LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Peetero 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okulamusa (1, 2)

      • Okuzaalibwa obuggya n’okufuna essuubi eddamu (3-12)

      • Mubeerenga batukuvu ng’abaana abawulize (13-25)

1 Peetero 1:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 10:2
  • +Bik 2:5, 9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2018, lup. 14

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2012, lup. 19

    3/15/2012, lup. 21

1 Peetero 1:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 8:29
  • +2Se 2:13
  • +Beb 12:22, 24

1 Peetero 1:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Pe 1:23
  • +Kub 20:6
  • +1Ko 15:20

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2016, lup. 20

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 21

    7/1/2009, lup. 3

1 Peetero 1:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 15:53; 2Ti 1:10; 1Pe 5:4
  • +Yok 14:2; 2Ti 4:8

1 Peetero 1:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2012, lup. 27-31

1 Peetero 1:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ko 4:17; 2Ti 3:12

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2009, lup. 12-13

1 Peetero 1:7

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “alongooseddwa.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yak 1:2, 3
  • +2Se 1:7

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2008, lup. 21

1 Peetero 1:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1997, lup. 27-32

1 Peetero 1:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 6:22

1 Peetero 1:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 13:17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 9

1 Peetero 1:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Dan 9:24-27
  • +Is 53:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 9

1 Peetero 1:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 15:26; Bik 2:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2009, lup. 24

    11/15/2008, lup. 21

1 Peetero 1:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Luk 12:35
  • +Bef 5:17; 1Pe 4:7

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2021, lup. 13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 23

    3/1/2006, lup. 28

1 Peetero 1:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 28:9; Bar 12:1; Beb 12:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2021, lup. 2, 15

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2017, lup. 9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1996, lup. 25-30

1 Peetero 1:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 11:44; 19:2; 20:7, 26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2021, lup. 2, 3-4

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 40

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 77

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2017, lup. 9

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 34-35

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2008, lup. 26

1 Peetero 1:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 10:17
  • +2Ko 7:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1993, lup. 21

1 Peetero 1:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 6:20

1 Peetero 1:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 53:12; Beb 9:14
  • +Kuv 12:5; Lev 22:20; Yok 1:29
  • +1Ko 5:7

1 Peetero 1:20

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Mat 25:34.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 17:5; Bef 1:4
  • +Bak 1:26, 27

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 21

1 Peetero 1:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 14:6
  • +Bik 2:24
  • +Beb 2:9

1 Peetero 1:22

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 12:9; 1Yo 3:17
  • +1Ti 1:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2021, lup. 22

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 56

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 227

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1994, lup. 14

1 Peetero 1:23

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Kwe kugamba, ensigo esobola okuvaamu ebibala.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 6:63; Yak 1:18
  • +Yok 3:3; 2Ko 5:17; 1Pe 1:3; 1Yo 3:9
  • +Yok 3:6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2009, lup. 3

1 Peetero 1:24

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2017, lup. 18-19

1 Peetero 1:25

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 40:6-8
  • +Tit 1:3

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2017, lup. 18-19

Ebirala

1 Peet. 1:1Mat 10:2
1 Peet. 1:1Bik 2:5, 9
1 Peet. 1:2Bar 8:29
1 Peet. 1:22Se 2:13
1 Peet. 1:2Beb 12:22, 24
1 Peet. 1:31Pe 1:23
1 Peet. 1:3Kub 20:6
1 Peet. 1:31Ko 15:20
1 Peet. 1:41Ko 15:53; 2Ti 1:10; 1Pe 5:4
1 Peet. 1:4Yok 14:2; 2Ti 4:8
1 Peet. 1:62Ko 4:17; 2Ti 3:12
1 Peet. 1:7Yak 1:2, 3
1 Peet. 1:72Se 1:7
1 Peet. 1:9Bar 6:22
1 Peet. 1:10Mat 13:17
1 Peet. 1:11Dan 9:24-27
1 Peet. 1:11Is 53:5
1 Peet. 1:12Yok 15:26; Bik 2:4
1 Peet. 1:13Luk 12:35
1 Peet. 1:13Bef 5:17; 1Pe 4:7
1 Peet. 1:15Ma 28:9; Bar 12:1; Beb 12:14
1 Peet. 1:16Lev 11:44; 19:2; 20:7, 26
1 Peet. 1:17Ma 10:17
1 Peet. 1:172Ko 7:1
1 Peet. 1:181Ko 6:20
1 Peet. 1:19Is 53:12; Beb 9:14
1 Peet. 1:19Kuv 12:5; Lev 22:20; Yok 1:29
1 Peet. 1:191Ko 5:7
1 Peet. 1:20Yok 17:5; Bef 1:4
1 Peet. 1:20Bak 1:26, 27
1 Peet. 1:21Yok 14:6
1 Peet. 1:21Bik 2:24
1 Peet. 1:21Beb 2:9
1 Peet. 1:22Bar 12:9; 1Yo 3:17
1 Peet. 1:221Ti 1:5
1 Peet. 1:23Yok 6:63; Yak 1:18
1 Peet. 1:23Yok 3:3; 2Ko 5:17; 1Pe 1:3; 1Yo 3:9
1 Peet. 1:23Yok 3:6
1 Peet. 1:25Is 40:6-8
1 Peet. 1:25Tit 1:3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Peetero 1:1-25

1 Peetero

1 Nze Peetero omutume+ wa Yesu Kristo, mpandiikira abatuuze ab’akaseera obuseera abaasaasaanira mu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya,+ Asiya, ne Bisuniya, abaalondebwa 2 nga Katonda Kitaffe bwe yakimanyirawo,+ era abaatukuzibwa n’omwoyo+ olw’ekigendererwa eky’okubeera abawulize n’olw’okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo:+

Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibongerweko.

