Yeremiya
30 Awo Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 2 “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Wandiika mu kitabo byonna bye nkugamba. 3 Kubanga “laba! ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndikuŋŋaanya abantu bange ab’omu Isirayiri ne Yuda abaawambibwa,”+ Yakuwa bw’agamba, “era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era eriddamu n’eba yaabwe.”’”+
4 Bino Yakuwa bye yagamba Isirayiri ne Yuda.
5 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Tuwulidde eddoboozi ly’abantu abajugumira;
Waliwo entiisa, tewali mirembe.
6 Mubuuze obanga omusajja asobola okuzaala.
Kale lwaki ndaba nga buli musajja ow’amaanyi yeekutte ku lubuto*
Ng’omukazi azaala?+
Lwaki buli omu apeeruuse mu maaso?
7 Kya nnaku! Kubanga olunaku olwo lubi nnyo.*+
Tewali lulufaanana,
Kiseera Yakobo ky’alabiramu ennaku.
Naye ajja kulokolebwa agiwone.”
8 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Yakuwa ow’eggye, “ndimenya ekikoligo ne nkiggya ku nsingo zaabwe, era enkoba zaabwe ndizikutulamu, era abagwira tebaliddamu kubafuula baddu baabwe.* 9 Abantu bange baliweereza Yakuwa Katonda waabwe ne kabaka waabwe Dawudi gwe ndibateerawo.”+
10 “Era naawe omuweereza wange Yakobo, totya,” Yakuwa bw’agamba,
“Era totekemuka ggwe Isirayiri.+
Kubanga nja kukulokola nkuggye ewala
Era n’abaana bo nja kubalokola mbaggye mu nsi gye baatwalibwa mu buwambe.+
Yakobo ajja kudda abe mu mirembe nga tewali kimutaataaganya,
Nga tewali n’omu abatiisa.”+
11 “Kubanga ndi wamu naawe okukulokola,” Yakuwa bw’agamba.
12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Tewali kiyinza kuwonya kiwundu kyo.+
Ebbwa lyo si lya kuwona.
13 Tewali anaakuwolereza,
Tewali ngeri ya kuwonya bbwa lyo.
Tewali ddagala lya kukuwonya.
14 Baganzi bo bonna bakwerabidde.+
Tebakyakunoonya.
Nkukubye ng’omulabe bw’akuba,+
Nkubonerezza ng’omuntu omukambwe bw’abonereza,
Olw’ensobi zo ez’amaanyi n’ebibi byo ebingi.+
15 Lwaki weemulugunya olw’ekiwundu kyo?
Obulumi bwo tebusobola kuggwaawo!
Kino nkikukoze
Olw’ensobi zo ez’amaanyi n’ebibi byo ebingi.+
Abo abakubba bajja kubbibwa,
N’abo abakunyaga nja kubawaayo banyagibwe.”+
17 “Naye nja kukussuusa era mponye ebiwundu byo,”+ Yakuwa bw’agamba,
“Wadde nga bakuyita eyaboolebwa:
‘Sayuuni, atalina amunoonya.’”+
18 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba ŋŋenda kukuŋŋaanya ab’omu weema za Yakobo abaawambibwa,+
Era nja kusaasira weema ze.
Ekibuga kijja kuddamu kizimbibwe ku kasozi kaakyo,+
Era olubiri lujja kubeera mu kifo kyalwo ekituufu.
19 Mu byo mujja kuwulirwamu amaloboozi g’abantu abaseka n’abeebaza.+
Nja kubaaza, era tebajja kuba batono;+
Nja kubafuula bangi,*
Era omuwendo gwabwe tegujja kuba mutono.+
20 Abaana be bajja kuba nga bwe baali edda,
Era ekibiina kye kijja kunywezebwa mu maaso gange.+
Abo bonna abamubonyaabonya nja kubakolako.+
21 Owuwe ow’ekitiibwa ajja kuba omu ku babe,
Era amufuga ajja kuva mu ye.
Nja kumukkiriza asembere, era ajja kuntuukirira.”
“Kubanga bwe kitandibadde kityo, ani eyandyetantadde* okuntuukirira?” Yakuwa bw’agamba.
22 “Mujja kuba bantu bange+ era nange nja kuba Katonda wammwe.”+
23 Laba! Embuyaga ya Yakuwa ejja kujja n’obusungu bungi,+
Omuyaga ogw’amaanyi ogukuntira ku mitwe gy’ababi.
24 Obusungu bwa Yakuwa tebujja kukkakkana
Okutuusa lw’anaatuukiriza ebiruubirirwa by’omu mutima gwe.+
Mu nnaku ez’enkomerero kino mulikitegeera.+