LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Koseya, kabaka wa Isirayiri (1-4)

      • Okugwa kwa Isirayiri (5, 6)

      • Abayisirayiri bawaŋŋangusibwa olw’okuva ku Katonda (7-23)

      • Abagwira basenzebwa mu bibuga by’omu Samaliya (24-26)

      • Okusinza kw’Abasamaliya (27-41)

2 Bassekabaka 17:1

Marginal References

  • +2Sk 15:30

2 Bassekabaka 17:3

Marginal References

  • +2Sk 18:9; Is 10:5, 6; Kos 10:14, 15
  • +2Sk 18:14

2 Bassekabaka 17:4

Marginal References

  • +Is 31:1

2 Bassekabaka 17:6

Marginal References

  • +Kos 13:16
  • +Lev 26:32, 33; Ma 4:27; 28:64; 1Sk 14:15
  • +1By 5:26
  • +2Sk 18:9-11

2 Bassekabaka 17:7

Footnotes

  • *

    Obut., “Baatyanga.”

Marginal References

  • +Kuv 20:2
  • +Kuv 20:5

2 Bassekabaka 17:9

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, mu buli kifo, ka kibe nga kirimu abantu batono oba bangi.

Marginal References

  • +Kos 12:11

2 Bassekabaka 17:10

Marginal References

  • +Kuv 34:13; Ma 16:21, 22
  • +Ma 12:2; Is 57:5

2 Bassekabaka 17:11

Marginal References

  • +Lev 20:23

2 Bassekabaka 17:12

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.

Marginal References

  • +1Sk 12:28-30; 21:25, 26
  • +Kuv 20:3-5; Lev 26:1; Ma 4:23

2 Bassekabaka 17:13

Marginal References

  • +2By 24:18, 19; 36:15, 16; Yer 25:4
  • +Is 55:7

2 Bassekabaka 17:14

Footnotes

  • *

    Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe ng’ensingo ya.”

Marginal References

  • +Ma 1:32; 31:27

2 Bassekabaka 17:15

Marginal References

  • +Ma 5:2; 29:12
  • +Kos 4:6
  • +Ma 32:21; 1Sa 12:21
  • +Zb 115:4-8; Is 44:9
  • +Ma 12:30

2 Bassekabaka 17:16

Footnotes

  • *

    Oba, “ez’ekyuma ekisaanuuse.”

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +1Sk 12:28-30
  • +1Sk 14:15; 16:33
  • +Ma 4:19; Yer 8:2
  • +1Sk 16:30, 31; 22:51, 53; 2Sk 10:21; 23:4, 5

2 Bassekabaka 17:17

Footnotes

  • *

    Obut., “baayisanga.”

  • *

    Obut., “beetunda okukola.”

Marginal References

  • +2Sk 16:1, 3
  • +Ma 18:10; Mi 5:12

2 Bassekabaka 17:18

Marginal References

  • +Yos 23:12, 13; Is 42:24

2 Bassekabaka 17:19

Marginal References

  • +1Sk 14:22; Yer 3:8
  • +Ezk 23:4, 11

2 Bassekabaka 17:21

Marginal References

  • +1Sk 12:20

2 Bassekabaka 17:22

Marginal References

  • +1Sk 12:28-30

2 Bassekabaka 17:23

Marginal References

  • +Ma 28:45, 63; 1Sk 14:16; Kos 1:4; Am 5:27; Mi 1:6
  • +2Sk 18:11

2 Bassekabaka 17:24

Marginal References

  • +2Sk 19:11, 13

2 Bassekabaka 17:25

Footnotes

  • *

    Oba, “tebaasinza.”

Marginal References

  • +Kuv 23:29

2 Bassekabaka 17:28

Footnotes

  • *

    Obut., “okutyamu.”

Marginal References

  • +Lub 28:18, 19; Yos 16:1; 1Sk 12:28, 29
  • +Yok 4:20-22

2 Bassekabaka 17:29

Footnotes

  • *

    Oba, “katonda waabwe.”

2 Bassekabaka 17:30

Marginal References

  • +2Sk 17:24

2 Bassekabaka 17:31

Marginal References

  • +2Sk 18:34

2 Bassekabaka 17:32

Marginal References

  • +1Sk 12:31, 32; 13:33

2 Bassekabaka 17:33

Footnotes

  • *

    Oba, “obulombolombo bw’eddiini.”

