LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi (1-34)

Eby’Abaleevi 16:1

Marginal References

  • +Lev 10:1, 2

Eby’Abaleevi 16:2

Marginal References

  • +Kuv 40:21; Beb 6:19; 9:3, 7
  • +Lev 23:27
  • +Kbl 4:19, 20
  • +Kuv 40:34
  • +Kuv 25:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 12

Eby’Abaleevi 16:3

Marginal References

  • +Lev 4:3
  • +Lev 1:3

Eby’Abaleevi 16:4

Footnotes

  • *

    Oba, “ebyambalo eby’omunda.”

Marginal References

  • +Kuv 28:39
  • +Kuv 28:42
  • +Kuv 39:27, 29
  • +Kuv 28:4
  • +Kuv 28:2
  • +Kuv 30:20; Beb 10:22

Eby’Abaleevi 16:5

Marginal References

  • +Beb 7:27

Eby’Abaleevi 16:6

Marginal References

  • +Beb 5:1-3

Eby’Abaleevi 16:8

Footnotes

  • *

    Oboolyawo kitegeeza, “Embuzi Ebulawo.”

Eby’Abaleevi 16:9

Marginal References

  • +Nge 16:33

Eby’Abaleevi 16:10

Marginal References

  • +Lev 14:7, 53; 16:21, 22; Is 53:4; Bar 15:3

Eby’Abaleevi 16:11

Marginal References

  • +Lev 16:6

Eby’Abaleevi 16:12

Marginal References

  • +Beb 9:4
  • +Kuv 40:29; Lev 6:13; Kbl 16:46
  • +Kuv 30:34-36; Kub 5:8; 8:3-5
  • +Lev 16:2; Beb 6:19; 10:19, 20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 20-22

Eby’Abaleevi 16:13

Marginal References

  • +Kuv 25:22; 2Sk 19:15
  • +Kuv 25:18, 21; 1By 28:11
  • +Kuv 34:29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 20-22

Eby’Abaleevi 16:14

Marginal References

  • +Beb 9:22
  • +Bar 3:25; Beb 9:12, 24, 25; 10:4, 12

Eby’Abaleevi 16:15

Marginal References

  • +Lev 16:5; Beb 2:17; 5:1-3; 9:26; 1Yo 2:1, 2
  • +Beb 6:19; 9:3, 7; 10:19, 20
  • +Lev 17:11

Eby’Abaleevi 16:16

Marginal References

  • +Mub 7:20

Eby’Abaleevi 16:17

Marginal References

  • +Lev 16:6
  • +Mak 10:45; Beb 2:9; 7:27; 9:7, 12; Kub 1:5

Eby’Abaleevi 16:18

Marginal References

  • +Kuv 38:1

Eby’Abaleevi 16:20

Marginal References

  • +Beb 9:23
  • +Lev 16:16
  • +Lev 16:8, 10

Eby’Abaleevi 16:21

Footnotes

  • *

    Oba, “omusajja anaabanga yeetegese.”

Marginal References

  • +Is 53:5, 6; 2Ko 5:21

Eby’Abaleevi 16:22

Marginal References

  • +Is 53:12; Bef 1:7; Beb 9:28; 1Pe 2:24; 1Yo 3:5
  • +Lev 16:10; Zb 103:12; Beb 13:12

Eby’Abaleevi 16:24

Marginal References

  • +Kuv 30:20
  • +Kuv 28:4; Lev 8:7
  • +Lev 16:3
  • +Lev 16:5
  • +Bef 1:7

Eby’Abaleevi 16:26

Marginal References

  • +Lev 16:8, 21

Eby’Abaleevi 16:27

Marginal References

  • +Lev 4:11, 12; Beb 13:11, 12

Eby’Abaleevi 16:29

Footnotes

  • *

    Okutwalira awamu, “okwebonyaabonya” kitegeeza okwerumya mu ngeri ez’enjawulo, omuli n’okusiiba.

