LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Sulemaani ayogera eri abantu (1-11)

      • Essaala ya Sulemaani ng’atongoza yeekaalu (12-42)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:1

Marginal References

  • +Kuv 20:21; 1Sk 8:12, 13; Zb 97:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:2

Marginal References

  • +Zb 132:13, 14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:3

Marginal References

  • +1Sk 8:14-21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:5

Marginal References

  • +Ma 12:5, 6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:6

Marginal References

  • +Zb 48:1
  • +2Sa 7:8; 1By 28:4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:7

Marginal References

  • +2Sa 7:2; 1Sk 5:3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:9

Footnotes

  • *

    Obut., “omwana wo anaava mu kiwato kyo.”

Marginal References

  • +1By 17:4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:10

Marginal References

  • +1By 28:5; 29:23
  • +1By 17:11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:11

Marginal References

  • +Kuv 40:20; 1Sk 8:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:12

Marginal References

  • +1Sk 8:22

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:13

Footnotes

  • *

    Oba, “kikomera.”

  • *

    Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +1Sk 6:36
  • +1Sk 8:54

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:14

Marginal References

  • +Ma 7:9; 1Sk 8:23-26

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:15

Marginal References

  • +1Sk 3:6
  • +2Sa 7:12, 13; 1By 22:10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:16

Marginal References

  • +Zb 132:12
  • +1Sk 2:4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:18

Marginal References

  • +Bik 7:48
  • +2By 2:6; Is 40:12; Bik 17:24
  • +1Sk 8:27-30; Is 66:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:20

Marginal References

  • +Ma 26:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:21

Marginal References

  • +Dan 6:10
  • +2Sk 19:20; 2By 30:27
  • +2By 7:12-14; Mi 7:18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:22

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku 1Sk 8:31.

  • *

    Obut., “olw’ekikolimo.”

Marginal References

  • +1Sk 8:31, 32

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:23

Footnotes

  • *

    Obut., “nti omutuukirivu mutuukirivu.”

Marginal References

  • +Yob 34:11
  • +Is 3:10, 11; Ezk 18:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:24

Marginal References

  • +Lev 26:14, 17; Yos 7:8, 11; Bal 2:14
  • +Dan 9:3, 19
  • +Ezr 9:5
  • +1Sk 8:33, 34

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:25

Marginal References

  • +Is 57:15
  • +Zb 106:47

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:26

Footnotes

  • *

    Oba, “obabonyaabonyezza.”

Marginal References

  • +Lev 26:19; Ma 28:23
  • +Ezk 14:13
  • +1Sk 8:35, 36

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:27

Marginal References

  • +Is 30:20, 21; 54:13
  • +1Sk 18:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:28

Footnotes

  • *

    Oba, “enseenene.”

  • *

    Obut., “mu nsi y’emiryango gye.”

Marginal References

  • +Lus 1:1; 2Sk 6:25
  • +Lev 26:14, 16; Ma 28:21, 22
  • +Am 4:9; Kag 2:17
  • +Ma 28:38; Yow. 1:4
  • +2By 12:2; 32:1
  • +1Sk 8:37-40

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:29

Marginal References

  • +2By 20:5, 6
  • +2By 33:13
  • +Nge 14:10
  • +Dan 6:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2008, lup. 12-13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:30

Marginal References

  • +Is 63:15
  • +Zb 130:4
  • +1Sa 16:7; 1By 28:9; Yer 11:20; 17:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2008, lup. 12-13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:32

Footnotes

  • *

    Oba, “olw’ettutumu lyo.”

Marginal References

  • +Kuv 12:48; Lus 1:16; 2Sk 5:15; Is 56:6, 7; Bik 8:27
  • +1Sk 8:41-43

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:33

Marginal References

  • +Zb 22:27; 46:10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:34

Marginal References

  • +Kbl 31:2; Yos 8:1; Bal 1:1, 2; 1Sa 15:3
  • +2By 14:11; 20:5, 6
  • +1Sk 8:44, 45

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:35

Marginal References

  • +Is 37:36

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:36

Marginal References

  • +Zb 130:3; Mub 7:20; Bar 3:23
  • +Lev 26:34; 1Sk 8:46-50; Dan 9:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:37

Marginal References

  • +Lev 26:40; Ezr 9:6; Nek 1:6; Zb 106:6; Dan 9:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:38

Marginal References

  • +1Sa 7:3
  • +Ma 30:1-3; Dan 9:2, 3
  • +Dan 6:10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:39

Marginal References

  • +Yer 51:36, 37

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:40

Marginal References

  • +2By 7:15; 16:9; Zb 65:2; Is 37:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:41

Footnotes

  • *

    Obut., “ka bambale obulokozi.”

