LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yekoyakazi, kabaka wa Yuda (1-3)

      • Yekoyakimu, kabaka wa Yuda (4-8)

      • Yekoyakini, kabaka wa Yuda (9, 10)

      • Zeddeekiya, kabaka wa Yuda (11-14)

      • Yerusaalemi kizikirizibwa (15-21)

      • Kuulo ayisa ekiragiro okuddamu okuzimba yeekaalu (22, 23)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:1

Marginal References

  • +1By 3:15; Yer 22:11
  • +2Sk 23:30, 31

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:3

Footnotes

  • *

    Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +2Sk 18:14; 23:33

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:4

Marginal References

  • +2Sk 23:29; Yer 46:2
  • +2Sk 23:34; Yer 22:11, 12

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:5

Marginal References

  • +Yer 26:20, 21; 36:32
  • +2Sk 23:36, 37

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:6

Marginal References

  • +2Sk 24:1; 25:1; Yer 25:1
  • +2Sk 24:16; Dan 1:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:7

Marginal References

  • +Ezr 1:7; Yer 27:16; Dan 1:2; 5:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:8

Marginal References

  • +2Sk 24:5, 6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:9

Marginal References

  • +Yer 22:24; Mat 1:12
  • +2Sk 24:8, 9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:10

Marginal References

  • +2Sk 24:10; Yer 29:1, 2; Ezk 1:2
  • +2Sk 24:13; Yer 27:17, 18
  • +2Sk 24:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:11

Marginal References

  • +Yer 37:1
  • +2Sk 24:18-20; Yer 52:1-3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:12

Marginal References

  • +Yer 21:1, 2; 34:2; 38:14, 24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:13

Footnotes

  • *

    Obut., “yakakanyaza ensingo.”

Marginal References

  • +2Sk 24:20; Ezk 17:12-15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:14

Marginal References

  • +2Sk 16:11; Ezk 8:10, 11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:16

Marginal References

  • +2By 30:1, 10
  • +Yer 5:12
  • +Yer 20:7
  • +Zb 74:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:17

Marginal References

  • +2Sk 24:2
  • +Lev 26:31; Ma 28:25; Zb 79:2
  • +Ezk 9:7
  • +Kuk 2:21
  • +Ma 28:49-51

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:18

Marginal References

  • +2Sk 20:16, 17; Is 39:6; Yer 27:19-22; 52:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:19

Marginal References

  • +Zb 74:4-7
  • +Yer 52:14
  • +1Sk 9:7; 2Sk 25:9, 10; Zb 79:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:20

Marginal References

  • +2Sk 25:21; Zb 137:1
  • +Yer 27:6, 7
  • +Ezr 1:1-3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:21

Marginal References

  • +Yer 25:9
  • +Lev 26:34
  • +Yer 25:12; Zek 1:12

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:22

Footnotes

  • *

    Obut., “yasiikuula omwoyo.”

Marginal References

  • +Is 44:28; 45:1
  • +Yer 29:14; 32:42; 33:10, 11
  • +Ezr 1:1-4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:23

Marginal References

  • +Dan 5:18
  • +Is 44:28
  • +Ezr 7:12, 13

General

2 Byom. 36:11By 3:15; Yer 22:11
2 Byom. 36:12Sk 23:30, 31
2 Byom. 36:32Sk 18:14; 23:33
2 Byom. 36:42Sk 23:29; Yer 46:2
2 Byom. 36:42Sk 23:34; Yer 22:11, 12
2 Byom. 36:5Yer 26:20, 21; 36:32
2 Byom. 36:52Sk 23:36, 37
2 Byom. 36:62Sk 24:1; 25:1; Yer 25:1
2 Byom. 36:62Sk 24:16; Dan 1:1
2 Byom. 36:7Ezr 1:7; Yer 27:16; Dan 1:2; 5:2
2 Byom. 36:82Sk 24:5, 6
2 Byom. 36:9Yer 22:24; Mat 1:12
2 Byom. 36:92Sk 24:8, 9
2 Byom. 36:102Sk 24:10; Yer 29:1, 2; Ezk 1:2
2 Byom. 36:102Sk 24:13; Yer 27:17, 18
2 Byom. 36:102Sk 24:17
2 Byom. 36:11Yer 37:1
2 Byom. 36:112Sk 24:18-20; Yer 52:1-3
2 Byom. 36:12Yer 21:1, 2; 34:2; 38:14, 24
2 Byom. 36:132Sk 24:20; Ezk 17:12-15
2 Byom. 36:142Sk 16:11; Ezk 8:10, 11
2 Byom. 36:162By 30:1, 10
2 Byom. 36:16Yer 5:12
2 Byom. 36:16Yer 20:7
2 Byom. 36:16Zb 74:1
2 Byom. 36:172Sk 24:2
2 Byom. 36:17Lev 26:31; Ma 28:25; Zb 79:2
2 Byom. 36:17Ezk 9:7
2 Byom. 36:17Kuk 2:21
2 Byom. 36:17Ma 28:49-51
2 Byom. 36:182Sk 20:16, 17; Is 39:6; Yer 27:19-22; 52:17
2 Byom. 36:19Zb 74:4-7
2 Byom. 36:19Yer 52:14
2 Byom. 36:191Sk 9:7; 2Sk 25:9, 10; Zb 79:1
2 Byom. 36:202Sk 25:21; Zb 137:1
2 Byom. 36:20Yer 27:6, 7
2 Byom. 36:20Ezr 1:1-3
2 Byom. 36:21Yer 25:9
2 Byom. 36:21Lev 26:34
2 Byom. 36:21Yer 25:12; Zek 1:12
2 Byom. 36:22Is 44:28; 45:1
2 Byom. 36:22Yer 29:14; 32:42; 33:10, 11
2 Byom. 36:22Ezr 1:1-4
2 Byom. 36:23Dan 5:18
2 Byom. 36:23Is 44:28
2 Byom. 36:23Ezr 7:12, 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:1-23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

