2 Bassekabaka
9 Awo nnabbi Erisa n’ayita omu ku baana ba bannabbi n’amugamba nti: “Fungiza engoye ozisibire mu kiwato, okwate eccupa eno ey’amafuta ogende mangu e Lamosi-gireyaadi.+ 2 Bw’onootuukayo, ojja kunoonya Yeeku+ mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi, omuggye mu baganda be omuyingize mu kisenge ekisingayo okuba eky’omunda. 3 Ojja kuddira eccupa y’amafuta ogafuke ku mutwe gwe ogambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nkufuseeko amafuta obeere kabaka wa Isirayiri.”’+ Oluvannyuma ojja kuggulawo oluggi odduke awatali kulwa.”
4 Awo omuweereza wa nnabbi n’agenda e Lamosi-gireyaadi. 5 Bwe yatuukayo, yasanga abakulu b’eggye batudde. N’agamba nti: “Mukulu, nnina obubaka bwe nkuleetedde.” Awo Yeeku n’amubuuza nti: “Ogamba ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti: “Mukulu, obubaka mbuleetedde ggwe.” 6 Yeeku n’ayimuka n’ayingira mu nnyumba; omuweereza wa nnabbi n’afuka amafuta ku mutwe gwe n’amugamba nti, “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Nkufuseeko amafuta obeere kabaka w’abantu ba Yakuwa, obeere kabaka wa Isirayiri.+ 7 Ojja kutta ab’ennyumba ya mukama wo Akabu, era nja kuwoolera eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bange bannabbi era n’olw’omusaayi gw’abaweereza ba Yakuwa bonna Yezebeeri be yatta.+ 8 Ab’ennyumba ya Akabu bonna bajja kusaanawo, era nja kutta buli musajja* ow’omu nnyumba ya Akabu, nga kw’otadde n’abateesobola era abatalina maanyi mu Isirayiri.+ 9 Ab’ennyumba ya Akabu nja kubafuula ng’ab’ennyumba ya Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati, era ng’ab’ennyumba ya Baasa+ mutabani wa Akiya. 10 Embwa zijja kuliira omulambo gwa Yezebeeri mu kibanja ky’e Yezuleeri,+ era tewajja kubaawo n’omu amuziika.’” Bwe yamala okwogera ebyo, n’aggulawo oluggi n’adduka.+
11 Yeeku bwe yaddayo eri abaweereza ba mukama we, ne bamubuuza nti: “Waliwo omutawaana gwonna? Lwaki omusajja oyo omugwi w’eddalu aze gy’oli?” N’abaddamu nti: “Omusajja oyo mumumanyi bulungi ne by’atera okwogera.” 12 Naye ne bamugamba nti: “Ekyo si kituufu! Tubuulire ekituufu.” N’abagamba nti: “Aŋŋambye bw’ati ne bw’ati, era n’agattako nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nkufuseeko amafuta obeere kabaka wa Isirayiri.”’”+ 13 Awo buli omu n’addira ekyambalo kye n’akyalirira ku madaala Yeeku alinnyeko,+ era ne bafuuwa eŋŋombe ne bagamba nti: “Yeeku afuuse kabaka!”+ 14 Awo Yeeku+ mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi ne yeekobaanira Yekolaamu.
Yekolaamu n’Abayisirayiri bonna baali bakuuma Lamosi-gireyaadi+ olwa Kabaka Kazayeeri+ owa Busuuli. 15 Oluvannyuma Kabaka Yekolaamu yaddayo e Yezuleeri+ awonere eyo ebisago Abasuuli bye baali bamutuusizzaako ng’alwanyisa Kabaka Kazayeeri owa Busuuli.+
Awo Yeeku n’agamba nti: “Bwe muba nga muli ku ludda lwange, temuleka muntu n’omu kuva mu kibuga kino n’agenda n’ategeeza ab’e Yezuleeri.” 16 Awo Yeeku n’alinnya eggaali lye n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yekolaamu yali agalamidde eyo olw’ebisago bye yali afunye, era Kabaka Akaziya owa Yuda yali agenzeeyo okumulaba. 17 Awo omukuumi eyali waggulu ku munaala e Yezuleeri n’alengera Yeeku ng’ajja n’ekibinja ky’abasajja be, n’agamba nti: “Nnengera ekibinja ky’abantu.” Yekolaamu n’agamba nti: “Funayo omwebagazi w’embalaasi omutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja lwa mirembe?’” 18 Omwebagazi w’embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku n’amugamba nti: “Kabaka abuuza nti, ‘Ojja lwa mirembe?’” Yeeku n’amuddamu nti: “Ekyo kikukwatirako wa? Dda emabega wange!”