Marginal References

  • +1By 28:2
  • +Zb 65:4; 132:8-10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:42

Marginal References

  • +1Sk 1:34; Zb 18:50
  • +Bik 13:34

General

2 Byom. 6:1Kuv 20:21; 1Sk 8:12, 13; Zb 97:2
2 Byom. 6:2Zb 132:13, 14
2 Byom. 6:31Sk 8:14-21
2 Byom. 6:5Ma 12:5, 6
2 Byom. 6:6Zb 48:1
2 Byom. 6:62Sa 7:8; 1By 28:4
2 Byom. 6:72Sa 7:2; 1Sk 5:3
2 Byom. 6:91By 17:4
2 Byom. 6:101By 28:5; 29:23
2 Byom. 6:101By 17:11
2 Byom. 6:11Kuv 40:20; 1Sk 8:9
2 Byom. 6:121Sk 8:22
2 Byom. 6:131Sk 6:36
2 Byom. 6:131Sk 8:54
2 Byom. 6:14Ma 7:9; 1Sk 8:23-26
2 Byom. 6:151Sk 3:6
2 Byom. 6:152Sa 7:12, 13; 1By 22:10
2 Byom. 6:16Zb 132:12
2 Byom. 6:161Sk 2:4
2 Byom. 6:18Bik 7:48
2 Byom. 6:182By 2:6; Is 40:12; Bik 17:24
2 Byom. 6:181Sk 8:27-30; Is 66:1
2 Byom. 6:20Ma 26:2
2 Byom. 6:21Dan 6:10
2 Byom. 6:212Sk 19:20; 2By 30:27
2 Byom. 6:212By 7:12-14; Mi 7:18
2 Byom. 6:221Sk 8:31, 32
2 Byom. 6:23Yob 34:11
2 Byom. 6:23Is 3:10, 11; Ezk 18:20
2 Byom. 6:24Lev 26:14, 17; Yos 7:8, 11; Bal 2:14
2 Byom. 6:24Dan 9:3, 19
2 Byom. 6:24Ezr 9:5
2 Byom. 6:241Sk 8:33, 34
2 Byom. 6:25Is 57:15
2 Byom. 6:25Zb 106:47
2 Byom. 6:26Lev 26:19; Ma 28:23
2 Byom. 6:26Ezk 14:13
2 Byom. 6:261Sk 8:35, 36
2 Byom. 6:27Is 30:20, 21; 54:13
2 Byom. 6:271Sk 18:1
2 Byom. 6:28Lus 1:1; 2Sk 6:25
2 Byom. 6:28Lev 26:14, 16; Ma 28:21, 22
2 Byom. 6:28Am 4:9; Kag 2:17
2 Byom. 6:28Ma 28:38; Yow. 1:4
2 Byom. 6:282By 12:2; 32:1
2 Byom. 6:281Sk 8:37-40
2 Byom. 6:292By 20:5, 6
2 Byom. 6:292By 33:13
2 Byom. 6:29Nge 14:10
2 Byom. 6:29Dan 6:10
2 Byom. 6:30Is 63:15
2 Byom. 6:30Zb 130:4
2 Byom. 6:301Sa 16:7; 1By 28:9; Yer 11:20; 17:10
2 Byom. 6:32Kuv 12:48; Lus 1:16; 2Sk 5:15; Is 56:6, 7; Bik 8:27
2 Byom. 6:321Sk 8:41-43
2 Byom. 6:33Zb 22:27; 46:10
2 Byom. 6:34Kbl 31:2; Yos 8:1; Bal 1:1, 2; 1Sa 15:3
2 Byom. 6:342By 14:11; 20:5, 6
2 Byom. 6:341Sk 8:44, 45
2 Byom. 6:35Is 37:36
2 Byom. 6:36Zb 130:3; Mub 7:20; Bar 3:23
2 Byom. 6:36Lev 26:34; 1Sk 8:46-50; Dan 9:7
2 Byom. 6:37Lev 26:40; Ezr 9:6; Nek 1:6; Zb 106:6; Dan 9:5
2 Byom. 6:381Sa 7:3
2 Byom. 6:38Ma 30:1-3; Dan 9:2, 3
2 Byom. 6:38Dan 6:10
2 Byom. 6:39Yer 51:36, 37
2 Byom. 6:402By 7:15; 16:9; Zb 65:2; Is 37:17
2 Byom. 6:411By 28:2
2 Byom. 6:41Zb 65:4; 132:8-10
2 Byom. 6:421Sk 1:34; Zb 18:50
2 Byom. 6:42Bik 13:34
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:1-42

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

6 Awo Sulemaani n’agamba nti: “Ai Yakuwa, wagamba nti wali wa kubeeranga mu kire ekikutte.+ 2 Kaakano nkuzimbidde ennyumba ey’ekitiibwa, ekifo eky’enkalakkalira mw’onoobeeranga emirembe gyonna.”+