Marginal References

  • +Lev 23:27, 28; Kbl 29:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2004, lup. 22

Eby’Abaleevi 16:30

Marginal References

  • +Yok 3:16; Bar 8:32; Tit 2:13, 14; 1Yo 1:7; 3:16
  • +Yer 33:8; Beb 9:13, 14; 10:2

Eby’Abaleevi 16:31

Marginal References

  • +Lev 23:32

Eby’Abaleevi 16:32

Footnotes

  • *

    Obut., “omukono gwe ne gujjuzibwa.”

Marginal References

  • +Kuv 29:4, 7; Lev 8:12
  • +Lev 8:33
  • +Kbl 20:26
  • +Kuv 28:39; 39:27, 28
  • +Kuv 28:2; 29:29; Lev 16:4

Eby’Abaleevi 16:33

Marginal References

  • +Lev 16:16
  • +Lev 16:20
  • +Lev 16:18
  • +Lev 16:24; 1Yo 2:1, 2

Eby’Abaleevi 16:34

Marginal References

  • +Lev 23:31; Kbl 29:7
  • +Kuv 30:10; Beb 9:7

General

Leev. 16:1Lev 10:1, 2
Leev. 16:2Kuv 40:21; Beb 6:19; 9:3, 7
Leev. 16:2Lev 23:27
Leev. 16:2Kbl 4:19, 20
Leev. 16:2Kuv 40:34
Leev. 16:2Kuv 25:22
Leev. 16:3Lev 4:3
Leev. 16:3Lev 1:3
Leev. 16:4Kuv 28:39
Leev. 16:4Kuv 28:42
Leev. 16:4Kuv 39:27, 29
Leev. 16:4Kuv 28:4
Leev. 16:4Kuv 28:2
Leev. 16:4Kuv 30:20; Beb 10:22
Leev. 16:5Beb 7:27
Leev. 16:6Beb 5:1-3
Leev. 16:9Nge 16:33
Leev. 16:10Lev 14:7, 53; 16:21, 22; Is 53:4; Bar 15:3
Leev. 16:11Lev 16:6
Leev. 16:12Beb 9:4
Leev. 16:12Kuv 40:29; Lev 6:13; Kbl 16:46
Leev. 16:12Kuv 30:34-36; Kub 5:8; 8:3-5
Leev. 16:12Lev 16:2; Beb 6:19; 10:19, 20
Leev. 16:13Kuv 25:22; 2Sk 19:15
Leev. 16:13Kuv 25:18, 21; 1By 28:11
Leev. 16:13Kuv 34:29
Leev. 16:14Beb 9:22
Leev. 16:14Bar 3:25; Beb 9:12, 24, 25; 10:4, 12
Leev. 16:15Lev 16:5; Beb 2:17; 5:1-3; 9:26; 1Yo 2:1, 2
Leev. 16:15Beb 6:19; 9:3, 7; 10:19, 20
Leev. 16:15Lev 17:11
Leev. 16:16Mub 7:20
Leev. 16:17Lev 16:6
Leev. 16:17Mak 10:45; Beb 2:9; 7:27; 9:7, 12; Kub 1:5
Leev. 16:18Kuv 38:1
Leev. 16:20Beb 9:23
Leev. 16:20Lev 16:16
Leev. 16:20Lev 16:8, 10
Leev. 16:21Is 53:5, 6; 2Ko 5:21
Leev. 16:22Is 53:12; Bef 1:7; Beb 9:28; 1Pe 2:24; 1Yo 3:5
Leev. 16:22Lev 16:10; Zb 103:12; Beb 13:12
Leev. 16:24Kuv 30:20
Leev. 16:24Kuv 28:4; Lev 8:7
Leev. 16:24Lev 16:3
Leev. 16:24Lev 16:5
Leev. 16:24Bef 1:7
Leev. 16:26Lev 16:8, 21
Leev. 16:27Lev 4:11, 12; Beb 13:11, 12
Leev. 16:29Lev 23:27, 28; Kbl 29:7
Leev. 16:30Yok 3:16; Bar 8:32; Tit 2:13, 14; 1Yo 1:7; 3:16
Leev. 16:30Yer 33:8; Beb 9:13, 14; 10:2
Leev. 16:31Lev 23:32
Leev. 16:32Kuv 29:4, 7; Lev 8:12
Leev. 16:32Lev 8:33
Leev. 16:32Kbl 20:26
Leev. 16:32Kuv 28:39; 39:27, 28
Leev. 16:32Kuv 28:2; 29:29; Lev 16:4
Leev. 16:33Lev 16:16
Leev. 16:33Lev 16:20
Leev. 16:33Lev 16:18
Leev. 16:33Lev 16:24; 1Yo 2:1, 2
Leev. 16:34Lev 23:31; Kbl 29:7
Leev. 16:34Kuv 30:10; Beb 9:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 16:1-34