Marginal References

  • +2Sk 17:24, 41

2 Bassekabaka 17:34

Footnotes

  • *

    Obut., “atya.”

Marginal References

  • +Lub 32:28

2 Bassekabaka 17:35

Marginal References

  • +Kuv 19:5; 24:7; Ma 29:1
  • +Kuv 20:3-5; 23:24; 34:14; Ma 5:9

2 Bassekabaka 17:36

Marginal References

  • +Kuv 6:6
  • +Ma 6:12, 13

2 Bassekabaka 17:37

Marginal References

  • +Ma 31:9

2 Bassekabaka 17:38

Marginal References

  • +Ma 4:23

2 Bassekabaka 17:40

Footnotes

  • *

    Oba, “okugoberera obulombolombo bw’eddiini yaabwe.”

Marginal References

  • +2Sk 17:34

2 Bassekabaka 17:41

Marginal References

  • +Ezr 4:1, 2

General

2 Bassek. 17:12Sk 15:30
2 Bassek. 17:32Sk 18:9; Is 10:5, 6; Kos 10:14, 15
2 Bassek. 17:32Sk 18:14
2 Bassek. 17:4Is 31:1
2 Bassek. 17:6Kos 13:16
2 Bassek. 17:6Lev 26:32, 33; Ma 4:27; 28:64; 1Sk 14:15
2 Bassek. 17:61By 5:26
2 Bassek. 17:62Sk 18:9-11
2 Bassek. 17:7Kuv 20:2
2 Bassek. 17:7Kuv 20:5
2 Bassek. 17:9Kos 12:11
2 Bassek. 17:10Kuv 34:13; Ma 16:21, 22
2 Bassek. 17:10Ma 12:2; Is 57:5
2 Bassek. 17:11Lev 20:23
2 Bassek. 17:121Sk 12:28-30; 21:25, 26
2 Bassek. 17:12Kuv 20:3-5; Lev 26:1; Ma 4:23
2 Bassek. 17:132By 24:18, 19; 36:15, 16; Yer 25:4
2 Bassek. 17:13Is 55:7
2 Bassek. 17:14Ma 1:32; 31:27
2 Bassek. 17:15Ma 5:2; 29:12
2 Bassek. 17:15Kos 4:6
2 Bassek. 17:15Ma 32:21; 1Sa 12:21
2 Bassek. 17:15Zb 115:4-8; Is 44:9
2 Bassek. 17:15Ma 12:30
2 Bassek. 17:161Sk 12:28-30
2 Bassek. 17:161Sk 14:15; 16:33
2 Bassek. 17:16Ma 4:19; Yer 8:2
2 Bassek. 17:161Sk 16:30, 31; 22:51, 53; 2Sk 10:21; 23:4, 5
2 Bassek. 17:172Sk 16:1, 3
2 Bassek. 17:17Ma 18:10; Mi 5:12
2 Bassek. 17:18Yos 23:12, 13; Is 42:24
2 Bassek. 17:191Sk 14:22; Yer 3:8
2 Bassek. 17:19Ezk 23:4, 11
2 Bassek. 17:211Sk 12:20
2 Bassek. 17:221Sk 12:28-30
2 Bassek. 17:23Ma 28:45, 63; 1Sk 14:16; Kos 1:4; Am 5:27; Mi 1:6
2 Bassek. 17:232Sk 18:11
2 Bassek. 17:242Sk 19:11, 13
2 Bassek. 17:25Kuv 23:29
2 Bassek. 17:28Lub 28:18, 19; Yos 16:1; 1Sk 12:28, 29
2 Bassek. 17:28Yok 4:20-22
2 Bassek. 17:302Sk 17:24
2 Bassek. 17:312Sk 18:34
2 Bassek. 17:321Sk 12:31, 32; 13:33
2 Bassek. 17:332Sk 17:24, 41
2 Bassek. 17:34Lub 32:28
2 Bassek. 17:35Kuv 19:5; 24:7; Ma 29:1
2 Bassek. 17:35Kuv 20:3-5; 23:24; 34:14; Ma 5:9
2 Bassek. 17:36Kuv 6:6
2 Bassek. 17:36Ma 6:12, 13
2 Bassek. 17:37Ma 31:9
2 Bassek. 17:38Ma 4:23
2 Bassek. 17:402Sk 17:34
2 Bassek. 17:41Ezr 4:1, 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 17:1-41

2 Bassekabaka

17 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya+ mutabani wa Ela yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era yafugira emyaka mwenda. 2 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, naye teyenkana bakabaka ba Isirayiri abaamusooka. 3 Kabaka Salumaneseri owa Bwasuli yalwanyisa Koseya,+ Koseya n’afuuka omuweereza we n’atandika okumuwa omusolo.+ 4 Kyokka, kabaka wa Bwasuli yamanya ku lukwe Koseya lwe yali akoze, kubanga yali atumye ababaka eri Kabaka So owa Misiri+ era yali takyawa kabaka wa Bwasuli musolo nga bwe yakolanga mu myaka egy’emabega. Awo kabaka wa Bwasuli n’amuteeka mu kkomera n’amusiba.