3 Awo kabaka n’akyuka n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa, ng’ekibiina kyonna kiyimiridde.+ 4 N’agamba nti: “Atenderezebwe Yakuwa Katonda wa Isirayiri eyasuubiza Dawudi kitange n’akamwa ke, era mu buyinza bwe atuukirizza kye yasuubiza ng’agamba nti, 5 ‘Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi ya Misiri, sirondanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isirayiri mwe baba bazimbira erinnya lyange ennyumba libeere omwo,+ era sirondanga muntu yenna kukulembera bantu bange Isirayiri. 6 Naye nnonze Yerusaalemi+ erinnya lyange libeere omwo, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’+ 7 Ate era Dawudi kitange yakyagala nnyo mu mutima gwe okuzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.+ 8 Naye Yakuwa n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Oyagala nnyo mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, era okoze bulungi okwagala ekintu kino mu mutima gwo. 9 Naye si ggwe ojja okuzimba ennyumba eyo, wabula omwana wo anaakuzaalirwa* y’anaazimbira erinnya lyange ennyumba.’+ 10 Yakuwa yatuukiriza kye yasuubiza, kubanga nnasikira kitange Dawudi era ntudde ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri+ nga Yakuwa bwe yasuubiza.+ Ate era nzimbye ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri, 11 era ntaddemu Essanduuko erimu endagaano+ Yakuwa gye yakola n’abantu ba Isirayiri.”

12 Awo n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa mu maaso g’ekibiina kya Isirayiri kyonna, n’agolola emikono gye.+ 13 (Sulemaani yali akoze ekituuti eky’ekikomo ng’akitadde wakati mu luggya.*+ Obuwanvu kyali emikono etaano, obugazi emikono* etaano, ate obugulumivu emikono esatu; n’ayimirira okwo.) Awo n’afukamira ku maviivi ge mu maaso g’ekibiina kya Isirayiri kyonna n’agolola emikono gye eri eggulu,+ 14 n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, mu ggulu ne ku nsi tewali Katonda alinga ggwe akuuma endagaano era alaga okwagala okutajjulukuka abaweereza bo abakuweereza n’omutima gwabwe gwonna.+ 15 Otuukirizza kye wasuubiza kitange Dawudi omuweereza wo.+ Wasuubiza ng’oyogera n’akamwa ko, era leero mu buyinza bwo otuukirizza kye wasuubiza.+ 16 Kaakano Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, tuukiriza kye wasuubiza Dawudi kitange omuweereza wo bwe wagamba nti, ‘Mu maaso gange tewaalemenga kubaawo musajja wa mu lunyiriri lwo atuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri, singa abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe ne batambulira mu mateeka gange+ nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’+ 17 Kale nno, Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, ekisuubizo kyo kye wasuubiza omuweereza wo Dawudi ka kituukirire.

18 “Naye ddala Katonda anaabeera n’abantu ku nsi?+ Laba! Eggulu, eggulu erisingayo okuba waggulu toligyaamu;+ olwo eno ennyumba gye nzimbye mw’onoogya?+ 19 Kaakano ssaayo omwoyo eri essaala y’omuweereza wo n’okwegayirira kwe, Ai Yakuwa Katonda wange, era wuliriza okuwanjaga n’essaala omuweereza wo gy’asaba mu maaso go. 20 Amaaso go gatunuulirenga ennyumba eno emisana n’ekiro, gatunuulirenga ekifo kye wagamba okuteekamu erinnya lyo,+ owulirize essaala omuweereza wo gy’asaba ng’atunudde eri ekifo kino. 21 Era wulirizanga okwegayirira kw’omuweereza wo n’okw’abantu bo Abayisirayiri bwe banaasabanga nga batunudde eri ekifo kino,+ owulirenga ng’oyima mu kifo kyo ky’obeeramu, ng’oyima mu ggulu;+ wuliranga era osonyiwe.+

22 “Omuntu bw’anaakolanga munne ekibi n’alayizibwa,* n’aba ng’avunaanyizibwa olw’ebyo by’alayidde, n’ajja mu maaso g’ekyoto kyo mu nnyumba eno olw’ekirayiro* ekyo,+ 23 owuliranga ng’oyima mu ggulu n’obaako ky’okolawo n’olamula abaweereza bo, omubi n’omusasula ng’omubonereza okusinziira ku bikolwa bye ebibi,+ ate n’okiraga nti omutuukirivu taliiko musango,* era n’omuwa empeera okusinziira ku butuukirivu bwe.+

