LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ensonga lwaki Isirayiri yaweebwa ensi (1-6)

      • Abayisirayiri banyiiza Yakuwa emirundi ena (7-29)

        • Ennyana eya zzaabu (7-14)

        • Musa yeegayirira ku lw’abantu (15-21, 25-29)

        • Banyiiza Yakuwa emirundi emirala esatu (22)

Ekyamateeka 9:1

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, bbugwe omuwanvu ennyo.

Marginal References

  • +Yos 4:19
  • +Ma 7:1
  • +Kbl 13:28

Ekyamateeka 9:2

Marginal References

  • +Kbl 13:33

Ekyamateeka 9:3

Marginal References

  • +Ma 1:30; 20:4; 31:3
  • +Ma 4:24; Beb 12:29
  • +Kuv 23:31; Ma 7:23, 24

Ekyamateeka 9:4

Marginal References

  • +Ma 7:7, 8; Ezk 36:22
  • +Lub 15:16; Ma 12:31; 18:9, 12

Ekyamateeka 9:5

Marginal References

  • +Lev 18:25
  • +Lub 13:14, 15; 17:1, 8
  • +Lub 26:3
  • +Lub 28:13

Ekyamateeka 9:6

Footnotes

  • *

    Obut., “ba nsingo nkakanyavu.”

Marginal References

  • +Kuv 34:9; Zb 78:8

Ekyamateeka 9:7

Marginal References

  • +Ma 9:22; Zb 78:40; Beb 3:16
  • +Kuv 17:2; Kbl 11:4; 16:1, 2; 25:2, 3; Ma 31:27

Ekyamateeka 9:8

Marginal References

  • +Kuv 32:4, 10

Ekyamateeka 9:9

Marginal References

  • +Kuv 24:12; 31:18; 32:16
  • +Kuv 24:7
  • +Kuv 24:18

Ekyamateeka 9:10

Marginal References

  • +Kuv 19:19; Ma 4:10-13

Ekyamateeka 9:12

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisaanuuse.”

Marginal References

  • +Kuv 32:7
  • +Kuv 32:4

Ekyamateeka 9:13

Footnotes

  • *

    Obut., “ba nsingo nkakanyavu.”

Marginal References

  • +Kuv 32:9

Ekyamateeka 9:14

Marginal References

  • +Kuv 32:10

Ekyamateeka 9:15

Marginal References

  • +Kuv 19:18
  • +Kuv 32:15

Ekyamateeka 9:16

Footnotes

  • *

    Oba, “ensaanuuse.”

Marginal References

  • +Kuv 20:3, 4

Ekyamateeka 9:17

Marginal References

  • +Kuv 32:19

Ekyamateeka 9:18

Marginal References

  • +Kuv 34:28

Ekyamateeka 9:19

Marginal References

  • +Kuv 32:10
  • +Kuv 32:11, 14; Zb 106:23

Ekyamateeka 9:20

Marginal References

  • +Kuv 32:2, 21

Ekyamateeka 9:21

Marginal References

  • +Kuv 32:4
  • +Kuv 32:20

Ekyamateeka 9:22

Marginal References

  • +Kbl 11:3
  • +Kuv 17:7
  • +Kbl 11:4, 34

Ekyamateeka 9:23

Marginal References

  • +Kbl 13:26
  • +Kbl 14:3, 4
  • +Ma 1:32; Zb 106:24, 25; Beb 3:19

Ekyamateeka 9:25

Marginal References

  • +Kuv 34:28

Ekyamateeka 9:26

Footnotes

  • *

    Oba, “obusika bwo.”

Marginal References

  • +Kuv 19:5; Zb 135:4
  • +Kuv 32:11

Ekyamateeka 9:27

Marginal References

  • +Kuv 3:6; 6:8; Ma 9:5
  • +Kuv 32:31, 32

Ekyamateeka 9:28

Marginal References

  • +Kuv 32:12; Kbl 14:15, 16

Ekyamateeka 9:29

Footnotes

  • *

    Oba, “obusika bwo.”