Eby’Abaleevi

16 Yakuwa n’ayogera ne Musa oluvannyuma lw’okufa kwa batabani ba Alooni ababiri, abaafa olw’okusemberera Yakuwa.+ 2 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja buli w’ayagalidde munda w’olutimbe+ mu kifo ekitukuvu,+ mu maaso g’eky’okubikkako ekiri ku Ssanduuko, aleme okufa;+ kubanga nja kulabikiranga mu kire+ waggulu w’eky’okubikkako.+

3 “Alooni anajjanga na bino mu kifo ekitukuvu: ente ennume ento ey’ekiweebwayo olw’ekibi+ n’endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa.+ 4 Anaayambalanga ekyambalo ekitukuvu ekya kitaani,+ n’empale ennyimpi* eya kitaani+ ey’okubikka omubiri gwe, ne yeesiba mu kiwato eky’okwesiba ekya kitaani,+ era ne yeesiba n’ekiremba ekya kitaani+ ku mutwe. Ebyo byambalo bitukuvu,+ era anaanaabanga amazzi+ n’alyoka abyambala.

5 “Anaafunanga okuva eri ekibiina ky’Abayisirayiri+ embuzi ento ennume bbiri ez’ekiweebwayo olw’ekibi n’endiga ento ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa.

6 “Alooni anaawangayo ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye, ne yeetangirira+ ye n’ennyumba ye.

7 “Anaatwalanga embuzi bbiri n’aziyimiriza mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 8 Embuzi ezo ebbiri Alooni anaazikubiranga akalulu okusobola okulondako eya Yakuwa n’eya Azazeri.* 9 Alooni anaaleetanga embuzi eneebanga erondeddwa mu kalulu+ okuba eya Yakuwa, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi. 10 Naye embuzi eneebanga erondeddwa mu kalulu okuba eya Azazeri, eneereetebwanga nga nnamu n’eyimirizibwa mu maaso ga Yakuwa n’ekolebwako omukolo gw’okutangirira ebibi, olwo ne bagisindika mu ddungu.+

11 “Alooni anaawangayo ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye, ne yeetangirira ye n’ennyumba ye; oluvannyuma anattanga ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye.+

12 “Anaddiranga ekyoterezo+ ekijjudde amanda agaaka g’aggye mu kyoto+ mu maaso ga Yakuwa, n’embatu bbiri ez’obubaani obw’akaloosa+ obusekuddwa obulungi, n’abitwala munda w’olutimbe.+ 13 Anaateekanga obubaani ku muliro mu maaso ga Yakuwa,+ era omukka gw’obubaani gunaabikkanga eky’okubikkako+ ekiri ku Ssanduuko ey’Obujulirwa,+ aleme okufa.

14 “Anaddiranga ogumu ku musaayi gw’ente ennume+ n’agumansira n’olugalo lwe mu maaso g’eky’okubikkako ku luuyi olw’ebuvanjuba, era ogumu ku musaayi anaagumansiranga n’olugalo lwe emirundi musanvu mu maaso g’eky’okubikkako.+

15 “Anattanga embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu,+ n’atwala omusaayi gwayo munda w’olutimbe+ era omusaayi gwayo n’agukola nga bwe yakoze omusaayi gw’ente+ ennume; ajja kugumansiranga mu maaso g’eky’okubikkako.