Omukuumi n’agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, naye tadda.” 19 Awo n’atuma omusajja omulala omwebagazi w’embalaasi, n’agenda okubasisinkana n’agamba nti: “Kabaka abuuza nti, ‘Ojja lwa mirembe?’” Naye Yeeku n’amuddamu nti: “Ekyo kikukwatirako wa? Dda emabega wange!”
20 Omukuumi n’agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, naye tadda; n’envuga y’eggaali eringa envuga ya Yeeku muzzukulu* wa Nimusi, kubanga avuga ng’omulalu.” 21 Awo Yekolaamu n’agamba nti: “Muteeketeeke eggaali lyange!” Ne bateekateeka eggaali lye. Kabaka Yekolaamu owa Isirayiri ne Kabaka Akaziya+ owa Yuda ne bafuluma okusisinkana Yeeku nga buli omu ali mu ggaali lye ery’olutalo, ne bamusanga mu kibanja kya Nabbosi+ Omuyezuleeri.
22 Yekolaamu olwalaba Yeeku n’amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe Yeeku?” Naye Yeeku n’amuddamu nti: “Mirembe ki nga wakyaliwo obwenzi bwa nnyoko Yezebeeri+ n’obulogo bwe obungi?”+ 23 Amangu ago Yekolaamu n’akyusa eggaali lye adduke, era n’agamba Akaziya nti: “Batukoledde olukwe, Akaziya!” 24 Awo Yeeku n’akwata omutego gwe n’alasa Yekolaamu akasaale wakati mu mugongo, ne kaggukira ku mutima, n’agwa mu ggaali lye. 25 Yeeku n’agamba Bidukali omukungu we nti: “Musitule omusuule mu kibanja kya Nabbosi Omuyezuleeri.+ Jjukira, nze naawe twali tuvuga ffenna amagaali nga tugoberera kitaawe Akabu, Yakuwa bwe yamusalira omusango ng’agamba nti:+ 26 ‘“Jjo nnalabye omusaayi gwa Nabbosi+ ne batabani be,” Yakuwa bw’agamba, “nange nja kukuwoolerako eggwanga+ mu kibanja kino kyennyini,” Yakuwa bw’agamba.’ Kale musitule omusuule mu kibanja ekyo nga Yakuwa bwe yagamba.”+
27 Kabaka Akaziya+ owa Yuda bwe yalaba ekigenda mu maaso n’addukira mu kkubo eriyita ku nnimiro ennene.* (Oluvannyuma Yeeku yamuwondera era n’agamba nti: “Naye mumutte!” Ne bamukubira mu ggaali lye ng’ali mu kkubo eridda e Guli, ekiri okumpi n’e Ibuleyamu,+ naye ne yeeyongerayo n’atuuka e Megiddo, n’afiira eyo. 28 Abaweereza be ne bamutwalira mu ggaali e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye mu Kibuga kya Dawudi wamu ne bajjajjaabe.+ 29 Akaziya+ yali afuuse kabaka wa Yuda mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Yekolaamu mutabani wa Akabu.)
30 Awo Yeeku n’agenda e Yezuleeri.+ Yezebeeri+ bwe yakiwulira n’asiiga ku maaso ge langi enzirugavu, n’akola ne ku nviiri ze, n’alingiza mu ddirisa. 31 Yeeku bwe yali ng’ayingira mu mulyango, Yezebeeri n’agamba nti: “Zimuli eyatta mukama we byamugendera bulungi?”+ 32 Awo Yeeku n’atunula waggulu mu ddirisa n’agamba nti: “Ani ali ku ludda lwange? Ani?”+ Awo abakungu b’omu lubiri babiri oba basatu ne batunula wansi gye yali. 33 Yeeku n’agamba nti: “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, omusaayi gwe ne gumansukira ku kisenge ne ku mbalaasi, embalaasi za Yeeku ne zimulinnyirira. 34 Oluvannyuma Yeeku yayingira n’alya era n’anywa, n’agamba nti: “Mugende muziike omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka.”+ 35 Naye bwe baagenda okumuziika, tebaasangawo kintu kyonna okuggyako akawanga ke, ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye.+ 36 Bwe baakomawo ne babuulira Yeeku, n’agamba nti: “Ekyo kituukiriza Yakuwa+ kye yayogera okuyitira mu muweereza we Eriya Omutisubi nti, ‘Embwa zijja kuliira omulambo gwa Yezebeeri mu kibanja ky’e Yezuleeri.+ 37 Ate era omulambo gwa Yezebeeri guliba ng’obusa mu kibanja ky’e Yezuleeri, babe nga tebasobola kugamba nti: “Ono ye Yezebeeri.”’”