LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Matayo 12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yesu, “Mukama wa Ssabbiiti” (1-8)

      • Omusajja ow’omukono ogwali gukaze awonyezebwa (9-14)

      • Omuweereza Katonda gw’ayagala ennyo (15-21)

      • Agoba dayimooni ng’akozesa omwoyo omutukuvu (22-30)

      • Ekibi ekitasobola kusonyiyibwa (31, 32)

      • Omuti gutegeererwa ku bibala byagwo (33-37)

      • Akabonero ka Yona (38-42)

      • Omwoyo omubi bwe gukomawo (43-45)

      • Maama wa Yesu ne baganda be (46-50)

Matayo 12:1

Marginal References

  • +Kuv 12:16; Ma 23:25; Mak 2:23-28; Luk 6:1-5

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76

Matayo 12:2

Marginal References

  • +Kuv 20:10; 31:15; Ma 5:14

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76

Matayo 12:3

Marginal References

  • +1Sa 21:1-6

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 26-27

    9/1/2002, lup. 7-8

Matayo 12:4

Marginal References

  • +Kuv 25:30; 40:22, 23
  • +Lev 24:5-9

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 26-27

Matayo 12:5

Marginal References

  • +Kbl 28:9; Yok 7:22

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76-77

Matayo 12:6

Marginal References

  • +Luk 11:31, 32

Matayo 12:7

Marginal References

  • +Mat 23:23
  • +Kos 6:6; Mi 6:6, 8; Mat 9:13

Matayo 12:8

Marginal References

  • +Mak 2:27, 28; Luk 6:5

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 77

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2008, lup. 28

Matayo 12:10

Footnotes

  • *

    Oba, “ogwasannyalala.”

Marginal References

  • +Mak 3:1-6; Luk 6:6-11
  • +Luk 14:3; Yok 9:16

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 78

Matayo 12:11

Marginal References

  • +Kuv 23:4; Ma 22:4; Luk 14:5

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 78

Matayo 12:14

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 78

Matayo 12:15

Marginal References

  • +Mak 3:7

Matayo 12:16

Marginal References

  • +Mat 8:3, 4; Mak 3:11, 12; 7:35, 36

Matayo 12:18

Marginal References

  • +Bik 3:13
  • +Mat 3:17; 17:5
  • +Is 61:1; Mak 1:10

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 80

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 151-156

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 4

Matayo 12:19

Marginal References

  • +2Ti 2:24

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 80-81

Matayo 12:20

Marginal References

  • +Mat 11:28

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    12/2017, lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2015, lup. 8

    6/15/2008, lup. 6

    7/1/1995, lup. 8-9

    10/1/1993, lup. 4

    Yesu—Ekkubo, lup. 80-81

Matayo 12:21

Marginal References

  • +Is 11:10; 42:1-4; Bik 4:12

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 80-81

Matayo 12:24

Footnotes

  • *

    Kigambo ekikozesebwa ku Sitaani.

Marginal References

  • +Mak 3:22-27; Luk 11:15-23

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2014

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 20

Matayo 12:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 20

Matayo 12:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 20

Matayo 12:27

Footnotes

  • *

    Obut., “abayigirizwa.”

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 103

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 20-21

Matayo 12:28

Marginal References

  • +Luk 11:20

Matayo 12:30

Marginal References

  • +Mak 9:40; Luk 9:50; 11:23

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 103

Matayo 12:31

Marginal References

  • +Mak 3:28, 29; Bik 7:51; Beb 6:4, 6

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 103

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 8

Matayo 12:32

Footnotes

  • *

    Oba, “nteekateeka y’ebintu eno.” Laba Awanny.

Marginal References

  • +1Ti 1:13
  • +Luk 12:10; Beb 10:26

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 103

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/1993, lup. 13

Matayo 12:33

Footnotes

  • *

    Obut., “omuvundu.”

