LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obufuzi bwa Lekobowaamu (1-12)

      • Abaleevi abeesigwa bajja mu Yuda (13-17)

      • Ab’enju ya Lekobowaamu (18-23)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:1

Footnotes

  • *

    Obut., “abalondemu.”

Marginal References

  • +Lub 49:27; 2By 14:8
  • +1Sk 12:21-24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:2

Marginal References

  • +2By 12:15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:4

Marginal References

  • +1Sk 11:31; 2By 10:15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:6

Footnotes

  • *

    Oba, “Yanyweza.”

Marginal References

  • +Lub 35:19; Mat 2:1
  • +Am 1:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:7

Marginal References

  • +2By 28:18
  • +1Sa 22:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:8

Marginal References

  • +1By 18:1
  • +1Sa 23:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:9

Marginal References

  • +2By 32:9
  • +Yos 10:10; Yer 34:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:10

Marginal References

  • +Yos 19:42, 48
  • +Yos 14:14, 15; 2Sa 2:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:14

Marginal References

  • +Kbl 35:2, 3
  • +1Sk 12:31, 32

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:15

Footnotes

  • *

    Obut., “okuweerezanga embuzi.”

Marginal References

  • +1Sk 13:33
  • +Lev 17:7
  • +1Sk 12:26, 28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:16

Marginal References

  • +Ma 12:11; 1By 22:1; 2By 15:8, 9; 30:10, 11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:18

Marginal References

  • +1Sa 16:6; 17:13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:20

Marginal References

  • +2Sa 13:1; 18:33
  • +1Sk 15:1; 2By 12:16; Mat 1:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:21

Marginal References

  • +Ma 17:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:23

Footnotes

  • *

    Oba, “n’asaasaanya.”

Marginal References

  • +2By 11:5, 11

General

2 Byom. 11:1Lub 49:27; 2By 14:8
2 Byom. 11:11Sk 12:21-24
2 Byom. 11:22By 12:15
2 Byom. 11:41Sk 11:31; 2By 10:15
2 Byom. 11:6Lub 35:19; Mat 2:1
2 Byom. 11:6Am 1:1
2 Byom. 11:72By 28:18
2 Byom. 11:71Sa 22:1
2 Byom. 11:81By 18:1
2 Byom. 11:81Sa 23:14
2 Byom. 11:92By 32:9
2 Byom. 11:9Yos 10:10; Yer 34:7
2 Byom. 11:10Yos 19:42, 48
2 Byom. 11:10Yos 14:14, 15; 2Sa 2:1
2 Byom. 11:14Kbl 35:2, 3
2 Byom. 11:141Sk 12:31, 32
2 Byom. 11:151Sk 13:33
2 Byom. 11:15Lev 17:7
2 Byom. 11:151Sk 12:26, 28
2 Byom. 11:16Ma 12:11; 1By 22:1; 2By 15:8, 9; 30:10, 11
2 Byom. 11:181Sa 16:6; 17:13
2 Byom. 11:202Sa 13:1; 18:33
2 Byom. 11:201Sk 15:1; 2By 12:16; Mat 1:7
2 Byom. 11:21Ma 17:17
2 Byom. 11:232By 11:5, 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:1-23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

11 Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, amangu ago n’akuŋŋaanya ab’ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini,+ abasajja 180,000 abalwanyi abatendeke,* balwanyise Isirayiri bakomyewo obwakabaka eri Lekobowaamu.+ 2 Awo Yakuwa n’agamba Semaaya+ omusajja wa Katonda ow’amazima nti: 3 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne mu Benyamini nti, 4 ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Temugenda kulwanyisa baganda bammwe. Buli omu addeyo mu nnyumba ye, kubanga ekyo nze nnakireetedde okuba bwe kityo.”’”+ Ne bagondera ekigambo kya Yakuwa ne batagenda kulwana na Yerobowaamu.

5 Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba mu Yuda ebibuga ebiriko bbugwe. 6 Yazimba* Besirekemu+ ne Etamu ne Tekowa+ 7 ne Besu-zuli ne Soko+ ne Adulamu+ 8 ne Gaasi+ ne Malesa ne Zifu+ 9 ne Adolayimu ne Lakisi+ ne Azeka+ 10 ne Zola ne Ayalooni+ ne Kebbulooni,+ ebibuga ebyali mu Yuda ne mu Benyamini ebyaliko bbugwe. 11 Era yanyweza ebibuga ebyaliko bbugwe n’abiteekamu abakulembeze, n’abawa emmere n’amafuta n’omwenge. 12 Ate era mu bibuga eby’enjawulo yateekamu engabo ennene n’amafumu; yabinywereza ddala nnyo, era yeeyongera okufuga Yuda ne Benyamini.

13 Bakabona n’Abaleevi abaali mu Isirayiri yonna ne bava mu bitundu byabwe byonna ne bajja ne bamuwagira. 14 Abaleevi baaleka ettaka lyabwe n’ebintu byabwe+ ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba ku gw’okuweereza nga bakabona ba Yakuwa.+ 15 Yerobowaamu yeeteerawo bakabona ku bifo ebigulumivu+ okuweerezanga dayimooni ezaakula ng’embuzi*+ n’ennyana ze yali akoze.+ 16 Era okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, abo abaali bamaliridde mu mutima gwabwe okunoonya Yakuwa Katonda wa Isirayiri baagoberera bakabona n’Abaleevi ne bajja e Yerusaalemi okuwangayo ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.+ 17 Baanyweza obwakabaka bwa Yuda ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, kubanga baatambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani okumala emyaka esatu.

18 Awo Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era yali muwala wa Abikayiri muwala wa Eriyaabu+ mutabani wa Yese. 19 Yamuzaalira abaana ab’obulenzi bano: Yewusi, Semaliya, ne Zakamu. 20 Bwe yamala okuwasa oyo n’awasa ne Maaka muzzukulu wa Abusaalomu+ eyamuzaalira Abiya,+ ne Attayi, ne Ziza, ne Seromisi. 21 Lekobowaamu yayagala nnyo Maaka muzzukulu wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala bonna n’abazaana be.+ Yalina abakazi 18 n’abazaana 60, era yazaala abaana ab’obulenzi 28 n’ab’obuwala 60. 22 Lekobowaamu yalonda Abiya mutabani wa Maaka okukulira baganda be, kubanga gwe yayagala okufuula kabaka. 23 Naye yakozesa amagezi n’ateeka* abamu ku batabani be mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamini, mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe,+ n’abawa ebyetaago mu bungi era n’abawasiza abakazi bangi.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share