Eseza
10 Awo Kabaka Akaswero n’atandika okukozesa abantu mu matwale ge gonna emirimu egy’obuddu, ku lukalu ne ku bizinga.
2 Ebintu byonna eby’ekitalo era eby’amaanyi bye yakola ne byonna ebikwata ku bitiibwa kabaka bye yawa Moluddekaayi+ okumugulumiza,+ byawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera+ kya bakabaka ba Bumeedi ne Buperusi.+ 3 Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero era yali mukulu mu Bayudaaya era nga baganda be bamuwa ekitiibwa. Yakola nnyo okulaba nti abantu be baba bulungi era nti ne bazzukulu baabwe bonna baba mu mirembe.