Marginal References

  • +Mat 7:17; Luk 6:43

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 104

Matayo 12:34

Marginal References

  • +Mat 3:7; 23:33
  • +Mat 15:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2008, lup. 12

    10/1/2003, lup. 10-11

Matayo 12:35

Marginal References

  • +Luk 6:45; Yak 3:6

Matayo 12:36

Marginal References

  • +Mub 12:14; Bar 14:12

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 104

Matayo 12:37

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 104

Matayo 12:38

Marginal References

  • +Mat 16:1

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 104

Matayo 12:39

Footnotes

  • *

    Obut., “omwenzi.”

Marginal References

  • +Mat 16:4; Luk 11:29-32

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 104

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1995, lup. 19

Matayo 12:40

Marginal References

  • +Yon 1:17
  • +Mat 16:21; 17:23; 27:63; Luk 24:46

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 104-105

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2003, lup. 11

    6/1/1993, lup. 24

Matayo 12:41

Marginal References

  • +Yon 3:5
  • +Luk 11:30

Matayo 12:42

Marginal References

  • +1Sk 10:1; 2By 9:1
  • +Mat 12:6; Luk 11:31

Matayo 12:43

Marginal References

  • +Luk 11:24-26

Matayo 12:45

Marginal References

  • +Beb 6:4, 6; 2Pe 2:20

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 105

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1995, lup. 19

Matayo 12:46

Marginal References

  • +Mat 13:55; Yok 2:12; Bik 1:14; 1Ko 9:5; Bag 1:19
  • +Mak 3:31-35

Matayo 12:48

Indexes

  • Research Guide

    Omuyigiriza, lup. 222-223

Matayo 12:49

Marginal References

  • +Yok 20:17; Beb 2:11

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 105

    Omuyigiriza, lup. 222-223

Matayo 12:50

Marginal References

  • +Mak 3:35; Luk 8:21

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 105

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2003, lup. 17

    12/1/1988, lup. 11-12

    Omuyigiriza, lup. 222-223

General

Mat. 12:1Kuv 12:16; Ma 23:25; Mak 2:23-28; Luk 6:1-5
Mat. 12:2Kuv 20:10; 31:15; Ma 5:14
Mat. 12:31Sa 21:1-6
Mat. 12:4Kuv 25:30; 40:22, 23
Mat. 12:4Lev 24:5-9
Mat. 12:5Kbl 28:9; Yok 7:22
Mat. 12:6Luk 11:31, 32
Mat. 12:7Mat 23:23
Mat. 12:7Kos 6:6; Mi 6:6, 8; Mat 9:13
Mat. 12:8Mak 2:27, 28; Luk 6:5
Mat. 12:10Mak 3:1-6; Luk 6:6-11
Mat. 12:10Luk 14:3; Yok 9:16
Mat. 12:11Kuv 23:4; Ma 22:4; Luk 14:5
Mat. 12:15Mak 3:7
Mat. 12:16Mat 8:3, 4; Mak 3:11, 12; 7:35, 36
Mat. 12:18Bik 3:13
Mat. 12:18Mat 3:17; 17:5
Mat. 12:18Is 61:1; Mak 1:10
Mat. 12:192Ti 2:24
Mat. 12:20Mat 11:28
Mat. 12:21Is 11:10; 42:1-4; Bik 4:12
Mat. 12:24Mak 3:22-27; Luk 11:15-23
Mat. 12:28Luk 11:20
Mat. 12:30Mak 9:40; Luk 9:50; 11:23
Mat. 12:31Mak 3:28, 29; Bik 7:51; Beb 6:4, 6
Mat. 12:321Ti 1:13
Mat. 12:32Luk 12:10; Beb 10:26
Mat. 12:33Mat 7:17; Luk 6:43
Mat. 12:34Mat 3:7; 23:33
Mat. 12:34Mat 15:11
Mat. 12:35Luk 6:45; Yak 3:6
Mat. 12:36Mub 12:14; Bar 14:12
Mat. 12:38Mat 16:1
Mat. 12:39Mat 16:4; Luk 11:29-32
Mat. 12:40Yon 1:17
Mat. 12:40Mat 16:21; 17:23; 27:63; Luk 24:46
Mat. 12:41Yon 3:5
Mat. 12:41Luk 11:30
Mat. 12:421Sk 10:1; 2By 9:1
Mat. 12:42Mat 12:6; Luk 11:31
Mat. 12:43Luk 11:24-26
Mat. 12:45Beb 6:4, 6; 2Pe 2:20
Mat. 12:46Mat 13:55; Yok 2:12; Bik 1:14; 1Ko 9:5; Bag 1:19
Mat. 12:46Mak 3:31-35
Mat. 12:49Yok 20:17; Beb 2:11
Mat. 12:50Mak 3:35; Luk 8:21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
  • 46
  • 47
  • 48
  • 49
  • 50
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Matayo 12:1-50

