LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obubaka obukwata ku Babulooni (1-22)

        • Olunaku lwa Yakuwa luli kumpi! (6)

        • Abameedi ba kuwamba Babulooni (17)

        • Babulooni tekiriddamu kubeeramu bantu (20)

Isaaya 13:1

Marginal References

  • +Yer 25:12; 50:1-3; Kub 18:2
  • +Is 1:1

Isaaya 13:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ekikondo.”

Marginal References

  • +Yer 51:12, 27, 28

Isaaya 13:3

Footnotes

  • *

    Obut., “be ntukuzza.”

Marginal References

  • +Is 45:1

Isaaya 13:4

Marginal References

  • +Dan 5:28
  • +Yer 50:15

Isaaya 13:5

Marginal References

  • +Yer 50:9; 51:28
  • +Yer 51:11

Isaaya 13:6

Marginal References

  • +Is 13:18; Yer 50:13

Isaaya 13:7

Marginal References

  • +Yer 50:43

Isaaya 13:8

Marginal References

  • +Dan 5:6

Isaaya 13:9

Marginal References

  • +Yer 50:23, 29

Isaaya 13:10

Marginal References

  • +Yob 9:9; 38:31; Am 5:8

Isaaya 13:11

Marginal References

  • +Zb 137:8; Yer 51:37; Kub 18:2
  • +Yer 50:29; Dan 5:22, 23

Isaaya 13:12

Marginal References

  • +Yer 50:30; 51:3, 4
  • +1Sk 10:11

Isaaya 13:13

Marginal References

  • +Yer 51:29

Isaaya 13:14

Marginal References

  • +Yer 50:16

Isaaya 13:15

Marginal References

  • +Yer 51:3, 4

Isaaya 13:16

Marginal References

  • +Zb 137:8, 9

Isaaya 13:17

Marginal References

  • +Is 21:2; Yer 50:9; 51:11; Dan 5:30, 31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2007, lup. 8

Isaaya 13:18

Marginal References

  • +Yer 50:14

Isaaya 13:19

Marginal References

  • +Is 47:5; Dan 4:30
  • +Is 47:1
  • +Lub 19:24, 25; Yer 50:40

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 3

Isaaya 13:20

Marginal References

  • +Yer 50:3, 13; 51:29, 37; Kub 18:21

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 3

Isaaya 13:21

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ne dayimooni ezaakula ng’embuzi.”

Marginal References

  • +Kub 18:2

Isaaya 13:22

Marginal References

  • +Yer 51:33

General

Is. 13:1Yer 25:12; 50:1-3; Kub 18:2
Is. 13:1Is 1:1
Is. 13:2Yer 51:12, 27, 28
Is. 13:3Is 45:1
Is. 13:4Dan 5:28
Is. 13:4Yer 50:15
Is. 13:5Yer 50:9; 51:28
Is. 13:5Yer 51:11
Is. 13:6Is 13:18; Yer 50:13
Is. 13:7Yer 50:43
Is. 13:8Dan 5:6
Is. 13:9Yer 50:23, 29
Is. 13:10Yob 9:9; 38:31; Am 5:8
Is. 13:11Zb 137:8; Yer 51:37; Kub 18:2
Is. 13:11Yer 50:29; Dan 5:22, 23
Is. 13:12Yer 50:30; 51:3, 4
Is. 13:121Sk 10:11
Is. 13:13Yer 51:29
Is. 13:14Yer 50:16
Is. 13:15Yer 51:3, 4
Is. 13:16Zb 137:8, 9
Is. 13:17Is 21:2; Yer 50:9; 51:11; Dan 5:30, 31
Is. 13:18Yer 50:14
Is. 13:19Is 47:5; Dan 4:30
Is. 13:19Is 47:1
Is. 13:19Lub 19:24, 25; Yer 50:40
Is. 13:20Yer 50:3, 13; 51:29, 37; Kub 18:21
Is. 13:21Kub 18:2
Is. 13:22Yer 51:33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 13:1-22

Isaaya

13 Obubaka obukwata ku Babulooni+ Isaaya+ mutabani wa Amozi bwe yafuna mu kwolesebwa:

 2 “Muwanike akabonero*+ ku lusozi olw’enjazi enjereere.

Mubakoowoole, mubawuubire emikono,

Bayingire mu miryango gy’abakungu.