16 “Anaatangiriranga ekifo ekitukuvu olw’ebikolwa by’Abayisirayiri ebitali birongoofu, era n’olw’okwonoona kwabwe n’ebibi byabwe,+ era bw’atyo bw’anaakolanga weema ey’okusisinkaniramu eri wakati mu Bayisirayiri abatali balongoofu.

17 “Weema ey’okusisinkaniramu tebangamu muntu yenna okuva Alooni lw’anaayingiranga okutangirira ebibi mu kifo ekitukuvu, okutuusa lw’anaafulumanga. Alooni aneetangiriranga ye n’ennyumba ye+ n’ekibiina kya Isirayiri kyonna.+

18 “Awo anaafulumanga n’agenda ku kyoto+ ekiri mu maaso ga Yakuwa, n’akitangirira, era anaddiranga ogumu ku musaayi gw’ente ennume n’ogumu ku musaayi gw’embuzi n’aguteeka ku mayembe g’ekyoto ku njuyi zonna. 19 Era anaakimansirangako ogumu ku musaayi n’olugalo lwe emirundi musanvu n’akirongoosa era n’akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw’Abayisirayiri.

20 “Bw’anaamalanga okutangirira+ ekifo ekitukuvu, weema ey’okusisinkaniramu, n’ekyoto,+ anaaleetanga embuzi ennamu.+ 21 Alooni anassanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu n’agyatulirako ensobi z’Abayisirayiri zonna, n’ebyonoono byabwe, n’ebibi byabwe byonna, n’abiteeka ku mutwe gw’embuzi,+ n’agisindiikiriza mu ddungu ng’etwalibwa omuntu anaabanga alondeddwa okukola kino.* 22 Anaasindiikirizanga embuzi, era eneetwalanga ebibi byabwe byonna+ mu ddungu.+

23 “Alooni anaayingiranga mu weema ey’okusisinkaniramu ne yeeyambulamu ebyambalo ebya kitaani bye yabadde ayambadde ng’agenda mu kifo ekitukuvu, era anaabiteekanga eyo. 24 Anaanaabanga amazzi+ mu kifo ekitukuvu, n’ayambala ebyambalo bye+ n’afuluma n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa+ n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’abantu+ ne yeetangirira era n’atangirira n’abantu.+ 25 Amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.

26 “Omusajja eyasindiikirizza embuzi ya Azazeri+ anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era oluvannyuma lw’ekyo ayinza okuyingira mu lusiisira.

27 “Ente ennume n’embuzi ez’ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwazo ogutwaliddwa mu kifo ekitukuvu okutangirira ebibi, zinaatwalibwanga ebweru w’olusiisira, era amaliba gaazo n’ennyama yaazo n’obusa bwazo binaayokebwanga omuliro.+ 28 Oyo anaabyokyanga anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era oluvannyuma ayinza okuyingira mu lusiisira.

29 “Eryo tteeka lya lubeerera gye muli: Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogw’omusanvu muneebonyaabonyanga,* era temukolanga mulimu gwonna,+ k’abe Omuyisirayiri oba omugwira ali mu mmwe. 30 Ku lunaku olwo ebibi byammwe binaatangirirwanga+ ne muba balongoofu. Mu maaso ga Yakuwa ebibi byammwe byonna binaaba bibaggiddwako.+ 31 Eyo eneebanga ssabbiiti ey’okuwummulira ddala gye muli, era muneebonyaabonyanga.+ Eryo tteeka lya lubeerera.

32 “Kabona anaabanga afukiddwako amafuta+ n’atongozebwa* okuweereza nga kabona+ ng’adda mu bigere bya kitaawe+ anaatangiriranga ebibi era anaayambalanga ebyambalo ebya kitaani,+ ebyambalo ebitukuvu.+ 33 Anaatangiriranga ekifo ekitukuvu,+ ne weema ey’okusisinkaniramu,+ n’ekyoto;+ era anaatangiriranga bakabona n’abantu bonna ab’omu kibiina.+ 34 Eryo linaabanga tteeka ery’olubeerera gye muli,+ okutangiriranga ebibi by’Abayisirayiri byonna omulundi gumu buli mwaka.”+

Bw’atyo n’akolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share