Ezera
5 Awo nnabbi Kaggayi+ ne nnabbi Zekkaliya+ muzzukulu wa Iddo,+ ne boogera eri Abayudaaya abaali mu Yuda ne mu Yerusaalemi mu linnya lya Katonda wa Isirayiri eyali nabo. 2 Awo Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa+ mutabani wa Yekozadaki ne baddamu okuzimba ennyumba ya Katonda+ eyali mu Yerusaalemi, era bannabbi ba Katonda baali wamu nabo nga babayamba.+ 3 Mu kiseera ekyo Tattenayi gavana ow’Emitala w’Omugga* ne Sesalubozenaayi ne bannaabwe ne bajja, ne bababuuza nti: “Ani yabalagira okuzimba ennyumba eno n’okumaliriza ekizimbe kino?” 4 Era ne bababuuza nti: “Abasajja abazimba ekizimbe kino be baani?” 5 Naye amaaso ga Katonda gaali* ku bakadde b’Abayudaaya,+ era tebaabayimiriza okutuusa lwe bandimaze okutegeeza Daliyo era nga naye amaze okubaddamu mu buwandiike ku nsonga eyo.
6 Bino bye byali mu bbaluwa Tattenayi gavana ow’Emitala w’Omugga ne Sesalubozenaayi ne banne, bagavana abalala ab’Emitala w’Omugga, gye baaweereza Kabaka Daliyo; 7 baamuweereza obubaka, era bino bye baawandiika:
“Eri Kabaka Daliyo:
“Emirembe gibeere naawe! 8 Kabaka k’akimanye nti twagenda mu ssaza lya Yuda awali ennyumba ya Katonda omukulu; ezimbibwa n’amayinja amanene era n’embaawo ziteekebwa mu bisenge. Omulimu ogwo abantu bagukola n’obunyiikivu era gugenda mu maaso. 9 Twabuuza abakadde baabwe nti: ‘Ani yabalagira okuzimba ennyumba n’okumaliriza ekizimbe kino?’+ 10 Twababuuza n’amannya gaabwe, tusobole okuwandiika amannya g’abo ababakulira obamanye.
11 “Bwe bati bwe baatuddamu: ‘Tuli baweereza ba Katonda ow’eggulu n’ensi, era tuddamu okuzimba ennyumba eyali yazimbibwa emyaka mingi emabega, kabaka omukulu ow’omu Isirayiri gye yazimba n’agimaliriza.+ 12 Kyokka olw’okuba bakitaffe baanyiiza Katonda w’eggulu,+ yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza+ Omukaludaaya kabaka wa Babulooni, eyazikiriza ennyumba eno+ n’atwala abantu mu buwaŋŋanguse e Babulooni.+ 13 Naye mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Babulooni, Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda eno.+ 14 Ate era ebintu ebya zzaabu n’ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu ya Katonda eyali mu Yerusaalemi n’abitwala mu yeekaalu y’e Babulooni,+ Kabaka Kuulo yabiggya mu yeekaalu y’e Babulooni ne biweebwa Sesubazzali,*+ gwe yafuula gavana.+ 15 Kuulo yamugamba nti: “Twala ebintu bino ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, era ennyumba ya Katonda eddemu ezimbibwe mu kifo we yabeeranga.”+ 16 Sesubazzali oyo yajja n’azimba emisingi gy’ennyumba ya Katonda+ eri mu Yerusaalemi, era ebadde ezimbibwa okuva olwo n’okutuusa kati naye nga tennaggwa.’+
17 “Kale kabaka bw’aba alaba nga kirungi, ka wabeewo okunoonyereza mu ggwanika lya kabaka eriri eyo mu Babulooni, obanga Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi;+ kabaka anaatutegeeza ky’anaaba asazeewo ku nsonga eno.”