24 “Era abantu bo Abayisirayiri bwe banaawangulwanga omulabe olw’okuba banaabanga boonoonye mu maaso go,+ naye ne bakyuka ne batendereza erinnya lyo,+ ne basaba+ era ne beegayirira mu maaso go obakwatirwe ekisa mu nnyumba eno,+ 25 owuliranga ng’oyima mu ggulu+ n’osonyiwa abantu bo Isirayiri ekibi kyabwe, n’obakomyawo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.+

26 “Eggulu bwe linaasibwanga, enkuba n’etatonnya+ olw’okuba banaabanga boonoonye mu maaso go,+ ne basaba nga batunudde eri ekifo kino, ne batendereza erinnya lyo era ne baleka ekibi kyabwe olw’okuba onoobanga obatoowazza,*+ 27 owuliranga ng’oyima mu ggulu, n’osonyiwa abaweereza bo, abantu bo Isirayiri, ekibi kyabwe, kubanga ojja kubayigiriza ekkubo eddungi lye balina okutambuliramu;+ era otonnyesanga enkuba+ ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.

28 “Bwe wanaabangawo enjala mu nsi,+ oba endwadde,+ oba okubabuka n’okugengewala kw’ebirime,+ oba enzige ezitambulira mu bibinja, oba enzige* ezirya ennyo,+ oba abalabe baabwe bwe banaabazingizanga mu kibuga kyonna eky’omu nsi yaabwe,*+ oba bwe wanaabangawo ekibonyoobonyo eky’engeri yonna oba endwadde ey’engeri yonna,+ 29 omuntu yenna oba abantu bo bonna Isirayiri kye banaakusabanga kyonna+ oba kye banaakwegayiriranga okubakolera,+ (kubanga buli omu amanyi ekimubonyaabonya era n’obulumi bwe)+ bwe banaagololanga emikono gyabwe okwolekera ennyumba eno,+ 30 owuliranga ng’oyima mu ggulu, ekifo kyo ky’obeeramu,+ n’osonyiwa+ era n’owa buli omu ng’amakubo ge gonna bwe gali, kubanga omanyi omutima gwe (kubanga ggwe wekka amanyi emitima gy’abantu);+ 31 balyoke bakutye, batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeera mu nsi gye wawa bajjajjaffe.

32 “N’omugwira atali omu ku bantu bo Isirayiri anaavanga mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo ekkulu*+ n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi era ogugoloddwa n’ajja n’asaba ng’atunudde eri ennyumba eno,+ 33 owuliranga ng’oyima mu ggulu, ekifo ky’obeeramu, n’okola byonna omugwira by’akusaba, amawanga gonna mu nsi galyoke gamanye erinnya lyo+ era gakutye ng’abantu bo Isirayiri bwe bakutya, era gamanye nti erinnya lyo liri ku nnyumba eno gye nzimbye.

34 “Abantu bo bwe banaagendanga gy’onoobanga obasindise+ mu lutalo okulwanyisa abalabe baabwe, ne bakusaba+ nga batunudde eri ekibuga kino ky’olonze n’eri ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo,+ 35 owuliranga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oyima mu ggulu n’obayisa mu ngeri ey’obwenkanya.+

36 “Bwe banaayonoonanga mu maaso go (kubanga teri muntu atayonoona),+ n’obasunguwalira era n’obawaayo eri omulabe waabwe, n’abatwala mu buwambe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi,+ 37 ne beekuba mu kifuba nga bali eyo mu nsi gye banaabanga batwaliddwa mu buwambe ne badda gy’oli ne bakusaba obakwatirwe ekisa nga bali mu nsi gye banaabanga batwaliddwa mu buwambe nga bagamba nti, ‘Twayonoona, twasobya, era tweyisa bubi nnyo,’+ 38 ne badda gy’oli n’omutima gwabwe gwonna+ n’obulamu bwabwe bwonna nga bali mu buwambe+ mu nsi gye baatwalibwa nga bawambiddwa, ne basaba nga batunudde eri ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe n’ekibuga kye walonda+ n’ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo, 39 owuliranga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oyima mu ggulu, ekifo ky’obeeramu, n’obayisa mu ngeri ey’obwenkanya+ era n’osonyiwa abantu bo aboonoonye gy’oli.

40 “Kaakano Ai Katonda wange, nkwegayiridde, amaaso go ka gatunuulirenga n’amatu go ka gawulirenga essaala ezinaasabibwanga mu kifo kino.+ 41 Kaakano Ai Yakuwa Katonda genda mu kifo kyo eky’okuwummuliramu,+ ggwe n’Essanduuko y’amaanyi go. Ai Yakuwa Katonda, bakabona bo ka balage nti obulokozi buva gy’oli,* era abo abeesigwa gy’oli ka basanyuke olw’obulungi bwo.+ 42 Ai Yakuwa Katonda, toyabulira oyo gwe wafukako amafuta.+ Jjukira okwagala okutajjulukuka kwe walaga Dawudi omuweereza wo.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share