LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ebinaatuuka ku nsozi za Isirayiri (1-14)

        • Ebifaananyi ebyenyinyaza bya kusaanyizibwawo (4-6)

        • “Mujja kumanya nti nze Yakuwa” (7)

Ezeekyeri 6:4

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.

Marginal References

  • +Is 27:9
  • +Lev 26:30

Ezeekyeri 6:5

Marginal References

  • +Yer 8:1, 2

Ezeekyeri 6:6

Marginal References

  • +Yer 2:15; 32:29; Mi 3:12
  • +Ezk 16:39

Ezeekyeri 6:7

Marginal References

  • +Yer 14:18
  • +Ezk 7:4

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 77

Ezeekyeri 6:8

Marginal References

  • +Yer 30:10; 44:28; Ezk 14:22

Ezeekyeri 6:9

Footnotes

  • *

    Oba, “emigwenyufu.”

  • *

    Oba, “agayenda ku.”

Marginal References

  • +Ma 30:1, 2; Zb 137:1
  • +Zb 78:40, 41; Is 63:10
  • +Kbl 15:39
  • +Ezk 20:43; 36:31

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 98-100

Ezeekyeri 6:10

Marginal References

  • +Ezk 33:29; Dan 9:12; Zek 1:6

Ezeekyeri 6:11

Marginal References

  • +Yer 15:2; 16:4; Ezk 5:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 6

Ezeekyeri 6:12

Marginal References

  • +Ezk 5:13

Ezeekyeri 6:13

Marginal References

  • +Ezk 12:15
  • +Yer 8:2
  • +Ezk 20:28

Ezeekyeri 6:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 6

General

Ezk. 6:4Is 27:9
Ezk. 6:4Lev 26:30
Ezk. 6:5Yer 8:1, 2
Ezk. 6:6Yer 2:15; 32:29; Mi 3:12
Ezk. 6:6Ezk 16:39
Ezk. 6:7Yer 14:18
Ezk. 6:7Ezk 7:4
Ezk. 6:8Yer 30:10; 44:28; Ezk 14:22
Ezk. 6:9Ma 30:1, 2; Zb 137:1
Ezk. 6:9Zb 78:40, 41; Is 63:10
Ezk. 6:9Kbl 15:39
Ezk. 6:9Ezk 20:43; 36:31
Ezk. 6:10Ezk 33:29; Dan 9:12; Zek 1:6
Ezk. 6:11Yer 15:2; 16:4; Ezk 5:12
Ezk. 6:12Ezk 5:13
Ezk. 6:13Ezk 12:15
Ezk. 6:13Yer 8:2
Ezk. 6:13Ezk 20:28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 6:1-14

Ezeekyeri

6 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, tunula eri ensozi za Isirayiri olangirire ebinaazituukako. 3 Zigambe nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri muwulire ekigambo kya Yakuwa Mukama Afuga Byonna: Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensozi, obusozi, emigga, n’ebiwonvu: “Laba! nja kubaleetako ekitala, era nja kusaanyaawo ebifo byammwe ebigulumivu. 4 Ebyoto byammwe n’ebyoterezo byammwe eby’obubaani bijja kumenyebwamenyebwa,+ era abantu bammwe abanaaba battiddwa nja kubasuula mu maaso g’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza.*+ 5 Nja kusuula emirambo gy’abantu ba Isirayiri mu maaso g’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza, era nja kusaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.+ 6 Mu bifo byonna gye mubeera, ebibuga bijja kuzikirizibwa,+ era ebifo ebigulumivu bijja kumenyebwamenyebwa bifuuke matongo.+ Ebyoto byammwe bijja kumenyebwamenyebwa bisaanewo, ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza bijja kusaanawo, ebyoterezo byammwe eby’obubaani bijja kumenyebwamenyebwa, n’ebintu byonna bye mukola bijja kumalibwawo. 7 Abo abanattibwa bajja kugwa wakati mu mmwe,+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.+

8 “‘“Naye nja kulekawo ensigalira, kubanga abamu ku mmwe mujja kuwona ekitala nga muli mu mawanga, bwe munaaba musaasaanidde mu nsi zonna.+ 9 Abo abanaawonawo bajja kunzijukira nga bali eyo mu mawanga gye banaatwalibwa mu buwambe.+ Bajja kumanya nga nnanakuwala olw’emitima gyabwe egitali myesigwa* egyanvaako,+ n’olw’amaaso gaabwe ageegomba* ebifaananyi ebyenyinyaza.+ Bajja kukwatibwa ensonyi olw’ebintu ebibi era eby’omuzizo bye baakola era babyetamwe.+ 10 Bajja kumanya nti nze Yakuwa, era nti nnali sitiisatiisa butiisatiisa bwe nnagamba nti nja kubatuusaako akabi kano.”’+

11 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Kuba mu ngalo era samba wansi ku ttaka era kungubaga olw’ebintu byonna ebibi n’olw’eby’omuzizo ebyakolebwa ennyumba ya Isirayiri, kubanga bajja kuttibwa n’ekitala, era bajja kufa enjala n’endwadde.+ 12 Oyo ali ewala ajja kufa endwadde, oyo ali okumpi ajja kuttibwa n’ekitala, na buli anaawonawo ajja kufa enjala; era nja kubamalirako ekiruyi kyange.+ 13 Era mujja kumanya nti nze Yakuwa,+ abantu baabwe abanaaba battiddwa bwe banaaba bagaŋŋalamye awali ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza, okwetooloola ebyoto byabwe,+ ku buli kasozi akawanvu, ne ku ntikko zonna ez’ensozi, ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi, ne wansi w’amatabi g’emiti eminene, we baaweerangayo ebiweebwayo eby’akaloosa okusanyusa ebifaananyi byabwe byonna ebyenyinyaza.+ 14 Nja kugolola omukono gwange mbabonereze era ensi nja kugifuula matongo; ebifo byonna gye babeera nja kubifuula matongo bibe bibi nnyo n’okusinga eddungu eririraanye Dibula. Era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share