LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yeremiya agambibwa okumenya ensumbi ey’ebbumba (1-15)

        • Okusaddaakira Bbaali abaana (5)

Yeremiya 19:1

Marginal References

  • +Yer 18:2

Yeremiya 19:2

Marginal References

  • +Yos 15:8, 12; 2By 28:1, 3; Yer 7:31

Yeremiya 19:4

Marginal References

  • +2Sk 22:16, 17; Is 65:11
  • +2By 33:1, 4
  • +2Sk 21:16; Is 59:7; Yer 2:34; Kuk 4:13; Mat 23:34, 35

Yeremiya 19:5

Footnotes

  • *

    Oba, “ekitayingirangako mu birowoozo byange.”

Marginal References

  • +2By 28:1, 3; 33:1, 6; Is 57:5
  • +Lev 18:21; Yer 7:31; 32:35

Yeremiya 19:6

Marginal References

  • +Yer 7:32

Yeremiya 19:7

Marginal References

  • +Ma 28:25, 26; Zb 79:2; Yer 7:33; 16:4

Yeremiya 19:8

Marginal References

  • +1Sk 9:8; Yer 18:16; Kuk 2:15

Yeremiya 19:9

Marginal References

  • +Lev 26:29; Ma 28:53; Kuk 2:20; 4:10; Ezk 5:10

Yeremiya 19:11

Marginal References

  • +Yer 7:32

Yeremiya 19:13

Marginal References

  • +Zb 79:1
  • +Yer 8:1, 2; Zef 1:4, 5
  • +Yer 7:18; 32:29

Yeremiya 19:15

Footnotes

  • *

    Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe baleme.”

Marginal References

  • +Nek 9:17, 29; Zek 7:12

General

Yer. 19:1Yer 18:2
Yer. 19:2Yos 15:8, 12; 2By 28:1, 3; Yer 7:31
Yer. 19:42Sk 22:16, 17; Is 65:11
Yer. 19:42By 33:1, 4
Yer. 19:42Sk 21:16; Is 59:7; Yer 2:34; Kuk 4:13; Mat 23:34, 35
Yer. 19:52By 28:1, 3; 33:1, 6; Is 57:5
Yer. 19:5Lev 18:21; Yer 7:31; 32:35
Yer. 19:6Yer 7:32
Yer. 19:7Ma 28:25, 26; Zb 79:2; Yer 7:33; 16:4
Yer. 19:81Sk 9:8; Yer 18:16; Kuk 2:15
Yer. 19:9Lev 26:29; Ma 28:53; Kuk 2:20; 4:10; Ezk 5:10
Yer. 19:11Yer 7:32
Yer. 19:13Zb 79:1
Yer. 19:13Yer 8:1, 2; Zef 1:4, 5
Yer. 19:13Yer 7:18; 32:29
Yer. 19:15Nek 9:17, 29; Zek 7:12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 19:1-15

Yeremiya

19 Bw’ati Yakuwa bwe yaŋŋamba: “Genda ogule ensumbi ew’omubumbi.+ Twala abamu ku bakulembeze b’abantu n’abamu ku bakulembeze ba bakabona, 2 ogende mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,+ ku Mulyango gw’Enzigyo, era ng’oli eyo olangirire bye nnaakugamba. 3 Ojja kugamba nti, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa, mmwe bakabaka ba Yuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi. Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba:

“‘“Ŋŋenda kuleeta akabi ku kifo kino, era buli anaakawulirako amatu gajja kumuwaawaala. 4 Ekyo nja kukikola olw’okuba banvaako+ era ekifo kino ne bakifuula ekitakyategeerekeka.+ Baweerayo mu kyo ssaddaaka eri bakatonda abalala, bajjajjaabwe ne bakabaka ba Yuda be baali batamanyi, era ekifo kino bakijjuzza omusaayi gw’abantu abataliiko musango.+ 5 Baazimba ebifo ebigulumivu eby’okusinzizaamu Bbaali, okwokya abaana baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Bbaali,+ ekintu kye saalagira, kye soogerangako, era ekitayingirangako mu mutima gwange.”’*+

6 “‘“Kale laba! ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “ekifo kino lwe kiriba nga tekikyayitibwa Tofesi oba Ekiwonvu ky’Omwana wa Kinomu, wabula Ekiwonvu eky’Okuttiramu.+ 7 Nja kutaataaganya enteekateeka za Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino, era nja kubaleetera okuttibwa ekitala mu maaso g’abalabe baabwe n’okuttibwa abo abaagala okubatta. Ate era emirambo gyabwe nja kugiwa ebinyonyi n’ebisolo bigirye.+ 8 Ekibuga kino nja kukifuula ekifo eky’entiisa era ekintu abantu kye bafuuyira oluwa. Buli anaayitangawo anaatunulanga n’atya era n’afuuwa oluwa olw’ebibonyoobonyo byakyo byonna.+ 9 Era nja kubaleetera okulya batabani baabwe ne bawala baabwe, era buli omu ajja kulya munne, olw’okunyigirizibwa n’ennaku abalabe baabwe n’abo abaagala okubatta gye balibaleetako.”’+

10 “Awo olyoke oyase ensumbi ng’abasajja b’ogenze nabo balaba, 11 obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Bwe ntyo bwe nja okwasaayasa abantu bano n’ekibuga kino, ng’omuntu bw’ayasaayasa ekibya ne kiba nga tekisobola kuzzibwawo; era bajja kuziika emirambo mu Tofesi okutuusa nga tekikyalimu kifo kya kuziikamu.”’+

12 “‘Ekyo kye nja okukola ekifo kino n’abakibeeramu,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ekibuga kino nkifuule nga Tofesi. 13 Ennyumba z’omu Yerusaalemi n’ennyumba za bakabaka ba Yuda zijja kufuuka ezitali nnongoofu ng’ekifo kino, Tofesi,+ kubanga waggulu ku nnyumba ezo baaweerangayo ssaddaaka eri eggye lyonna ery’oku ggulu,+ era n’ebiweebwayo ebinywebwa eri bakatonda abalala.’”+

14 Yeremiya bwe yakomawo okuva e Tofesi Yakuwa gye yali amutumye okulagulira, n’ayimirira mu luggya lw’ennyumba ya Yakuwa n’agamba abantu bonna nti: 15 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Laba, ŋŋenda kuleeta akabi ku kibuga kino ne ku bubuga bwakyo bwonna, akabi konna ke nnagamba okukireetako, kubanga baagaana* okugondera ebigambo byange.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share