3 Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe, kubanga olw’obusaasizi bwe obungi yatuzaala buggya+ ne tuba n’essuubi eddamu+ okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo okuva mu bafu,+ 4 ne tuba n’obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo.+ Obusika obwo bubaterekeddwa mu ggulu,+ 5 mmwe abakuumibwa amaanyi ga Katonda okuyitira mu kukkiriza musobole okufuna obulokozi obugenda okubikkulwa mu kiseera eky’enkomerero. 6 Ekyo kibasanyusa nnyo, wadde nga kaakano okumala akaseera katono, kibeetaagisa okunakuwala olw’okugezesebwa okutali kumu;+ 7 okukkiriza kwammwe okugezeseddwa,+ okw’omuwendo okusinga zzaabu aggwaawo wadde ng’agezesebwa* mu muliro, kulyoke kubaviireko okufuna ettendo n’ekitiibwa mu kubikkulibwa kwa Yesu Kristo.+ 8 Wadde nga temwamulabako, mumwagala. Wadde nga temumulaba kaakano, mumukkiririzaamu era mujjudde essanyu eritalojjeka era eringi ennyo, 9 kubanga muli bakakafu nti olw’okukkiriza kwammwe, mujja kulokolebwa.+

10 Bannabbi abaayogera ebikwata ku kisa eky’ensusso ekyali eky’okubalagibwa, baabuuliriza nnyo era ne banoonyereza n’obwegendereza ku bikwata ku bulokozi buno.+ 11 Baanoonyerezanga ekiseera kyennyini oba ebiro omwoyo ogwabalimu bye gwalaga ku bikwata ku Kristo,+ bwe gwababuulira ng’ekyabula ekiseera ebikwata ku kubonaabona kwa Kristo+ era ne ku bintu eby’ekitiibwa ebyandiddiridde. 12 Kyababikkulirwa nti baali tebeeweereza bokka, wabula nti baali baweereza mmwe, nga bamanyisa ebintu ebirangiriddwa kaakano gye muli okuyitira mu abo abaababuulira amawulire amalungi nga balina omwoyo omutukuvu ogwaweerezebwa okuva mu ggulu.+ Ebintu bino bamalayika nabo baagala nnyo okubitegeera.

13 N’olwekyo, muteeketeeke ebirowoozo byammwe okukola emirimu egy’amaanyi,+ mubeere nga mutegeera bulungi;+ essuubi lyammwe mulisse ku kisa eky’ensusso ekijja okubalagibwa mu kubikkulibwa kwa Yesu Kristo. 14 Ng’abaana abawulize, mulekere awo okugoberera okwegomba kwe mwalina edda nga muli mu butamanya, 15 naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu,+ 16 kubanga kyawandiikibwa nti: “Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.”+

17 Ate era, bwe muba nga mukoowoola Kitaffe asala omusango awatali kusaliriza+ ng’asinziira ku mulimu gwa buli muntu, mweyise mu ngeri eraga okutya+ mu kiseera kino nga muli batuuze ab’akaseera obuseera. 18 Kubanga mukimanyi nti ffeeza oba zzaabu, ebintu ebiggwaawo, si bye byabanunula+ okuva mu mpisa ezitaliimu ze mwafuna ku bajjajjammwe. 19 Naye mwanunulibwa omusaayi ogw’omuwendo,+ ogwa Kristo, ogulinga ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo+ wadde ebbala.+ 20 Kyo kituufu nti yamanyibwa dda ng’ensi tennatandika,*+ naye yamanyisibwa ku nkomerero y’ebiseera ku lwammwe.+ 21 Okuyitira mu ye mukkiririza mu Katonda,+ eyamuzuukiza mu bafu+ n’amuwa ekitiibwa;+ okukkiriza kwammwe n’essuubi bisobole okuba mu Katonda.

22 Kaakano nga bwe mumaze okwetukuza nga mugondera amazima era ng’ekyo kibaviiriddeko okuba n’okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa,+ kale mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.+ 23 Kubanga okuyitira mu kigambo kya Katonda omulamu era abeerawo emirembe gyonna,+ muzaaliddwa buggya,+ si na nsigo evunda+ wabula etavunda.* 24 Kubanga “abantu bonna balinga omuddo, era ekitiibwa kyabwe kyonna kiringa ekimuli eky’oku ttale; omuddo guwotoka, ekimuli kyagwo ne kigwa, 25 naye ekigambo kya Yakuwa* kibeerawo emirembe n’emirembe.”+ Era “ekigambo” kino ge mawulire amalungi agaababuulirwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza