LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zekkaliya 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abantu bayitibwa okudda eri Yakuwa (1-6)

        • ‘Mudde gye ndi nange nja kudda gye muli’ (3)

      • Okwolesebwa 1: Abeebagazi b’embalaasi mu miti gy’emikadasi (7-17)

        • “Yakuwa ajja kuddamu okubudaabuda Sayuuni” (17)

      • Okwolesebwa 2: Amayembe ana ne baffundi bana (18-21)

Zekkaliya 1:1

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Yakuwa ajjukidde.”

Marginal References

  • +Ezr 4:24; Kag 1:1; 2:10
  • +Ezr 5:1

Zekkaliya 1:2

Marginal References

  • +2Sk 22:16, 17; Yer 44:5, 6

Zekkaliya 1:3

Marginal References

  • +Ezk 33:11; Mi 7:18, 19; Mal 3:7

Zekkaliya 1:4

Marginal References

  • +Ezr 9:6, 7; Is 1:16; 55:7; Kos 14:1
  • +2By 36:15, 16; Yer 11:7, 8

Zekkaliya 1:6

Marginal References

  • +2By 36:17; Dan 9:11, 12
  • +Ma 28:20, 45; Yer 23:20

Zekkaliya 1:7

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B15.

Marginal References

  • +Ezr 4:24

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2033, 2116

Zekkaliya 1:11

Marginal References

  • +Zek 1:15

Zekkaliya 1:12

Marginal References

  • +Zb 74:10; 102:13
  • +2By 36:20, 21; Yer 25:11, 12; Dan 9:2; Zek 7:5

Zekkaliya 1:14

Marginal References

  • +Yow. 2:18; Zek 8:2

Zekkaliya 1:15

Marginal References

  • +Yer 48:11; Zek 1:11
  • +Is 54:8
  • +Zb 137:7; Is 47:6; Yer 51:35

Zekkaliya 1:16

Marginal References

  • +Is 12:1; Yer 33:14; Zek 8:3
  • +Ezr 6:14, 15; Is 44:28; Kag 1:14
  • +Yer 31:38, 39; Ezk 40:2, 3; Zek 2:1, 2

Zekkaliya 1:17

Marginal References

  • +Is 51:3
  • +Zb 132:13; Zek 2:12; 3:2

Zekkaliya 1:18

Marginal References

  • +Zek 1:21

Zekkaliya 1:19

Marginal References

  • +2Sk 24:12, 14
  • +2Sk 15:29; 17:6; 18:11; Yer 50:17
  • +2Sk 25:11; 2By 36:17, 19

General

Zek. 1:1Ezr 4:24; Kag 1:1; 2:10
Zek. 1:1Ezr 5:1
Zek. 1:22Sk 22:16, 17; Yer 44:5, 6
Zek. 1:3Ezk 33:11; Mi 7:18, 19; Mal 3:7
Zek. 1:4Ezr 9:6, 7; Is 1:16; 55:7; Kos 14:1
Zek. 1:42By 36:15, 16; Yer 11:7, 8
Zek. 1:62By 36:17; Dan 9:11, 12
Zek. 1:6Ma 28:20, 45; Yer 23:20
Zek. 1:7Ezr 4:24
Zek. 1:11Zek 1:15
Zek. 1:12Zb 74:10; 102:13
Zek. 1:122By 36:20, 21; Yer 25:11, 12; Dan 9:2; Zek 7:5
Zek. 1:14Yow. 2:18; Zek 8:2
Zek. 1:15Yer 48:11; Zek 1:11
Zek. 1:15Is 54:8
Zek. 1:15Zb 137:7; Is 47:6; Yer 51:35
Zek. 1:16Is 12:1; Yer 33:14; Zek 8:3
Zek. 1:16Ezr 6:14, 15; Is 44:28; Kag 1:14
Zek. 1:16Yer 31:38, 39; Ezk 40:2, 3; Zek 2:1, 2
Zek. 1:17Is 51:3
Zek. 1:17Zb 132:13; Zek 2:12; 3:2
Zek. 1:18Zek 1:21
Zek. 1:192Sk 24:12, 14
Zek. 1:192Sk 15:29; 17:6; 18:11; Yer 50:17
Zek. 1:192Sk 25:11; 2By 36:17, 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zekkaliya 1:1-21

