2 Bassekabaka
15 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu* kabaka wa Isirayiri, Azaliya*+ mutabani wa Kabaka Amaziya+ owa Yuda yafuuka kabaka.+ 2 Yalina emyaka 16 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka 52 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya ow’e Yerusaalemi. 3 Yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, nga kitaawe Amaziya bwe yakola.+ 4 Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo,+ era abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka era nga bakyanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebyo.+ 5 Yakuwa yalwaza Azaliya, era yali mugenge+ okutuusa lwe yafa. Yabeeranga mu nnyumba ey’enjawulo,+ nga mutabani we Yosamu+ y’alabirira eby’omu lubiri,* era nga y’alamula abantu b’omu nsi.+ 6 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Azaliya,+ ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 7 Oluvannyuma Azaliya yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,+ ne bamuziika ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.
8 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Azaliya+ owa Yuda, Zekkaliya+ mutabani wa Yerobowaamu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era yafugira emyezi mukaaga. 9 Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga bajjajjaabe bwe baakolanga. Teyalekayo bibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+ 10 Awo Salumu mutabani wa Yabesi n’amukolera olukwe n’amuttira+ e Ibuleyamu.+ Bwe yamala okumutta n’atandika okufuga mu kifo kye. 11 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Zekkaliya biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 12 Ekyo Yakuwa kye yagamba Yeeku nti: “Batabani bo+ balituula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri okutuukira ddala ku mulembe ogw’okuna,”+ ne kituukirira.
13 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Uzziya+ owa Yuda, Salumu mutabani wa Yabesi yafuuka kabaka, era yafugira mu Samaliya omwezi gumu. 14 Awo Menakemu mutabani wa Gadi n’ava e Tiruza+ n’agenda e Samaliya, n’atta Salumu+ mutabani wa Yabesi. Bwe yamala okumutta n’atandika okufuga mu kifo kye. 15 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Salumu n’olukwe lwe yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 16 Awo Menakemu n’ava e Tiruza n’alumba Tifusa n’azikiriza abaalimu bonna n’abo abaali mu bitundu ebikiriraanye, kubanga abaali mu kibuga ekyo tebaamuggulirawo nzigi. Yakirumba n’abaaga abakazi bonna ab’embuto abaakirimu.
17 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Azaliya owa Yuda, Menakemu mutabani wa Gadi yafuuka kabaka wa Isirayiri, era yafugira mu Samaliya emyaka kkumi. 18 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa. Obulamu bwe bwonna teyalekayo bibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+ 19 Awo Kabaka Puli+ owa Bwasuli n’alumba Isirayiri, Menakemu n’amuwa ttalanta* 1,000 eza ffeeza amuyambe okwenywereza ku bwakabaka.+ 20 Ffeeza oyo Menakemu yamusolooza ku basajja bonna abaali abagagga era ab’ebitiibwa mu Isirayiri.+ Buli musajja yamuggyako sekeri 50 eza ffeeza, n’aziwa kabaka wa Bwasuli. Awo kabaka wa Bwasuli n’addayo, n’atasigala mu nsi eyo. 21 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Menakemu,+ ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 22 Awo Menakemu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, Pekakiya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.
23 Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Kabaka Azaliya owa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era yafugira emyaka ebiri. 24 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa. Teyalekayo bibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+ 25 Awo omukungu we ayitibwa Peka,+ mutabani wa Lemaliya, n’amukolera olukwe n’amuttira e Samaliya mu munaala ogw’oku nnyumba* ya kabaka ng’ali wamu ne Alugobu ne Aliye. Yali wamu n’abasajja 50 ab’e Gireyaadi, era bwe yamala okumutta n’atandika okufuga mu kifo kye. 26 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Pekakiya, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri.
27 Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Azaliya owa Yuda, Peka+ mutabani wa Lemaliya yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era yafugira emyaka 20. 28 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, era teyalekayo bibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+ 29 Mu biseera bya Kabaka Peka owa Isirayiri, Tigulasu-pireseri+ kabaka wa Bwasuli yalumba n’awamba Yiyoni, Aberu-besumaaka,+ Yanowa, Kedesi,+ Kazoli, Gireyaadi,+ ne Ggaliraaya, ekitundu kyonna ekya Nafutaali,+ abantu baamu n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Bwasuli.+ 30 Awo Koseya+ mutabani wa Ela n’akolera Peka mutabani wa Lemaliya olukwe n’amutta, n’atandika okufuga mu kifo kye mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yosamu+ mutabani wa Uzziya. 31 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Peka, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri.
32 Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isirayiri, Yosamu+ mutabani wa Kabaka Uzziya+ owa Yuda yafuuka kabaka. 33 Yatandika okufuga ng’alina emyaka 25, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yerusa muwala wa Zadooki.+ 34 Yakolanga ebirungi mu maaso ga Yakuwa nga kitaawe Uzziya bwe yakola.+ 35 Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka era nga bakyanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebyo.+ Ye yazimba omulyango ogw’eky’engulu ogw’ennyumba ya Yakuwa.+ 36 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yosamu, ebyo bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 37 Mu nnaku ezo, Yakuwa yasindika Lezini kabaka wa Busuuli ne Peka+ mutabani wa Lemaliya okulumba Yuda.+ 38 Yosamu yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe era yaziikibwa ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.