Matayo

12 Awo Yesu n’ayita mu nnimiro z’eŋŋaano ku Ssabbiiti. Abayigirizwa be enjala n’ebaluma era ne banoga ebirimba by’eŋŋaano ne balya.+ 2 Abafalisaayo bwe baabalaba ne bamugamba nti: “Laba! Abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”+ 3 N’abagamba nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola, ng’enjala emuluma, ye n’abasajja be yali nabo?+ 4 Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, ne balya emigaati egy’okulaga,+ ate nga ye n’abo be yali nabo baali tebakkirizibwa kugiryako okuggyako bakabona bokka?+ 5 Oba temusomangako mu Mateeka nti bakabona mu yeekaalu bakola emirimu ku Ssabbiiti ne batabaako musango?+ 6 Naye mbagamba nti oyo asinga yeekaalu ali wano.+ 7 Naye singa mwali mutegedde amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi+ so si ssaddaaka,’+ temwandinenyezza batalina musango. 8 Kubanga Omwana w’omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”+

9 Bwe yava mu kifo ekyo, yagenda mu kkuŋŋaaniro lyabwe, 10 era waaliwo omusajja eyalina omukono ogwakala!*+ Olw’okwagala okubaako kye bamuvunaana, ne bamubuuza nti, “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti?”+ 11 N’abagamba nti: “Ani ku mmwe bw’aba n’endiga emu n’egwa mu kinnya ku Ssabbiiti, atagiggyaamu?+ 12 Omuntu si wa muwendo nnyo okusinga endiga? N’olwekyo, kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi ku Ssabbiiti.” 13 Awo n’agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N’agugolola, ne guwona, ne guba nga guli omulala. 14 Abafalisaayo ne bafuluma era ne beekobaana okumutta. 15 Yesu bwe yakimanya, eyo n’avaayo. Era bangi ne bamugoberera,+ n’abawonya bonna, 16 naye n’abakuutira obutamumanyisa eri abalala,+ 17 okusobola okutuukiriza ebyo ebyayogerwa okuyitira mu nnabbi Isaaya, ebigamba nti:

18 “Laba! Omuweereza wange gwe nnalonda,+ gwe njagala ennyo era gwe nsanyukira!+ Ndimuteekako omwoyo gwange,+ era alimanyisa amawanga obwenkanya. 19 Taliyomba,+ era talireekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo ennene. 20 Olumuli olumenyese talirubetenta, era n’olutambi oluzimeera taliruzikiza+ okutuusa lw’alireetawo obwenkanya. 21 Mu linnya lye amawanga mwe galisuubirira.”+

22 Awo ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, era nga muzibe ate nga tayogera. N’amuwonya, era omusajja oyo n’asobola okwogera n’okulaba. 23 Ekibiina ky’abantu kyonna ne kyewuunya ne bagamba nti: “Ono taba nga ye Mwana wa Dawudi?” 24 Abafalisaayo bwe baakiwulira ne bagamba nti: “Omuntu ono agoba dayimooni ng’akozesa maanyi ga Beeruzebuli,* omufuzi wa badayimooni.”+ 25 Bwe yategeera kye baali balowooza, n’abagamba nti: “Buli bwakabaka obweyawulamu buzikirira, era buli kibuga oba amaka ebyeyawulamu tebisobola kusigalawo. 26 Bwe kityo, ne Sitaani bw’agoba Sitaani aba yeeyawuddemu; kati olwo obwakabaka bwe buba bunaayimirirawo butya? 27 Bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa maanyi ga Beeruzebuli, abaana* bammwe bazigoba bakozesa maanyi g’ani? Kyebaliva babasalira omusango. 28 Naye bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa omwoyo gwa Katonda, Obwakabaka bwa Katonda mubusubiddwa.+ 29 Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omusajja ow’amaanyi n’abbamu ebintu bye okuggyako ng’asoose kumusiba? Olwo aba asobola okunyaga eby’omu nnyumba ye. 30 Oyo ataba ku ludda lwange aba mulabe wange, era n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange aba asaasaanya.+

