Isaaya
6 Mu mwaka Kabaka Uzziya mwe yafiira,+ nnalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe empanvu era engulumivu,+ era ekirenge ky’ekyambalo kye kyali kibunye yeekaalu. 2 Basseraafi baali bayimiridde waggulu we. Buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bimubisse mu maaso, ebibiri nga bibisse ku bigere bye, ate ng’ebibiri abikozesa okubuuka.
3 Ne bagambagana nti:
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa ow’eggye.+
Ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
4 Emyango gyakankana olw’amaloboozi ago,* era ennyumba n’ejjula omukka.+
5 Awo ne ŋŋamba nti: “Zinsanze!
Nfudde nze,*
Kubanga ndi muntu alina emimwa egitali mirongoofu,
Era mbeera mu bantu abalina emimwa egitali mirongoofu;+
Amaaso gange galabye Kabaka, Yakuwa ow’eggye yennyini!”
6 Awo omu ku basseraafi n’abuuka n’ajja we nnali, era yali akutte mu mukono gwe eryanda+ lye yali aggye ku kyoto+ ng’akozesa ekitoola omuliro. 7 N’alikoonya ku mimwa gyange n’agamba nti:
“Laba! Lino likoonye ku mimwa gyo.
Oggiddwako omusango,
Era ekibi kyo kitangiriddwa.”
8 Awo ne mpulira eddoboozi lya Yakuwa ng’agamba nti: “Nnaatuma ani, era ani anaatukiikirira?”+ Ne ŋŋamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”+
9 N’aŋŋamba nti, “Genda ogambe abantu abo nti:
‘Mujja kuwulira enfunda n’enfunda,
Naye temujja kutegeera;
Mujja kulaba enfunda n’enfunda,
Naye tewali kye mujja kumanya.’+
10 Gubya omutima gw’abantu bano,+
Ggala amatu gaabwe,+
Era ziba amaaso gaabwe,
Baleme okulaba n’amaaso gaabwe
Era baleme okuwulira n’amatu gaabwe,
Omutima gwabwe guleme okutegeera
Baleme okukyuka bawonyezebwe.”+
11 Awo ne ŋŋamba nti: “Kiriba bwe kityo kumala bbanga ki, Ai Yakuwa?” N’anziramu nti:
“Okutuusa ng’ebibuga bizikiriziddwa era nga tewali abibeeramu
Nga n’amayumba tegaliimu bantu
Era nga n’ensi eyonooneddwa, ng’efuuse matongo;+
12 Okutuusa Yakuwa lw’alitwala abantu ewala ennyo+
Era okutuusa ng’ebitundu bingi eby’ensi tebiriimu bantu.
13 “Naye ensi erisigalamu ekitundu kimu eky’ekkumi, era eriddamu okwokebwa, ng’omuti omunene era ng’omuyovu, egitemebwa ebikolo byagyo ne bisigalawo; ensigo* entukuvu eribeera ekikolo kyayo.”