Koseya
10 “Isirayiri muzabbibu mwonoonefu ogubala ebibala.+
Ebibala bye gye bikoma okuba ebingi, gy’akoma okuzimba ebyoto;+
Ensi ye gy’ekoma okubala, empagi ze ezisinzibwa gye zikoma okulabika obulungi.+
Waliwo alimenyaamenya ebyoto byabwe era alyonoona empagi zaabwe.
3 Baligamba nti, ‘Tetulina kabaka,+ kubanga tetutidde Yakuwa.
Kiki kabaka ky’ayinza okutukolera?’
4 Boogera ebigambo ebitaliimu nsa, balayira eby’obulimba,+ era bakola endagaano;
Obutali butuukirivu busaasaanye ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro.+
5 Abantu b’omu Samaliya balitya olw’ekifaananyi ky’ennyana eky’e Besi-aveni.+
Abantu baakyo balikikungubagira,
Awamu ne bakabona baakyo abaakyenyumiririzangamu era abeenyumiririzanga mu kitiibwa kyakyo,
Kubanga kiribavaako ne kigenda mu buwaŋŋanguse.
6 Kiritwalibwa e Bwasuli ng’ekirabo eri kabaka ow’amaanyi.+
Efulayimu alikwatibwa ensonyi,
Era Isirayiri aliswala olw’amagezi ge yagoberera.+
8 Ebifo ebigulumivu eby’e Besi-aveni,+ ekibi kya Isirayiri,+ birizikirizibwa.+
Amaggwa n’amatovu birimera ku byoto byabwe.+
Abantu baligamba ensozi nti, ‘Mutubuutikire!’
N’obusozi nti, ‘Mutugweko!’+
9 Okuva mu nnaku z’e Gibeya, ggwe Isirayiri obadde oyonoona.+
Eyo gye baalemera mu kibi ekyo.
Olutalo terwazikiririza ddala bantu batali batuukirivu mu Gibeya.
10 Era ndibakangavvula bwe ndiba njagadde.
Amawanga galikuŋŋaanyizibwa okubalwanyisa,
Ebibi byabwe ebibiri bwe biriba bibasibiddwako.*
11 Efulayimu yali nte nduusi eyatendekebwa era eyayagalanga okuwuula,
Nnayita ku nsingo ye erabika obulungi.
Ndireetera omuntu okwebagala Efulayimu.+
Yuda alirima; Yakobo alimukubira amavuunike.
12 Musige ensigo mu butuukirivu, mukungule okwagala okutajjulukuka.
Mukabale ettaka eritali ddime+
Nga wakyaliwo ekiseera eky’okunoonya Yakuwa,+
Okutuusa lw’alijja n’abayigiriza mu butuukirivu.+
13 Naye musize ebintu ebibi,
Mukungudde obutali butuukirivu,+
Mulidde ebibala eby’obulimba,
Kubanga mwesize ekkubo lyammwe,
Mwesize abalwanyi bammwe abangi.
14 Walibaawo oluyoogaano mu bantu bammwe,
Era ebibuga byammwe byonna ebiriko bbugwe birizikirizibwa,+
Ng’okuzikiriza kwa Salumaani ow’ennyumba ya Aluberi bwe kwali,
Ku lunaku olw’olutalo abakazi lwe baabetentebwa awamu n’abaana baabwe.
15 Ekyo kye bajja okukukola ggwe Beseri,+ olw’ebintu ebibi ebingi by’okola.