31 “Kale kyenva mbagamba nti abantu balisonyiyibwa ekibi kyonna n’okuvvoola kwonna, naye oyo avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa.+ 32 Ng’ekyokulabirako, oyo yenna avvoola Omwana w’omuntu alisonyiyibwa,+ naye oyo avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa, ka kibe mu biseera bino* oba mu biseera eby’omu maaso.+

33 “Bwe muba omuti omulungi n’ebibala byammwe bijja kuba birungi; naye bwe muba omuti omubi,* n’ebibala byammwe bijja kuba bibi; kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.+ 34 Mmwe abaana b’emisota egy’obusagwa,+ muyinza okwogera ebintu ebirungi nga muli babi? Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.+ 35 Omuntu omulungi afulumya ebintu ebirungi mu tterekero lye eddungi, so ng’ate omuntu omubi afulumya ebintu ebibi mu tterekero lye ebbi.+ 36 Naye mbagamba nti buli kigambo ekitaliimu nsa abantu kye boogera kiribavunaanibwa+ ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango; 37 kubanga olw’ebigambo byammwe muliyitibwa abatuukirivu, era olw’ebigambo byammwe, mulisalirwa omusango.”

38 Awo abamu ku bawandiisi n’Abafalisaayo ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, twagala otulage akabonero.”+ 39 N’abagamba nti: “Omulembe guno omubi era ogutali mwesigwa* gwagala okulaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuguweebwa okuggyako aka nnabbi Yona.+ 40 Kuba nga Yona bwe yali mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene okumala ennaku ssatu, emisana n’ekiro,+ n’Omwana w’omuntu ajja kumala ennaku ssatu mu ttaka, emisana n’ekiro.+ 41 Abantu b’omu Nineeve balizuukirira wamu n’ab’omulembe guno mu kiseera eky’okusala omusango era balibasingisa omusango, kubanga beenenya olw’ebyo Yona bye yababuulira.+ Naye laba! oyo asinga Yona ali wano.+ 42 Kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alizuukirira wamu n’ab’omulembe guno mu kiseera eky’okusala omusango era alibasingisa omusango, kubanga yava ewala ennyo n’ajja okuwulira amagezi ga Sulemaani.+ Naye laba! oyo asinga Sulemaani ali wano.+

43 “Omwoyo omubi bwe guva mu muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi nga gunoonya aw’okuwummulira naye ne gubulwa.+ 44 Awo ne gugamba nti, ‘Nja kuddayo mu nnyumba yange gye nnavaamu,’ era bwe gugituukamu, gugisanga njereere, ng’eyereddwa era ng’erongooseddwa. 45 Awo gugenda ne guleetayo emyoyo emirala musanvu egigusinga obubi, era bwe gimala okuyingira gibeera omwo; embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma ebeera mbi n’okusinga bwe yali mu kusooka.+ Era bwe kityo bwe kiriba eri omulembe guno omubi.”

46 Bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu, maama we ne baganda be+ baali bayimiridde wabweru nga baagala okwogera naye.+ 47 Awo ne wabaawo eyamugamba nti: “Laba! Maama wo ne baganda bo bayimiridde wabweru era baagala okwogerako naawe.” 48 N’addamu oyo eyayogera naye nti: “Maama wange ne baganda bange be baani?” 49 N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti: “Laba! Maama wange ne baganda bange be bano!+ 50 Buli akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala ye muganda wange, mwannyinaze, era maama wange.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share