LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yoweeri 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakuwa asalira amawanga gonna omusango (1-17)

        • Ekiwonvu kya Yekosofaati (2, 12)

        • Ekiwonvu eky’okusaliramu omusango (14)

        • Yakuwa, kigo eri Isirayiri (16)

      • Yakuwa awa abantu be omukisa (18-21)

Yoweeri 3:1

Marginal References

  • +Ma 30:3; Yer 30:3; Ezk 39:28; Am 9:14; Zef 3:20

Yoweeri 3:2

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Yakuwa Ye Mulamuzi.”

Marginal References

  • +Ezk 38:22; Yow. 3:12; Zef 3:8; Zek 14:3; Kub 16:14, 16
  • +Ezk 35:10, 11; Zef 2:8, 9

Yoweeri 3:3

Marginal References

  • +Ob 11

Yoweeri 3:4

Marginal References

  • +Is 23:12; Yer 47:4; Ezk 25:15-17; Am 1:9, 10; Zek 9:1, 2

Yoweeri 3:5

Marginal References

  • +2By 21:16, 17

Yoweeri 3:6

Marginal References

  • +Ma 28:32; Ezk 27:8, 13

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2021

Yoweeri 3:7

Marginal References

  • +Is 11:11, 12; 43:5, 6; 49:12; Yer 23:7, 8; Ezk 34:12

Yoweeri 3:8

Marginal References

  • +Ob 19, 20

Yoweeri 3:9

Footnotes

  • *

    Obut., “Mwetukulize.”

Marginal References

  • +Is 34:1, 2
  • +Ezk 38:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1993,

Yoweeri 3:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1993,

Yoweeri 3:11

Marginal References

  • +Ezk 38:9; Zef 3:8; Kub 16:14

Yoweeri 3:12

Marginal References

  • +Zb 76:8, 9; Yow. 3:2

Yoweeri 3:13

Marginal References

  • +Is 63:3; Kub 14:18-20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1993,

Yoweeri 3:14

Marginal References

  • +Is 34:2; Zef 1:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2007, lup. 5

    1/1/1993,

Yoweeri 3:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1993,

Yoweeri 3:16

Marginal References

  • +Zb 50:15

Indexes

  • Research Guide

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    7/2013, lup. 1

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1993,

Yoweeri 3:17

Footnotes

  • *

    Oba, “abagwira.”

Marginal References

  • +Zek 8:3
  • +Is 4:3
  • +Is 60:18; Nak 1:15; Zek 14:21

Yoweeri 3:18

Marginal References

  • +Am 9:13; Zek 9:17
  • +Ezk 47:1; Kub 22:1

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 203-204

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1999, lup. 28

Yoweeri 3:19

Marginal References

  • +Is 19:1
  • +Yer 49:17
  • +Ezk 25:12, 13
  • +Am 1:11; Ob 10

Yoweeri 3:20

Marginal References

  • +Zb 48:8; Is 33:20; 60:15; Am 9:15

Yoweeri 3:21

Marginal References

  • +Is 4:4; Ezk 36:25; Mi 7:18, 19
  • +Is 24:23; Mi 4:7

General

Yo. 3:1Ma 30:3; Yer 30:3; Ezk 39:28; Am 9:14; Zef 3:20
Yo. 3:2Ezk 38:22; Yow. 3:12; Zef 3:8; Zek 14:3; Kub 16:14, 16
Yo. 3:2Ezk 35:10, 11; Zef 2:8, 9
Yo. 3:3Ob 11
Yo. 3:4Is 23:12; Yer 47:4; Ezk 25:15-17; Am 1:9, 10; Zek 9:1, 2
Yo. 3:52By 21:16, 17
Yo. 3:6Ma 28:32; Ezk 27:8, 13
Yo. 3:7Is 11:11, 12; 43:5, 6; 49:12; Yer 23:7, 8; Ezk 34:12
Yo. 3:8Ob 19, 20
Yo. 3:9Is 34:1, 2
Yo. 3:9Ezk 38:7
Yo. 3:11Ezk 38:9; Zef 3:8; Kub 16:14
Yo. 3:12Zb 76:8, 9; Yow. 3:2
Yo. 3:13Is 63:3; Kub 14:18-20
Yo. 3:14Is 34:2; Zef 1:14
Yo. 3:16Zb 50:15
Yo. 3:17Zek 8:3
Yo. 3:17Is 4:3
Yo. 3:17Is 60:18; Nak 1:15; Zek 14:21
Yo. 3:18Am 9:13; Zek 9:17
Yo. 3:18Ezk 47:1; Kub 22:1
Yo. 3:19Is 19:1
Yo. 3:19Yer 49:17
Yo. 3:19Ezk 25:12, 13
Yo. 3:19Am 1:11; Ob 10
Yo. 3:20Zb 48:8; Is 33:20; 60:15; Am 9:15
Yo. 3:21Is 4:4; Ezk 36:25; Mi 7:18, 19
Yo. 3:21Is 24:23; Mi 4:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yoweeri 3:1-21

