Koseya
2 “Mugambe baganda bammwe nti, ‘Muli bantu bange!’*+
Ne bannyinammwe nti, ‘Muli bakazi abasaasiddwa!’*+
2 Muvunaane nnyammwe; mumuvunaane,
Kubanga si mukazi wange+ era nange siri bbaawe.
Alina okweggyamu obwamalaaya
N’okuggya obwenzi wakati w’amabeere ge,
3 Nneme kumwambula kumuleka bukunya, ne mmufuula nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalibwa,
Ne mmufuula ng’eddungu,
Ne mmufuula ng’ensi etaliimu mazzi,
Era ne mmuleetera okufa olw’ennyonta.
4 Abaana be siribasaasira,
Kubanga baana abaazaalibwa mu bwamalaaya.
5 Kubanga nnyaabwe akoze obwamalaaya.*+
Oyo eyabasitula mu nda ye akoze ebiswaza.+ Agambye nti,
‘Njagala kugenda eri baganzi bange,+
Abo abampa emmere n’amazzi,
N’engoye ez’ebyoya by’endiga n’eza kitaani, era abampa amafuta n’eby’okunywa.’
6 Kyendiva nteeka amaggwa mu kkubo lye ne ndiziba;
Era ne mmuzimbako ekikomera eky’amayinja,
Aleme kulaba makubo ge.
Era aligamba nti, ‘Nja kuddayo eri omwami wange eyasooka,+
Kubanga mu biseera ebyo nnali bulungi okusinga bwe ndi kati.’+
8 Teyakiraba nti nze nnamuwanga emmere,+ n’omwenge omusu, n’amafuta,
Era nti nze nnamuwanga ffeeza mu bungi,
Ne zzaabu, bye baakozesanga mu kusinza Bbaali.+
9 ‘Kale ndikomawo ne mmuggyako emmere yange
N’omwenge gwange mu kiseera eky’amakungula,+
Era ndimuggyako n’engoye zange ez’ebyoya by’endiga n’eza kitaani ezandibisse ku bwereere bwe.
10 Ndimwambula baganzi be ne balaba ebitundu bye eby’ekyama,
Era tewali musajja alisobola okumununula mu mukono gwange.+
11 Ndikomya ebimuleetera essanyu byonna:
Embaga ze,+ okuboneka kw’omwezi, ssabbiiti, n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 Era ndisaanyaawo emizabbibu gye n’emitiini gye bye yayogerako nti:
“Bino ye mpeera yange baganzi bange gye bampa”;
Ndibifuula kibira,
Era ensolo ez’omu nsiko ziribirya.
13 Ndimuvunaana olw’ennaku ze yamala ng’awaayo ssaddaaka eri ebifaananyi bya Bbaali,+
Era ng’ayambala empeta n’amajolobero n’agenda eri baganzi be,
Naye nze n’anneerabira,’+ Yakuwa bw’agamba.
15 Okuva ku olwo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,+
Era aliyingira mu nsi ey’essuubi ng’ayitira mu Kiwonvu Akoli;+
Alimpitabira eyo nga bwe yakolanga mu kiseera eky’obuvubuka bwe,
Era nga bwe yakola ku lunaku lwe yava mu nsi ya Misiri.+
17 ‘Ndiggya amannya g’ebifaananyi bya Bbaali mu kamwa ke,+
Era amannya gaabyo tegaliddamu kujjukirwa nate.+
18 Ku lw’abantu bange ndikola endagaano ku lunaku olwo n’ensolo ez’omu nsiko,+
N’ebinyonyi ebibuuka mu bbanga, n’ebyewalula eby’oku ttaka;+
Era ndimalawo omutego, n’ekitala, n’entalo mu nsi,+
Era ndibaleetera okubeera mu mirembe.+
19 Ndikola naawe endagaano y’obufumbo ey’emirembe gyonna,
Era ndikola naawe endagaano y’obufumbo mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
Mu kwagala okutajjulukuka ne mu kusaasira.+
20 Ndikola naawe endagaano y’obufumbo mu bwesigwa;
Era olimanya Yakuwa.’+