Isaaya
29 “Zikusanze ggwe Aliyeri,* Aliyeri ekibuga Dawudi mwe yasiisira!+
Mweyongere okukwata embaga zammwe mwaka ku mwaka;
Mukwatenga embaga zammwe.+
2 Naye ndireeta obuyinike ku Aliyeri,+
Era walibaawo okukungubaga n’okukuba ebiwoobe,+
Era gye ndi aliba ng’ekyoto kya Katonda.+
3 Ndisiisira ku njuyi zo zonna,
Ndikuzingiza nga nkozesa olukomera olw’emiti emisongovu,
Era ndikuzimbako ebigo okukuzingiza.+
4 Olissibwa wansi;
Olyogerera mu ttaka,
Era by’oliba oyogera enfuufu eribiremesa okuwulikika obulungi.
Eddoboozi lyo liriwulirwa nga liva mu ttaka+
Ng’eddoboozi ly’omulubaale,
Era ebigambo byo biryogerwa mu kaama okuva mu nfuufu.
5 Ekibinja ky’abalabe bo kiriba ng’enfuufu,+
Ekibinja ky’abo abakutulugunya kiriba ng’ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga.+
Era ekyo kiribaawo mu kaseera buseera, nga tekisuubirwa.+
6 Yakuwa ow’eggye alikununula
Ng’akozesa okubwatuka ne musisi n’eddoboozi eddene,
Ng’akozesa kibuyaga ne kikunta n’ennimi z’omuliro ogusaanyaawo.”+
7 Awo ekibiina ky’amawanga gonna agalwanyisa Aliyeri+
(Abo bonna abakirwanyisa,
Eminaala egisinziirwako okukirwanyisa,
N’abo abakireetera obuyinike)
Kiriba ng’ekirooto; kiriba ng’okwolesebwa okw’ekiro.
8 Kiriba ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya,
Naye n’azuukuka ng’enjala emuluma,
Era ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa amazzi,
Naye n’azuukuka nga mukoowu era ng’ennyonta emuluma.
Bwe kityo bwe kiriba eri ekibiina ky’amawanga gonna
Agalwanyisa Olusozi Sayuuni.+
Batamidde, naye omwenge si gwe gubatamiizizza;
Batagala, naye si lwa kunywa mwenge.
10 Kubanga Yakuwa abafuseeko omwoyo ogw’otulo otungi ennyo;+
Azibye amaaso gammwe, nga bano be bannabbi bammwe,+
Abisse ku mitwe gyammwe, nga bano beebo ababategeeza okwolesebwa.+
11 Gye muli okwolesebwa kwonna kuba ng’ebigambo ebiri mu kitabo ekissiddwako envumbo.+ Bwe bakiwa omuntu amanyi okusoma ne bamugamba nti: “Tukusaba okisome mu ddoboozi ery’omwanguka,” addamu nti: “Sisobola kukisoma, kubanga kissiddwako envumbo.” 12 Era bwe bakiwa oyo atamanyi kusoma ne bamugamba nti: “Tukusaba okisome,” addamu nti: “Simanyi kusoma.”
13 Yakuwa agamba nti: “Abantu bano bantuukirira na mimwa gyabwe
Era banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa;+
Naye emitima gyabwe gindi wala;
Era ebiragiro by’abantu bye baayigirizibwa bye basinziirako okuntya.+
14 N’olwekyo, ndiddamu okukola mu bantu bano ebintu ebyewuunyisa,+
Ndikola ebyewuunyisa bingi nnyo;
Era amagezi g’abasajja baabwe abagezigezi galisaanawo,
N’okutegeera kw’abantu baabwe abagezigezi kulikwekebwa.”+
15 Zibasanze abo abafuba okukweka Yakuwa enteekateeka zaabwe.+
Bye bakola babikolera mu kizikiza,
Nga bwe bagamba nti: “Ani atulaba?
Ani amanyi ebitukwatako?”+
16 Nga munyoolanyoola ebintu!
Omubumbi ayinza okugeraageranyizibwa ku bbumba?+
Ekintu ekyakolebwa kiyinza okwogera ku oyo eyakikola nti:
“Teyankola”?+
Era ekintu ekyabumbibwa kiyinza okwogera ku oyo eyakibumba nti:
“Talina magezi”?+
17 Mu kiseera kitono Lebanooni kijja kufuulibwa ennimiro y’emiti egy’ebibala,+
Era ennimiro eyo ey’emiti egy’ebibala ejja kuba ng’ekibira.+
18 Ku lunaku olwo bakiggala bajja kuwulira ebigambo ebiri mu kitabo,
N’amaaso ga bamuzibe gajja kuva mu kizikiza ekikutte galabe.+
19 Abawombeefu bajja kusanyukira nnyo mu Yakuwa,
N’abaavu mu bantu bajja kujaguliza mu Mutukuvu wa Isirayiri.+
20 Kubanga oyo atulugunya abalala ajja kuggibwawo,
Oyo eyeewaana ajja kuzikirira,
N’abo bonna buli kiseera ababa beetegese okukola ebintu ebirumya abalala bajja kusaanawo,+
21 Abo aboogera eby’obulimba ne baleetera abalala okubaako omusango,
Abatega emitego okukwasa oyo alwanirira abalala mu mulyango gw’ekibuga,+
Era aboogera ebitali bituufu ne balemesa omutuukirivu okusalirwa omusango mu bwenkanya.+
22 N’olwekyo, bw’ati Yakuwa eyanunula Ibulayimu+ bw’agamba ennyumba ya Yakobo:
23 Kubanga bw’aliraba abaana be,
Omulimu gw’emikono gyange, wakati mu ye,+
Balitukuza erinnya lyange,
Balitukuza Omutukuvu wa Yakobo,
Era baliwuniikirira olwa Katonda wa Isirayiri.+
24 Abakakanyavu mu ndowooza balitegeera,
N’abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.”