Yoweeri

3 “Kubanga laba! mu nnaku ezo era mu kiseera ekyo,

Bwe ndikomyawo ab’omu Yuda ne Yerusaalemi abaawambibwa,+

 2 Ndikuŋŋaanya amawanga gonna

Ne ngatwala mu Kiwonvu kya Yekosafaati.*

Eyo gye ndigasalira omusango+

Ku lw’abantu bange era obusika bwange Isirayiri,

Kubanga baabasaasaanya mu mawanga,

Era baagabana ensi yange.+

 3 Baakubira abantu bange obululu okubagabana;+

Baawangayo omwana ow’obulenzi bafune malaaya,

N’omwana ow’obuwala baamutundanga bafune omwenge banywe.

 4 Kiki kye munvunaana,

Ggwe Ttuulo ne Sidoni nammwe mmwenna ebitundu bya Bufirisuuti?

Nnina kye nnabakola kye munneesasuza?

Bwe muba nga munneesasuza,

Mu bwangu ddala nange nja kubakola nga bwe mukoze.+

 5 Kubanga mututte ffeeza wange ne zzaabu wange,+

Era mututte mu yeekaalu zammwe ebintu byange ebisingayo obulungi;

 6 Abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi mubaguzizza Abayonaani,+

Musobole okubaggya mu nsi yaabwe mubatwale ewala;

 7 Laba, ndibakomyawo okuva gye mwabatunda,+

Era nammwe ndibakola nga bwe mukoze.

 8 Abaana bammwe ab’obulenzi n’ab’obuwala ndibatunda mu mukono gw’abantu ba Yuda,+

Era nabo balibaguza abasajja b’e Seba, eggwanga eriri ewala;

Yakuwa kennyini y’akyogedde.

 9 Kino mukirangirire mu mawanga:+

‘Mweteekereteekere* olutalo! Mukunge abasajja ab’amaanyi!

Abasirikale bonna ka basembere balumbe!+

10 Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n’ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu.

Omunafu k’agambe nti: “Ndi wa maanyi.”

11 Mmwe mmwenna amawanga ageetooloddewo, mujje muyambe era mukuŋŋaane wamu!’”+

Ai Yakuwa, serengesa abalwanyi bo mu kifo ekyo.

12 “Amawanga ka gagolokoke gajje mu Kiwonvu kya Yekosafaati;

Kubanga eyo gye nja okutuula nsalire amawanga gonna ageetooloddewo omusango.+

13 Musale n’ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde.

Muserengete musogole, kubanga essogolero lijjudde.+

Amatogero gabooga, kubanga ebintu ebibi bye bakola biyitiridde.

14 Ebibinja, ebibinja by’abantu biri mu kiwonvu eky’okusaliramu omusango,

Kubanga olunaku lwa Yakuwa olw’okusalirako omusango mu kiwonvu ekyo luli kumpi okutuuka.+

15 Enjuba n’omwezi birikwata ekizikiza,

N’emmunyeenye teziryaka.

16 Yakuwa aliwuluguma ng’ayima mu Sayuuni,

Aliyimusa eddoboozi lye ng’ayima mu Yerusaalemi.

Eggulu n’ensi biriyuuguuma;

Naye Yakuwa aliba kiddukiro eri abantu be,+

Aliba kigo eri abantu ba Isirayiri.

17 Era mulimanya nti nze Yakuwa Katonda wammwe, abeera mu Sayuuni, olusozi lwange olutukuvu.+

Yerusaalemi kirifuuka kifo kitukuvu,+

Era abantu be mutamanyi* tebaliddamu kukiyitamu.+

18 Mu kiseera ekyo ensozi ziritonnya omwenge omusu,+

Obusozi bulikulukuta amata,

N’obugga bw’omu Yuda bwonna bulikulukuta amazzi.

Ensulo y’amazzi erikulukuta+ okuva mu nnyumba ya Yakuwa

N’efukirira Ekiwonvu ky’Emiti gya Sita.

19 Naye Misiri erifuuka matongo,+

Ne Edomu erifuuka ddungu era matongo,+

Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyakolebwa ku bantu ba Yuda;+

Baayiwa omusaayi ogutaliiko musango mu nsi ya Yuda.+

20 Naye mu Yuda mwo munaabeerangamu abantu,

Ne mu Yerusaalemi munaabeerangamu abantu emirembe n’emirembe.+

21 Ndibaggyako omusango gw’okuyiwa omusaayi gwe nnali mbavunaana;+

Yakuwa ajja kubeeranga mu Sayuuni.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share