LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku baami ba Isirayiri (1-14)

Ezeekyeri 19:3

Marginal References

  • +2By 36:1

Ezeekyeri 19:4

Marginal References

  • +2Sk 23:31-34; 2By 36:4; Yer 22:11, 12

Ezeekyeri 19:6

Marginal References

  • +Yer 22:17

Ezeekyeri 19:7

Marginal References

  • +Nge 28:15

Ezeekyeri 19:10

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’omuzabbibu mu nnimiro yo y’emizabbibu.”

Marginal References

  • +Zb 80:8; Is 5:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 11

Ezeekyeri 19:12

Marginal References

  • +Is 5:5; Ezk 15:6
  • +2Sk 23:34; 24:6; 25:5-7
  • +Ma 32:22; Ezk 15:4

Ezeekyeri 19:13

Marginal References

  • +Ma 28:48; Yer 17:5, 6; 52:27

Ezeekyeri 19:14

Marginal References

  • +Ezk 17:16, 18

General

Ezk. 19:32By 36:1
Ezk. 19:42Sk 23:31-34; 2By 36:4; Yer 22:11, 12
Ezk. 19:6Yer 22:17
Ezk. 19:7Nge 28:15
Ezk. 19:10Zb 80:8; Is 5:7
Ezk. 19:12Is 5:5; Ezk 15:6
Ezk. 19:122Sk 23:34; 24:6; 25:5-7
Ezk. 19:12Ma 32:22; Ezk 15:4
Ezk. 19:13Ma 28:48; Yer 17:5, 6; 52:27
Ezk. 19:14Ezk 17:16, 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 19:1-14

Ezeekyeri

19 “Yimba oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku baami ba Isirayiri, 2 ogambe nti,

‘Nnyoko yali ani? Yali mpologoma enkazi eyabanga n’empologoma endala.

Yagalamiranga awali empologoma envubuka ez’amaanyi n’ekuza abaana baayo.

 3 Yakuza omu ku baana baayo, n’eba empologoma envubuka ey’amaanyi.+

Yayiga okuyigga,

N’etandika n’okulya abantu.

 4 Amawanga gaawulira ebigikwatako, ne gagikwasiza mu bunnya bwago,

Ne gagisika n’amalobo ne gagitwala mu nsi ya Misiri.+

 5 Nnyina waayo yalindirira, naye bwe yalaba nga tewakyali ssuubi lya mwana gwayo kudda,

N’eddira omwana gwayo omulala n’egutendeka okuba empologoma envubuka ey’amaanyi.

 6 Nagwo gwatambuliranga wamu n’empologoma endala ne gufuuka empologoma envubuka ey’amaanyi.

Yayiga okuyigga n’etandika n’okulya abantu.+

 7 Yatambuliratambuliranga mu minaala gyabwe n’ezikiriza ebibuga byabwe,

Ensi eyali efuuse amatongo n’ejjula okuwuluguma kwayo.+

 8 Awo amawanga okuva mu bitundu ebiriraanyeewo ne gagirumba, ne gagisuulako ekitimba,

N’ekwatibwa mu bunnya bwago.

 9 Ne bagisika n’amalobo ne bagiteeka mu kiguli, ne bagitwala eri kabaka wa Babulooni.

Baagisibira eyo, okuwuluguma kwayo kuleme kuddamu kuwulirwa mu nsozi za Isirayiri.

10 Nnyoko yali ng’omuzabbibu+ mu musaayi gwo,* omuzabbibu ogwasimbibwa awali amazzi.

Gwabala nnyo era ne guba n’amatabi mangi olw’okubeera awali amazzi amangi.

11 Amatabi gaagwo gaafuuka magumu nga gagwanira okuba ddamula z’abafuzi.

Gwakula ne gusinga emiti emirala gyonna obuwanvu,

Ne guba nga gusobola okulengerwa olw’obuwanvu bwagwo n’olw’ebikoola byagwo ebingi n’amatabi gaagwo amangi.

12 Naye gwakuulibwa n’obusungu,+ ne gusuulibwa wansi,

Empewo ey’ebuvanjuba n’ekaza ebibala byagwo.

Amatabi gaagwo amagumu gaawogoka ne gakala,+ ne gookebwa omuliro.+

13 Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,

Mu nsi enkalu etaliimu mazzi.+

14 Omuliro gwava ku matabi gaagwo ne gulanda ne gwokya emitunsi gyagwo n’ebibala byagwo,

Era tewaasigalawo ttabi na limu eggumu, wadde ddamula ey’okufugisa.+

“‘Luno luyimba lwa kukungubaga, era lunaabanga luyimba lwa kukungubaga.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share