Zekkaliya

1 Mu mwezi ogw’omunaana mu mwaka ogw’okubiri ogwa Daliyo,+ Yakuwa yayogera ne nnabbi Zekkaliya*+ mutabani wa Berekiya mutabani wa Iddo, n’amugamba nti: 2 “Yakuwa yasunguwalira nnyo bakitammwe.+

3 “Bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “‘Mudde gye ndi,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘nange nja kudda gye muli,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”’

4 “‘Temuba nga bakitammwe bannabbi ab’edda be baagambanga nti: “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba nti, ‘Muleke amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebibi.’”’+

“‘Naye ne batawuliriza era ne batassaayo mwoyo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.

5 “‘Kaakano bakitammwe bali ludda wa? Ate bo bannabbi baabeerawo mirembe gyonna? 6 Bakitammwe tebaalaba kutuukirizibwa kwa bigambo byange n’ebiragiro byange bye nnalagira abaweereza bange bannabbi?’+ Baakomawo gye ndi ne bagamba nti: ‘Yakuwa ow’eggye akoledde ddala nga bwe yagamba okutukola, ng’amakubo gaffe n’ebikolwa byaffe bwe biri.’”+

7 Ku lunaku olw’abiri mu ennya mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, omwezi gwa Sebati,* mu mwaka ogw’okubiri ogwa Daliyo,+ ekigambo kya Yakuwa kyajjira nnabbi Zekkaliya mutabani wa Berekiya mutabani wa Iddo nga kigamba nti: 8 “Nnafuna okwolesebwa ekiro. Waaliwo omusajja eyali yeebagadde embalaasi emmyufu ng’ayimiridde mu miti gy’emikadasi egyali mu kiwonvu; emabega we waaliyo embalaasi emmyufu, eya kitaka, n’enjeru.”

9 Awo ne ŋŋamba nti: “Bano be baani mukama wange?”

Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti: “Nja kubakubuulira.”

10 Omusajja eyali ayimiridde mu miti gy’emikadasi n’aŋŋamba nti: “Beebo Yakuwa b’asindise okuyitaayita mu nsi.” 11 Awo ne bagamba malayika wa Yakuwa eyali ayimiridde mu miti gy’emikadasi nti: “Tuyiseeyise mu nsi, era laba! ensi yonna etebenkedde era terina kigitawaanya.”+

12 Malayika wa Yakuwa n’agamba nti: “Ai Yakuwa ow’eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda+ by’osunguwalidde emyaka gino 70?”+

13 Awo Yakuwa n’addamu malayika eyali ayogera nange ng’akozesa ebigambo ebirungi era ebibudaabuda. 14 Awo malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti: “Yogerera waggulu ogambe nti: ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Njagala nnyo Yerusaalemi ne Sayuuni era mbirumirirwa nnyo.+ 15 Nsunguwalidde nnyo amawanga agali mu mirembe,+ kubanga nze abantu bange nnabasunguwalira katono,+ naye go ne gababonyaabonya ekisusse.”’+

16 “Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘“Nja kudda mu Yerusaalemi n’okusaasira.+ Ennyumba yange ejja kuzimbibwa mu kyo,+ era omuguwa ogupima gujja kuleegebwa ku Yerusaalemi,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.’

17 “Era yogerera waggulu ogambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Ebibuga byange bijja kuddamu okujjula ebirungi; Yakuwa ajja kuddamu okubudaabuda Sayuuni,+ era ajja kuddamu okulonda Yerusaalemi.”’”+

18 Awo ne ntunula waggulu, era laba! waaliwo amayembe ana.+ 19 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Amayembe ago gakiikirira ki?” N’anziramu nti: “Gakiikirira obufuzi obwasaasaanya Yuda+ ne Isirayiri+ ne Yerusaalemi.”+

20 Ate era Yakuwa n’andaga abakozi bana. 21 Awo ne mbuuza nti: “Bano bazze kukola ki?”

N’anziramu nti: “Ago ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne wataba n’omu ayimusa mutwe gwe; era abakozi abo bajja kugaleetera entiisa basuule wansi amayembe g’amawanga agaayimusa amayembe gaago ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baayo.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share