Yoweeri
1 Yakuwa yayogera ne Yoweeri* mutabani wa Pesweri n’amugamba nti:
2 “Muwulire kino mmwe abakadde,
Era mutege amatu mmwe mmwenna ababeera mu nsi eno.
Ekintu ekifaananako bwe kiti kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
Oba mu biseera bya bajjajjammwe?+
3 Mukibuulire abaana bammwe,
Abaana bammwe bakibuulire abaana baabwe,
N’abaana baabwe bakibuulire omulembe oguliddawo.
4 Ebyo enzige ezivaabira bye zaalekawo, enzige ezibeera mu bibinja zibiridde;+
Ebyo enzige ezibeera mu bibinja bye zaalekawo, enzige ezitannamera biwaawaatiro zibiridde;
Ebyo enzige ezitannamera biwaawaatiro bye zaalekawo, enzige ezirya ennyo zibiridde.+
5 Muzuukuke mmwe abatamiivu,+ mukaabe!
Mukube ebiwoobe mmwe mmwenna abanywi b’omwenge,
Kubanga omwenge omusu guggiddwa mu kamwa kammwe.+
6 Kubanga waliwo eggwanga erizze mu nsi yange; lya maanyi era abantu baalyo tebabalika.+
Amannyo gaalyo galinga ag’empologoma,+ n’emba zaalyo ziringa ez’empologoma.
7 Lizikirizza omuzabbibu gwange, n’omutiini gwange ligufudde kikonge,
Ligisasambulidde ddala ne ligisuula eri,
Amatabi gaagyo gafuuse meeru.
8 Kuba ebiwoobe ng’omuwala embeerera eyeesibye ebibukutu bw’akuba ebiwoobe
Ng’akaabira omusajja gw’abadde agenda okufumbirwa.*
9 Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke+ n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa+ tebikyaliwo mu nnyumba ya Yakuwa;
Bakabona, abaweereza ba Yakuwa, bakungubaga.
10 Ennimiro zoonooneddwa, ettaka likungubaga;+
Kubanga emmere ey’empeke eyonooneddwa, omwenge omusu gukalidde, amafuta gaweddewo.+
11 Abalimi batidde, abakola mu nnimiro z’emizabbibu bakuba ebiwoobe,
Olw’eŋŋaano n’olwa ssayiri;
Kubanga ebikungulwa mu nnimiro bisaanyeewo.
12 Omuzabbibu gukaze,
Omutiini guwotose.
Enkomamawanga n’olukindu ne apo,
Emiti gyonna egy’omu nnimiro, gikaze;+
Kubanga essanyu lifuuse buswavu mu bantu.
Mujje musule nga mwambadde ebibukutu, mmwe abaweereza ba Katonda wange;
Kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali biweebwayo eby’emmere ey’empeke+ n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa.+
14 Mulangirire* okusiiba; muyite olukuŋŋaana olw’enjawulo.+
Mukuŋŋaanye abakadde n’abantu bonna ab’omu nsi eno,
Bajje ku nnyumba ya Yakuwa Katonda wammwe,+ mukaabirire Yakuwa abayambe.
15 Woowe, olunaku olwo lujja!
Olunaku lwa Yakuwa luli kumpi okutuuka,+
Era lujja kujja ng’okuzikiriza okuva eri Omuyinza w’Ebintu Byonna!
16 Emmere teggiddwawo nga tulaba?
N’okujaguza n’essanyu tebiweddeewo mu nnyumba ya Katonda waffe?
17 Ensigo* zikakanyalidde wansi w’ebitiiyo byazo.
Amaterekero galekeddwawo.
Ebyagi bimenyeddwa, kubanga emmere yafa.
18 N’ensolo ezirundibwa zisinda!
Amagana g’ente gadda eno n’eri nga gasobeddwa, kubanga tegalina muddo!
Endiga nazo zibonaabona olw’okwonoona kw’abantu.
19 Nja kukukoowoola ggwe, Ai Yakuwa;+
Kubanga omuliro gwokezza omuddo ogw’omu lukoola,
Era ennimi z’omuliro zookezza emiti gyonna egy’oku ttale.
20 Ensolo ez’omu nsiko nazo ziwankirawankira ggwe,
Kubanga obugga bukalidde,
Era omuliro gwokezza omuddo ogw’omu lukoola.”