LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Eby’Abaleevi 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Ekiweebwayo eky’emirembe (1-17)

        • Temulya masavu oba omusaayi (17)

Eby’Abaleevi 3:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 22:21; Kbl 6:13, 14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 9-10

Eby’Abaleevi 3:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 7:29-31
  • +Kuv 29:13; Lev 7:23-25; 1Sk 8:64

Eby’Abaleevi 3:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 7:1-4

Eby’Abaleevi 3:5

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 6:12
  • +Lev 4:29, 31

Eby’Abaleevi 3:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kbl 6:13, 14

Eby’Abaleevi 3:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 29:22; Lev 9:18-20; 2By 7:7

Eby’Abaleevi 3:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 4:8, 9; 9:10

Eby’Abaleevi 3:11

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “ng’omugaati,” kwe kugamba, ng’omugabo gwa Katonda ku ssaddaaka ey’emirembe.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 4:31

Eby’Abaleevi 3:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 4:24, 26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 23

Eby’Abaleevi 3:15

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 23

Eby’Abaleevi 3:16

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “omugaati,” kwe kugamba, ng’omugabo gwa Katonda ku ssaddaaka ey’emirembe.

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 7:23; 1Sa 2:15-17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 23

Eby’Abaleevi 3:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 9:4; Lev 17:10, 13; Ma 12:23; Bik 15:20, 29

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 32

    6/1/2004, lup. 20

Ebirala

Leev. 3:1Lev 22:21; Kbl 6:13, 14
Leev. 3:3Lev 7:29-31
Leev. 3:3Kuv 29:13; Lev 7:23-25; 1Sk 8:64
Leev. 3:4Lev 7:1-4
Leev. 3:5Lev 6:12
Leev. 3:5Lev 4:29, 31
Leev. 3:6Kbl 6:13, 14
Leev. 3:9Kuv 29:22; Lev 9:18-20; 2By 7:7
Leev. 3:10Lev 4:8, 9; 9:10
Leev. 3:11Lev 4:31
Leev. 3:14Lev 4:24, 26
Leev. 3:16Lev 7:23; 1Sa 2:15-17
Leev. 3:17Lub 9:4; Lev 17:10, 13; Ma 12:23; Bik 15:20, 29
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 3:1-17

Eby’Abaleevi

3 “‘Bw’anaabanga ow’okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe+ nga ya nte, k’ebe nnume oba nkazi, awangayo eri Yakuwa ensolo ennamu obulungi. 2 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo ey’ekiweebwayo kye, era enettirwanga ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu; batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto. 3 Anaatoolanga ku ssaddaaka ey’emirembe n’awaayo eri Yakuwa+ ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, era bino by’anaawangayo: amasavu+ agabikka ku byenda, amasavu gonna agali ku byenda, 4 n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko agali okumpi n’ekiwato. Ate era anaggyangako ensigo n’amasavu agali ku kibumba.+ 5 Batabani ba Alooni banaabyokeranga ku kyoto kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro;+ kino kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*+

6 “‘Bw’anaabanga ow’okuwaayo eri Yakuwa ssaddaaka ey’emirembe nga ya ndiga oba mbuzi, anaawangayo ensolo ennume oba enkazi ennamu obulungi.+ 7 Bw’anaaleetanga endiga ento ennume ng’ekiweebwayo kye, anaagiwangayo mu maaso ga Yakuwa. 8 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo ey’ekiweebwayo kye, era enettirwanga mu maaso g’omulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. Batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto. 9 Anaawangayo amasavu agaggiddwa ku nsolo eya ssaddaaka ey’emirembe ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.+ Omukira gwonna omusava anaagusaliranga kumpi n’olugongogongo, era anaggyangako amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali ku byenda, 10 n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko agali okumpi n’ekiwato. Ate era anaggyangako ensigo n’amasavu agali ku kibumba.+ 11 Kabona anaabyokeranga ku kyoto ng’emmere,* ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.+

12 “‘Bw’anaabanga ow’okuwaayo embuzi ng’ekiweebwayo, anaagireetanga mu maaso ga Yakuwa. 13 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gwayo, era enettirwanga mu maaso g’omulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, era batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto. 14 By’anaawangayo ng’ekiweebwayo kye eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro bye bino: amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali ku byenda,+ 15 n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko agali okumpi n’ekiwato. Ate era anaggyangako ensigo n’amasavu agali ku kibumba. 16 Kabona anaabyokeranga ku kyoto ng’emmere,* ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eky’evvumbe eddungi.* Amasavu gonna ga Yakuwa.+

17 “‘Temulyanga masavu wadde omusaayi.+ Lino tteeka lya lubeerera lye munaakwatanga mmwe ne bazzukulu bammwe yonna gye munaabeeranga.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza