LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abiya, kabaka wa Yuda (1-22)

        • Abiya awangula Yerobowaamu (3-20)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:1

Marginal References

  • +1Sk 15:1, 2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:2

Marginal References

  • +2By 11:20, 21
  • +Yos 18:28; 1Sa 10:26
  • +1Sk 15:6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:3

Footnotes

  • *

    Obut., “abalondemu.”

  • *

    Obut., “abalondemu.”

Marginal References

  • +2By 11:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:5

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, endagaano ey’olubeerera etakyuka.

Marginal References

  • +2Sa 7:12, 13; 1By 17:11, 14; Luk 1:32
  • +Lub 49:10; 2Sa 7:8; Zb 78:70, 71
  • +Zb 89:28, 29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:6

Marginal References

  • +2By 10:2
  • +1Sk 11:26, 27; 12:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:8

Marginal References

  • +1Sk 12:26, 28; 2By 11:15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:9

Footnotes

  • *

    Obut., “eyajjanga okujjuza omukono gwe.”

Marginal References

  • +2By 11:14
  • +1Sk 12:31, 33; 13:33

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:10

Marginal References

  • +2By 11:16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:11

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, emigaati egy’okulaga.

Marginal References

  • +Kuv 29:39
  • +Kuv 30:1
  • +Kuv 25:30
  • +Kuv 25:31
  • +Kuv 27:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:12

Marginal References

  • +Kbl 10:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:14

Marginal References

  • +2By 14:11; 18:31

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:17

Footnotes

  • *

    Obut., “abalondemu.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:18

Footnotes

  • *

    Obut., “beesigama ku.”

Marginal References

  • +2Sk 18:1, 5; 1By 5:20; 2By 16:8; Zb 22:5; 37:5; Nak 1:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:19

Marginal References

  • +1Sk 12:28, 29
  • +Yok 11:54

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:20

Marginal References

  • +1Sa 25:38; 1Sk 14:20; Bik 12:21-23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:21

Marginal References

  • +Ma 17:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:22

Marginal References

  • +2By 9:29; 12:15

General

2 Byom. 13:11Sk 15:1, 2
2 Byom. 13:22By 11:20, 21
2 Byom. 13:2Yos 18:28; 1Sa 10:26
2 Byom. 13:21Sk 15:6
2 Byom. 13:32By 11:1
2 Byom. 13:52Sa 7:12, 13; 1By 17:11, 14; Luk 1:32
2 Byom. 13:5Lub 49:10; 2Sa 7:8; Zb 78:70, 71
2 Byom. 13:5Zb 89:28, 29
2 Byom. 13:62By 10:2
2 Byom. 13:61Sk 11:26, 27; 12:20
2 Byom. 13:81Sk 12:26, 28; 2By 11:15
2 Byom. 13:92By 11:14
2 Byom. 13:91Sk 12:31, 33; 13:33
2 Byom. 13:102By 11:16
2 Byom. 13:11Kuv 29:39
2 Byom. 13:11Kuv 30:1
2 Byom. 13:11Kuv 25:30
2 Byom. 13:11Kuv 25:31
2 Byom. 13:11Kuv 27:20
2 Byom. 13:12Kbl 10:9
2 Byom. 13:142By 14:11; 18:31
2 Byom. 13:182Sk 18:1, 5; 1By 5:20; 2By 16:8; Zb 22:5; 37:5; Nak 1:7
2 Byom. 13:191Sk 12:28, 29
2 Byom. 13:19Yok 11:54
2 Byom. 13:201Sa 25:38; 1Sk 14:20; Bik 12:21-23
2 Byom. 13:21Ma 17:17
2 Byom. 13:222By 9:29; 12:15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:1-22

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

13 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu, Abiya yafuuka kabaka wa Yuda.+ 2 Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi, era nnyina yali ayitibwa Mikaaya+ muwala wa Uliyeri ow’e Gibeya.+ Waaliwo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.+

