Obadiya
1 Kuno kwe kwolesebwa Obadiya* kwe yafuna:
Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’ayogedde ku Edomu+ nti:
“Tuwulidde ebiva eri Yakuwa,
Omubaka atumiddwa mu mawanga ng’agamba nti:
‘Musituke, tweteeketeeke tumulwanyise.’”+
2 “Laba! Nkufudde owa wansi mu mawanga;
Era onyoomebwa nnyo.+
3 Okwetulinkiriza okw’omu mutima gwo kukulimbye+
Ggwe abeera mu kiddukiro eky’omu lwazi,
Waggulu mu nsozi, ng’ogamba mu mutima gwo nti,
‘Ani alimpanulayo n’anzisa wansi?’
4 Ekifo ky’obeeramu ne bw’okiwanika waggulu* ng’empungu bw’ekola,
Oba ne bw’oteeka ekisu kyo emmunyeenye gye ziri,
Ndikuwanulayo,” Yakuwa bw’agamba.
5 “Singa ababbi bajja gy’oli, oba singa abanyazi bakulumba ekiro,
Tebandibbye ebyo byokka bye baagala?
(Nga wandizikiriridde ddala!)
Oba singa abanoga ezzabbibu be bajja gy’oli,
Tebandireseewo ezzabbibu erimu?+
6 Esawu nga bamunoonyezza!
Eby’obugagga bye ebyakwekebwa nga babiffeffesse ne babinyaga!
7 Bakusindiikirizza okutuukira ddala ku nsalo.
Abo bonna be wali okolagana nabo bakulimbyelimbye.
Abo be wali nabo mu mirembe bakuwangudde.
Abo abalya naawe balikutega ekitimba,
Naye tolikitegeera.
8 Ku lunaku olwo,” Yakuwa bw’agamba,
“Sirisaanyaawo ab’amagezi mu Edomu,+
Era n’abategeevu mu kitundu kya Esawu eky’ensozi?
9 Ggwe Temani,+ abalwanyi bo balikwatibwa entiisa,+
Kubanga buli omu mu kitundu kya Esawu eky’ensozi alittibwa.+
11 Ku lunaku lwe wayimirira awo n’otunula butunuzi,
Ku lunaku bannaggwanga lwe baatwala amagye ge mu buwambe,+
Abagwira lwe baayingira mu miryango gye ne bakuba obululu+ ku Yerusaalemi,
Naawe wali ng’omu ku bo.
12 Tosaanidde kusanyukira ekyo ekituuka ku muganda wo, ku lunaku lw’atuusiddwako akabi;+
Tosaanidde kusanyuka ku lunaku abantu ba Yuda lwe bazikirira;+
Era tosaanidde kuduula ku lunaku lwe balabirako ennaku.
13 Tosaanidde kuyingira mu mulyango gw’abantu bange ku lunaku lwe bafunirako emitawaana.+
Tosaanidde kusanyukira nnaku ye ku lunaku lw’afunirako emitawaana;
Era tosaanidde kussa mukono gwo ku bya bugagga bye ku lunaku lw’afunirako emitawaana.+
14 Tosaanidde kuyimirira mu masaŋŋanzira okutta abantu be abadduka,+
Era abantu be abawonyeewo tosaanidde kubawaayo eri abalabe baabwe ku lunaku lwe balabirako ennaku.+
15 Olunaku lwa Yakuwa luli kumpi, olunaku lw’anaalwanyisa amawanga gonna.+
Nga bwe wakola, naawe bwe batyo bwe balikukola.+
Nga bwe wayisa abalala, naawe bwe batyo bwe balikuyisa.
16 Nga bwe mwanywera ku lusozi lwange olutukuvu,
Amawanga gonna bwe galinywa.+
Galinywa ne gamira,
Era galiba ng’agatabangawo.
17 Naye abo abaliwonawo balibeera ku Lusozi Sayuuni,+
Era lulibeera lutukuvu;+
Ab’ennyumba ya Yakobo balitwala ebyabwe.+
18 Ennyumba ya Yakobo eriba muliro,
Ennyumba ya Yusufu eriba nnimi za muliro,
Ate ennyumba ya Esawu eriba ng’ebisubi;
Era zirigyokya ne zigisaanyaawo.
Tewaliba n’omu ku b’ennyumba ya Esawu aliwonawo,+
Kubanga Yakuwa kennyini y’akyogedde.
Balitwala ensi ya Efulayimu n’eya Samaliya;+
Benyamini alitwala Gireyaadi.
20 Ab’ekigo kino abaawaŋŋangusibwa,+
Abantu ba Isirayiri, balitwala ensi y’Abakanani okutuukira ddala e Zalefaasi.+
Ab’omu Yerusaalemi abaawaŋŋangusibwa, abaali mu Sefalaadi, balitwala ebibuga by’omu Negebu.+