Marginal References

  • +1Sk 8:51; Nek 1:10
  • +Kuv 6:6; Ma 4:20, 34

General

Ma. 9:1Yos 4:19
Ma. 9:1Ma 7:1
Ma. 9:1Kbl 13:28
Ma. 9:2Kbl 13:33
Ma. 9:3Ma 1:30; 20:4; 31:3
Ma. 9:3Ma 4:24; Beb 12:29
Ma. 9:3Kuv 23:31; Ma 7:23, 24
Ma. 9:4Ma 7:7, 8; Ezk 36:22
Ma. 9:4Lub 15:16; Ma 12:31; 18:9, 12
Ma. 9:5Lev 18:25
Ma. 9:5Lub 13:14, 15; 17:1, 8
Ma. 9:5Lub 26:3
Ma. 9:5Lub 28:13
Ma. 9:6Kuv 34:9; Zb 78:8
Ma. 9:7Ma 9:22; Zb 78:40; Beb 3:16
Ma. 9:7Kuv 17:2; Kbl 11:4; 16:1, 2; 25:2, 3; Ma 31:27
Ma. 9:8Kuv 32:4, 10
Ma. 9:9Kuv 24:12; 31:18; 32:16
Ma. 9:9Kuv 24:7
Ma. 9:9Kuv 24:18
Ma. 9:10Kuv 19:19; Ma 4:10-13
Ma. 9:12Kuv 32:7
Ma. 9:12Kuv 32:4
Ma. 9:13Kuv 32:9
Ma. 9:14Kuv 32:10
Ma. 9:15Kuv 19:18
Ma. 9:15Kuv 32:15
Ma. 9:16Kuv 20:3, 4
Ma. 9:17Kuv 32:19
Ma. 9:18Kuv 34:28
Ma. 9:19Kuv 32:10
Ma. 9:19Kuv 32:11, 14; Zb 106:23
Ma. 9:20Kuv 32:2, 21
Ma. 9:21Kuv 32:4
Ma. 9:21Kuv 32:20
Ma. 9:22Kbl 11:3
Ma. 9:22Kuv 17:7
Ma. 9:22Kbl 11:4, 34
Ma. 9:23Kbl 13:26
Ma. 9:23Kbl 14:3, 4
Ma. 9:23Ma 1:32; Zb 106:24, 25; Beb 3:19
Ma. 9:25Kuv 34:28
Ma. 9:26Kuv 19:5; Zb 135:4
Ma. 9:26Kuv 32:11
Ma. 9:27Kuv 3:6; 6:8; Ma 9:5
Ma. 9:27Kuv 32:31, 32
Ma. 9:28Kuv 32:12; Kbl 14:15, 16
Ma. 9:291Sk 8:51; Nek 1:10
Ma. 9:29Kuv 6:6; Ma 4:20, 34
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 9:1-29

Ekyamateeka

9 “Wulira ggwe Isirayiri, leero ogenda kusomoka Yoludaani+ otwale ensi omuli amawanga agakusinga obunene n’amaanyi,+ omuli ebibuga ebinene ebiriko bbugwe atuukira ddala ku ggulu,*+ 2 omuli abantu ab’amaanyi era abawanvu, abaana ba Anaki,+ b’omanyi era be wawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okwaŋŋanga abaana ba Anaki?’ 3 Kale kimanye leero nti Yakuwa Katonda wo ajja kusomoka akukulemberemu.+ Ye muliro ogusaanyaawo+ era ajja kubasaanyaawo. Ajja kubawangula ng’olaba osobole okubagobamu mu bwangu era obazikirize, nga Yakuwa bwe yakusuubiza.+

4 “Yakuwa Katonda wo bw’alibagoba mu maaso go, togambanga mu mutima gwo nti, ‘Yakuwa yandeeta okutwala ensi eno olw’obutuukirivu bwange,’+ kubanga obubi bw’amawanga gano+ bwe buviiriddeko Yakuwa okugagoba mu maaso go. 5 Oyingira okutwala ensi yaabwe, si lwa butuukirivu bwo oba obugolokofu bw’omutima gwo; Yakuwa Katonda wo agoba amawanga gano mu maaso go+ olw’obubi bwago n’olw’okutuukiriza ekyo Yakuwa kye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu,+ Isaaka,+ ne Yakobo.+ 6 Era kimanye nti Yakuwa Katonda wo akuwa ensi eno ennungi ogitwale, kyokka tagikuwa lwa butuukirivu bwo, kubanga muli bantu bakakanyavu.*+