3 Awo Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye ly’abalwanyi ab’amaanyi era abatendeke*+ 400,000. Ne Yerobowaamu najja okumulwanyisa ng’alina eggye ly’abasajja abalwanyi ab’amaanyi era abatendeke* 800,000. 4 Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu oluli mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, n’agamba nti: “Ggwe Yerobowaamu ne Isirayiri yonna mumpulirize. 5 Temumanyi nti Yakuwa Katonda wa Isirayiri yawa Dawudi n’abaana be+ obwakabaka okufuga Isirayiri emirembe gyonna,+ ng’akola naye endagaano ey’omunnyo?*+ 6 Naye Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati, omuweereza wa Sulemaani mutabani wa Dawudi yasituka n’ajeemera mukama we.+ 7 Abasajja abataalina bya kukola era abataalina mugaso ne bakuŋŋaanira w’ali. Beewaggula ku Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu bwe yali akyali muto era ng’alimu okutya, era teyasobola kubalwanyisa.

8 “Kaakano mulowooza nti musobola okulwanyisa obwakabaka bwa Yakuwa obuli mu mukono gw’abaana ba Dawudi, olw’okuba muli kibiina kinene era nga mulina ennyana eza zzaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe.+ 9 Temwagoba bakabona ba Yakuwa,+ bazzukulu ba Alooni, n’Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng’abantu b’ensi endala bwe bakola?+ Oyo yenna eyajjanga* n’ente ento ennume n’endiga ennume musanvu ng’afuuka kabona w’ebyo ebitali katonda. 10 Naye ffe Yakuwa ye Katonda waffe+ era tetumuvangako; era bakabona baffe, bazzukulu ba Alooni, baweereza Yakuwa, n’Abaleevi babayambako mu kukola emirimu. 11 Era bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Yakuwa buli ku makya na buli kawungeezi,+ era banyookeza n’obubaani obw’akaloosa;+ n’emigaati egipangibwa*+ giri ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu, era bakoleeza ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu+ n’ettaala zaakyo buli kawungeezi,+ kubanga tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe eri Yakuwa Katonda waffe, naye mmwe mwamuvaako. 12 Katonda ow’amazima ali naffe era atukulembeddemu ne bakabona be nga bakutte amakondeere ag’okufuuwa mu lutalo nga tulwana nammwe. Mmwe abasajja ba Isirayiri, temulwanyisa Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”+

13 Naye Yerobowaamu n’asindika abateezi babave emabega, eggye lye ne libeera mu maaso ga Yuda, ate abateezi ne baba emabega waabwe. 14 Abasajja ba Yuda bwe baakyuka, ne bakiraba nti olutalo lwabali mu maaso n’emabega. Awo ne bakaabirira Yakuwa+ nga bakabona bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi erya waggulu. 15 Abasajja ba Yuda ne balaya enduulu z’olutalo. Bwe baalaya enduulu z’olutalo, Katonda ow’amazima n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yonna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 16 Abayisirayiri ne badduka Yuda, era Katonda n’abawaayo mu mukono gwabwe. 17 Abiya n’abantu be ne batta bangi nnyo, era abasajja Abayisirayiri 500,000 abatendeke* battibwa. 18 Bwe batyo abasajja ba Isirayiri ne batoowazibwa mu kiseera ekyo. Abasajja ba Yuda baabasinga amaanyi kubanga beesiga* Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.+ 19 Abiya n’awondera Yerobowaamu era n’amuwambako ebibuga bino: Beseri+ n’obubuga obukyetoolodde, Yesana n’obubuga obukyetoolodde, ne Efulayini+ n’obubuga obukyetoolodde. 20 Yerobowaamu teyaddamu kuba wa maanyi mu nnaku za Abiya; era Yakuwa yamubonereza n’afa.+

21 Naye Abiya n’ayongera okuba ow’amaanyi. Era yawasa abakazi 14,+ n’azaala abaana ab’obulenzi 22 n’ab’obuwala 16. 22 Ebyafaayo ebirala byonna ebikwata ku Abiya, ebintu bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu biwandiiko bya nnabbi Iddo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share