5 Awo kabaka wa Bwasuli n’alumba ensi yonna, era n’agenda e Samaliya n’akizingiza okumala emyaka esatu. 6 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Koseya, kabaka wa Bwasuli yawamba Samaliya.+ Awo n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse+ e Bwasuli n’abateeka e Kala n’e Kaboli okumpi n’Omugga Gozani,+ ne mu bibuga by’Abameedi.+

7 Ekyo kyabaawo olw’okuba abantu ba Isirayiri baali boonoonye mu maaso ga Yakuwa Katonda waabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri mu mukono gwa Falaawo kabaka wa Misiri.+ Baasinzanga* bakatonda abalala,+ 8 baagoberera obulombolombo bw’amawanga Yakuwa ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri, era ne bagoberera n’obulombolombo bakabaka ba Isirayiri bwe baali bataddewo.

9 Abayisirayiri baali bakola ebintu ebitali birungi mu maaso ga Yakuwa Katonda waabwe. Baazimbanga ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna,+ okuva ku munaala gw’omukuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.* 10 Baateeka empagi ezisinzibwa n’ebikondo ebisinzibwa+ ku busozi bwonna obuwanvu ne wansi w’emiti gyonna egirina ebikoola ebingi;+ 11 era baanyookerezanga omukka gwa ssaddaaka ku bifo byonna ebigulumivu, ng’amawanga Yakuwa ge yali agobye mu maaso gaabwe+ ne gagenda mu buwaŋŋanguse bwe gaakolanga. Baakolanga ebintu ebibi okunyiiza Yakuwa.

12 Beeyongera okusinza ebifaananyi ebyenyinyaza,*+ Yakuwa bye yabagamba nti: “Temubisinzanga!”+ 13 Yakuwa yalabulanga Isirayiri ne Yuda ng’ayitira mu bannabbi be bonna ne mu abo bonna abaategeezanga abantu okwolesebwa okwavanga gy’ali,+ ng’agamba nti: “Muleke amakubo gammwe amabi!+ Mukwate amateeka gange n’ebiragiro byange byonna ebiwandiikiddwa mu mateeka ge nnawa bajjajjammwe era ge nnabawa nga mpitira mu baweereza bange bannabbi.” 14 Naye tebaawuliriza, era baasigala bakakanyavu nga* bajjajjaabwe abataalaga kukkiriza mu Yakuwa Katonda waabwe.+ 15 Beeyongera okugaana amateeka ge n’endagaano ye+ gye yakola ne bajjajjaabwe, era tebaafaayo ku kulabula kwe yabawa.+ Beeyongera okusinza ebifaananyi ebitagasa+ nabo ne bafuuka abatagasa,+ nga bakoppa amawanga agaali gabeetoolodde Yakuwa ge yabagaana okukoppa.+

16 Baaleka ebiragiro byonna ebya Yakuwa Katonda waabwe era baakola ebifaananyi bibiri eby’ennyana ez’ekyuma*+ n’ekikondo ekisinzibwa,*+ ne bavunnamira eggye lyonna ery’oku ggulu,+ era ne baweereza Bbaali.+ 17 Ate era baayokyanga* batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ baakolanga eby’obulaguzi+ era baanoonyanga obubonero okulagulwa, era baakolanga* ebibi mu maaso ga Yakuwa okumunyiiza.

18 Yakuwa kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayiri, n’abaggya mu maaso ge.+ Teyalekawo n’omu okuggyako ekika kya Yuda kyokka.

19 N’ab’ekika kya Yuda tebaakwata biragiro bya Yakuwa Katonda waabwe;+ baatambulira mu bulombolombo Isirayiri bwe yali egoberera.+ 20 Yakuwa yeesamba bazzukulu ba Isirayiri bonna, n’abafeebya n’abawangayo mu mukono gw’abanyazi, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge. 21 Yakutula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati, kabaka.+ Naye Yerobowaamu yaleetera Isirayiri okulekera awo okugoberera Yakuwa, era yabaleetera okukola ekibi eky’amaanyi. 22 Abantu ba Isirayiri baatambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yali akoze.+ Tebaalekayo kubikola, 23 okutuusa Yakuwa lwe yaggya Isirayiri mu maaso ge, nga bwe yayogera ng’ayitira mu baweereza be bonna bannabbi.+ Abayisirayiri baggibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu Bwasuli+ gye bali n’okutuusa leero.

24 Awo kabaka wa Bwasuli n’aggya abantu e Babulooni, n’e Kuusi, n’e Ava, n’e Kamasi, n’e Sefavayimu,+ n’abateeka mu bibuga bya Samaliya Abayisirayiri mwe baali babeera; beddiza Samaliya ne babeera mu bibuga byayo. 25 Abantu abo bwe baali baakatandika okubeera mu bibuga ebyo, tebaatya* Yakuwa. Yakuwa kyeyava asindika empologoma+ ne zitta abamu ku bo. 26 Awo kabaka wa Bwasuli n’ategeezebwa nti: “Abantu be watwala mu buwaŋŋanguse n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi ngeri ya kusinzaamu Katonda wa mu nsi eyo. N’olwekyo abasindikira empologoma ne zibatta kubanga tewali n’omu ku bo amanyi ngeri ya kusinzaamu Katonda w’omu nsi eyo.”

27 Awo kabaka wa Bwasuli n’alagira nti: “Muzzeeyo omu ku bakabona be mwawaŋŋangusa abeere eyo abayigirize engeri y’okusinzaamu Katonda w’omu nsi eyo.” 28 Awo omu ku bakabona abaali bawaŋŋangusiddwa okuva mu Samaliya n’addayo e Beseri,+ n’atandika okuyigiriza abantu engeri gye baali basaanidde okusinzaamu* Yakuwa.+

29 Naye abantu aba buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe* ne babateeka mu masinzizo ag’oku bifo ebigulumivu Abasamaliya ge baali bazimbye; buli ggwanga lyakola bwe lityo mu bibuga gye lyabeeranga. 30 Abantu abaava e Babulooni baakola Sukkosu-benosi, abaava e Kuusi baakola Nerugali, abaava e Kamasi+ baakola Asima, 31 Abantu abaava mu Avva baakola Nibukazi ne Talutaki. Abasefavayimu baayokyanga abaana baabwe mu muliro okubawaayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda b’e Sefavayimu.+ 32 Wadde baali batya Yakuwa, beerondera mu bantu bakabona ab’okuweereza ku bifo ebigulumivu, era abo be baabakulemberanga mu kusinza okwabanga mu nnyumba ez’okusinzizaamu ku bifo ebigulumivu.+ 33 Bwe batyo baatyanga Yakuwa, naye baasinzanga bakatonda baabwe nga bagoberera okusinza* okw’omu mawanga gye baali baggiddwa.+

34 N’okutuusa leero bakyasinza nga bwe baasinzanga edda. Tewali n’omu asinza* Yakuwa wadde akwata Amateeka n’ebiragiro Yakuwa bye yawa abaana ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri;+ 35 Yakuwa bwe yakola nabo endagaano,+ yabalagira nti: “Temusinzanga bakatonda balala, era temubavunnamiranga wadde okubaweereza, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.+ 36 Naye Yakuwa eyabaggya mu nsi ya Misiri n’amaanyi amangi, n’omukono ogugoloddwa,+ gwe muba mutya,+ era gwe muba muvunnamira, era gwe muba muwa ssaddaaka. 37 Amateeka n’ebiragiro ne bye yasalawo bye yabawandiikira,+ mubikwatenga n’obwegendereza; era temusinzanga bakatonda balala. 38 Endagaano gye nkoze nammwe temugyerabiranga,+ era temusinzanga bakatonda balala. 39 Naye Yakuwa Katonda wammwe gwe muba mutya, kubanga y’ajja okubanunula mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”

40 Naye tebaawuliriza, wabula beeyongera okusinza nga bwe baasinzanga edda.*+ 41 Abantu b’amawanga ago baatyanga Yakuwa,+ naye era baasinzanga n’ebifaananyi byabwe ebyole. N’okutuusa leero, abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakyakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share