36 Awo abantu b’omu nsi ne baddira Yekoyakazi mutabani wa Yosiya+ ne bamufuula kabaka mu Yerusaalemi n’adda mu kifo kya kitaawe.+ 2 Yekoyakazi yatandika okufuga ng’alina emyaka 23, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu. 3 Naye kabaka wa Misiri yamuggya ku bwakabaka mu Yerusaalemi era ensi n’agitanza ttalanta* 100 eza ffeeza ne ttalanta emu eya zzaabu.+ 4 Ate era kabaka wa Misiri yafuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakazi kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi era n’akyusa erinnya lye n’amutuuma Yekoyakimu; naye muganda we Yekoyakazi Neeko+ n’amutwala e Misiri.+

5 Yekoyakimu+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 25, era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11. Yeeyongera okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda we.+ 6 Nebukadduneeza+ kabaka wa Babulooni yamulumba amusibe empingu bbiri ez’ekikomo amutwale e Babulooni.+ 7 Era Nebukadduneeza yatwala e Babulooni ebimu ku bintu by’omu nnyumba ya Yakuwa n’abiteeka mu lubiri lwe e Babulooni.+ 8 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekoyakimu, ebintu eby’omuzizo bye yakola n’ebintu ebibi ebimumanyiddwako, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Isirayiri n’aba Yuda. Awo Yekoyakini mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+

9 Yekoyakini+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 18, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu n’ennaku kkumi; yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa.+ 10 Ku ntandikwa y’omwaka, Kabaka Nebukadduneeza yatuma abasajja be bamutwale e Babulooni+ era batwale n’ebintu eby’omuwendo eby’omu nnyumba ya Yakuwa.+ Era yaddira Zeddeekiya muganda wa kitaawe n’amufuula kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.+

11 Zeddeekiya+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 21 era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11.+ 12 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda we. Teyeetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya,+ eyayogeranga nga Yakuwa bwe yamulagiranga. 13 Yajeemera ne Kabaka Nebukadduneeza+ eyali amulayizza mu linnya lya Katonda; yawaganyala* era n’akakanyaza omutima gwe n’agaana okudda eri Yakuwa Katonda wa Isirayiri. 14 Abakulu bonna aba bakabona n’abantu baayitiriza obutaba beesigwa; baakola eby’omuzizo byonna eby’amawanga, era baayonoona ennyumba ya Yakuwa+ gye yatukuza mu Yerusaalemi.

15 Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu. 16 Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.

17 Kyeyava abaleetera kabaka w’Abakaludaaya+ eyatta n’ekitala abavubuka baabwe+ mu kifo kyabwe ekitukuvu.+ Teyasaasira mulenzi wadde omuwala, omukadde wadde oyo aliko obulemu.+ Katonda yawaayo buli kimu mu mukono gwe.+ 18 Ebintu byonna eby’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima, ebinene n’ebitono, n’eby’obugagga eby’omu nnyumba ya Yakuwa n’eby’obugagga bya kabaka n’eby’abaami be, byonna yabitwala e Babulooni.+ 19 Yayokya ennyumba ya Katonda ow’amazima+ era n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi;+ yayokya ebigo byamu byonna era n’ayonoona ebintu byonna eby’omuwendo.+ 20 Abo bonna abaawona ekitala yabatwala e Babulooni+ ne bafuuka baweereza be+ era baweereza ba batabani be, okutuusa obwakabaka bwa Buperusi lwe bwatandika okufuga,+ 21 okutuukiriza ekigambo Yakuwa kye yayogera okuyitira mu Yeremiya,+ okutuusa ensi lwe yamala okusasula ssabbiiti zaayo.+ Ennaku zonna ze yamala ng’eri matongo yali ekwata ssabbiiti, etuukirize emyaka 70.+

22 Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo+ owa Buperusi, ekigambo Yakuwa kye yayogera ng’ayitira mu Yeremiya+ okusobola okutuukirira, Yakuwa yateeka ekirowoozo mu mutima* gwa Kuulo kabaka wa Buperusi n’ayisa ekirango mu bwakabaka bwe bwonna era n’akissa ne mu buwandiike,+ nga kigamba nti: 23 “Bw’ati Kabaka Kuulo owa Buperusi bw’agamba, ‘Yakuwa Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi+ era annonze okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.+ Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Yakuwa Katonda we abeere naye, agende.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share