 3 Ndagidde abo be nnonze.*+

Mpise abalwanyi bange njoleke obusungu bwange,

Era bajaganya n’amalala.

 4 Wulira! Ekibiina ky’abantu mu nsozi;

Bawulikika nga bangi nnyo!

Wulira! Oluyoogaano lw’obwakabaka,

Oluyoogaano lw’amawanga agakuŋŋaanye awamu!+

Yakuwa ow’eggye akuŋŋaanya eggye okulwana olutalo.+

 5 Bava mu nsi ey’ewala,+

Bava eyo eggulu gye likoma,

Yakuwa n’eby’okulwanyisa eby’obusungu bwe,

Okuleeta akabi eri ensi yonna.+

 6 Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Yakuwa luli kumpi okutuuka!

Lugenda kujja ng’okuzikiriza okuva eri Omuyinza w’Ebintu Byonna.+

 7 Eyo ye nsonga lwaki emikono gyonna gijja kunafuwa,

Era omutima gwa buli muntu gujja kusaanuuka olw’okutya.+

 8 Abantu basattira.+

Basambagala era bali mu bulumi bungi

Ng’omukazi alumwa okuzaala.

Buli omu atunuulira munne ng’atidde nnyo,

Era bonna ennaku ebeetimbye ku maaso.

 9 Laba! Olunaku lwa Yakuwa lujja,

Lukambwe era lulina ekiruyi n’obusungu obubuubuuka,

Okufuula ensi eyo ekintu eky’entiisa,+

N’okusaanyaawo aboonoonyi abagirimu.

10 Kubanga emmunyeenye ez’oku ggulu awamu n’ebibinja byazo+

Tebijja kwaka;

Enjuba ejja kuvaayo ng’ekutte ekizikiza,

N’omwezi tegujja kwaka.

11 Ndivunaana ensi olw’ebibi byayo,+

N’ababi olw’ebyonoono byabwe.

Ndikomya okwekulumbaza kw’abo abeetulinkiriza,

Era ndikkakkanya amalala g’abo abatulugunya abalala.+

12 Omuntu ndimufuula wa bbula okusinga zzaabu alongooseddwa,+

Era abantu ndibafuula ba bbula okusinga zzaabu ow’e Ofiri.+

13 Eyo ye nsonga lwaki ndikankanya eggulu,

N’ensi erinyeenyezebwa eve mu kifo kyayo,+

Olw’ekiruyi kya Yakuwa ow’eggye ku lunaku olw’obusungu bwe obubuubuuka.

14 Okufaananako enjaza eyiggibwa, n’ensolo ez’omu kisibo ezitalina azikuŋŋaanya,

Buli omu aliddayo mu bantu be;

Buli omu aliddukira mu nsi ye.+

15 Buli alisangibwa alifumitibwa,

Na buli alikwatibwa alittibwa n’ekitala.+

16 Abaana baabwe balikubwa wansi ne babetentebwa nga balaba,+

Ennyumba zaabwe zirinyagibwamu ebintu,

Ne bakyala baabwe balikwatibwa.

17 Ndibawendulira Abameedi,+

Abatwala ffeeza ng’ekintu ekitaliimu

Era abatasanyukira zzaabu.

18 Emitego gyabwe egy’obusaale girisesebbula abavubuka;+

Tebalikwatirwa kisa bibala bya lubuto

Wadde okusaasira abaana abato.

19 Era Babulooni obwakabaka obusingayo ekitiibwa,+

Obulungi bw’Abakaludaaya era okwenyumiriza kwabwe,+

Kirifaanana nga Sodomu ne Ggomola Katonda bwe yabizikiriza.+

20 Tekiriddamu kubeeramu bantu,

Era tekiriba kifo kya kubeeramu emirembe gyonna.+

Tewaliba Muwalabu asimbayo weema ye,

Era tewaliba basumba bawummulizaayo bisibo byabwe.

21 Ensolo ez’omu ddungu ze zirigalamirayo;

Ennyumba zaabwe zirijjula ebiwuugulu.

Maaya ziribeera eyo,+

N’embuzi ez’omu nsiko* ziribuukirabuukira eyo.

22 Ensolo eziwoowoola ziriwoowoolera mu minaala gyakyo,

N’ebibe biriwoowoolera mu mbiri zaakyo ennungi.

Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, era ennaku zaakyo tezijja kwongezebwayo.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share