7 “Jjukira era teweerabiranga engeri gye wanyiizaamu Yakuwa Katonda wo mu ddungu.+ Okuva ku lunaku lwe mwava mu nsi ya Misiri okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino mubadde mujeemera Yakuwa.+ 8 Ne mu Kolebu mwanyiiza Yakuwa, Yakuwa n’abasunguwalira nnyo n’ayagala okubasaanyaawo.+ 9 Bwe nnayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande by’amayinja,+ ebipande eby’endagaano Yakuwa gye yakola nammwe,+ nnabeera ku lusozi okumala ennaku 40 emisana n’ekiro,+ nga sirya mmere era nga sinywa mazzi. 10 Yakuwa n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja ebyawandiikibwako n’engalo ya Katonda; era byaliko ebigambo byonna Yakuwa bye yali abagambye ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana.+ 11 Ku nkomerero y’ennaku 40, emisana n’ekiro, Yakuwa yampa ebipande by’amayinja ebibiri, ebipande eby’endagaano; 12 era Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Situka ove wano oserengete mangu kubanga abantu bo be waggya e Misiri beeyisizza bubi nnyo.+ Bakyuse mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira okutambuliramu. Beekoledde ekifaananyi eky’ekyuma.’*+ 13 Era Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Nkirabye nti abantu bano bakakanyavu.*+ 14 Ndeka mbazikirize era nsaanyeewo erinnya lyabwe wansi w’eggulu, ggwe nkufuule eggwanga ery’amaanyi era eddene okubasinga.’+

15 “Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi ng’olusozi lwaka omuliro,+ era nnali nkutte ebipande ebibiri eby’endagaano mu mikono gyange gyombi.+ 16 Ne ntunula era laba, mwali mwonoonye eri Yakuwa Katonda wammwe! Mwali mwekoledde ennyana ey’ekyuma.* Mwali mukyuse mangu ne muva mu kkubo Yakuwa lye yali abalagidde okutambuliramu.+ 17 Awo nnaddira ebipande ebibiri ebyali mu mikono gyange ne mbikuba wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe.+ 18 Ne nvunnama mu maaso ga Yakuwa ennaku 40 emisana n’ekiro nga bwe nnali nkoze okusooka. Saalya mmere wadde okunywa amazzi+ olw’okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona nga mukola ekibi mu maaso ga Yakuwa ne mumunyiiza. 19 Nnatya nnyo olw’okuba Yakuwa yali abasunguwalidde nnyo+ era ng’ayagala kubazikiriza. Kyokka ne ku mulundi ogwo Yakuwa yampuliriza.+

20 “Alooni naye Yakuwa yamusunguwalira nnyo era n’ayagala okumuzikiriza;+ naye nneegayirira ku lulwe mu kiseera ekyo. 21 Nnaddira ennyana+ gye mwali mukoze ne mwonoona ne ngyokya mu muliro ne ngibetenta ne ngisekulira ddala n’efuuka ng’enfuufu; oluvannyuma enfuufu yaayo ne ngiyiwa mu mugga ogwali gukulukuta okuva ku lusozi.+

22 “Ate era mwasunguwaza Yakuwa nga muli e Tabera+ n’e Masa+ n’e Kiberosu-kataava.+ 23 Era Yakuwa bwe yabatuma okuva e Kadesi-baneya+ ng’agamba nti, ‘Mugende mutwale ensi gye ŋŋenda okubawa!’ mwajeemera ekiragiro kya Yakuwa Katonda wammwe,+ temwamwesiga+ era temwamugondera. 24 Mubaddenga mujeemera Yakuwa okuviira ddala ku lunaku lwe nnabamanya.

25 “Nnavunnama mu maaso ga Yakuwa okumala ennaku 40 emisana n’ekiro.+ Nnavunnama olw’okuba Yakuwa yali agambye nti agenda kubazikiriza. 26 Era nneegayirira Yakuwa ne ŋŋamba nti, ‘Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, tozikiriza bantu bo, ababo ku bubwo,*+ be wanunula n’obuyinza bwo obungi n’obaggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi.+ 27 Jjukira abaweereza bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.+ Totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano n’obubi bwabwe n’ekibi kyabwe.+ 28 Abantu b’omu nsi mwe watuggya bajja kugamba nti: “Olw’okuba Yakuwa yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza era olw’okuba yali tabaagala kyeyava abatwala abattire mu ddungu.”+ 29 Bantu bo, ababo ku bubwo,*+ be waggyayo n’amaanyi go amangi, era n’omukono gwo ogugoloddwa.’+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share