2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
12 Obwakabaka bwa Lekobowaamu olwali okunywera,+ era ng’afuuse wa maanyi, ye n’Abayisirayiri bonna ne baleka Amateeka ga Yakuwa.+ 2 Mu mwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bwa Kabaka Lekobowaamu, Sisaki+ kabaka wa Misiri yalumba Yerusaalemi, kubanga tebaali beesigwa eri Yakuwa. 3 Yalina amagaali 1,200 n’abeebagazi b’embalaasi 60,000; era abantu abajja naye okuva e Misiri baali tebabalika—Abalibiya, Abasukkiyimu n’Abeesiyopiya.+ 4 Yawamba ebibuga bya Yuda ebyaliko bbugwe era n’atuuka n’e Yerusaalemi.
5 Awo Semaaya+ nnabbi n’ajja eri Lekobowaamu n’abaami ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Mundese era nange kyenvudde mbaleka+ mu mukono gwa Sisaki.’” 6 Awo abaami ba Isirayiri ne kabaka ne beetoowaza+ ne bagamba nti: “Yakuwa mutuukirivu.” 7 Yakuwa bwe yalaba nga beetoowazza, Yakuwa n’agamba Semaaya nti: “Beetoowazza. Sijja kubazikiriza,+ era mangu ddala nja kubawonya; sijja kufuka busungu bwange ku Yerusaalemi nga nkozesa Sisaki. 8 Naye bajja kuba baweereza be, balyoke bamanye enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka b’ensi endala.”*
9 Awo Kabaka Sisaki owa Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala eby’obugagga eby’omu nnyumba ya Yakuwa+ n’eby’omu nnyumba* ya kabaka. Yatwala buli kintu, n’atwaliramu n’engabo eza zzaabu Sulemaani ze yakola.+ 10 Awo Kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyazo, n’azikwasa abakulu b’abakuumi,* abaakuumanga ku mulyango oguyingira mu nnyumba ya kabaka. 11 Buli kabaka lwe yajjanga mu nnyumba ya Yakuwa, ng’abakuumi bajja nga bazikwata, ate oluvannyuma nga bazizzaayo mu kisenge ky’abakuumi. 12 Olw’okuba yeetoowaza, Yakuwa yalekera awo okumusunguwalira,+ era teyabazikiririza ddala.+ Ate era, mu Yuda mwalabibwamu ebirungi.+
13 Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi era ne yeeyongera okufuga. Lekobowaamu yalina emyaka 41 we yatandikira okufuga era yafugira emyaka 17 mu Yerusaalemi, ekibuga Yakuwa kye yalonda mu bika bya Isirayiri byonna okuteeka omwo erinnya lye. Nnyina yali ayitibwa Naama, Omwamoni.+ 14 Naye Lekobowaamu yakola ebintu ebibi, kubanga yali tamaliridde mu mutima gwe kunoonya Yakuwa.+
15 Ebyafaayo bya Lekobowaamu, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu bigambo bya nnabbi Semaaya+ ne mu bya Iddo+ eyategeezanga okwolesebwa okwavanga eri Katonda, mu biwandiiko by’ennyiriri z’obuzaale. Era waabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu ekiseera kyonna.+ 16 Awo Lekobowaamu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi,+ era Abiya+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.