyi, nga buli kitole kizitowa ttalanta ng’emu,* ne guva mu ggulu ne gugwa ku bantu,+ abantu ne bavvoola Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo+ kubanga kyali kya maanyi nnyo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza