1 Samwiri
10 Awo Samwiri n’addira eccupa y’amafuta, n’afuka amafuta ku mutwe+ gwa Sawulo, n’amunywegera, era n’agamba nti: “Yakuwa takufuseeko mafuta obeere omukulembeze+ w’abantu be?+ 2 Bw’onooba ovudde we ndi olwa leero, ojja kusanga abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri+ e Zereza mu kitundu kya Benyamini, era bajja kukugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zizuuliddwa, naye kaakano kitaawo alekedde awo okweraliikirira endogoyi+ n’atandika okweraliikirira mmwe. Agamba nti: “Nnaakola ntya olw’omwana wange?”’ 3 Ojja kuva awo weeyongereyo otuuke ku muti omunene ogw’e Taboli, era eyo ojja kusisinkana abasajja basatu nga bambuka eri Katonda ow’amazima e Beseri,+ ng’omu asitudde embuzi ento ssatu, omulala ng’asitudde emigaati esatu, ate omulala ng’asitudde ensumbi ennene erimu omwenge. 4 Bajja kukubuuza bw’oli, era bakuwe emigaati ebiri, era olina okugikkiriza. 5 Oluvannyuma lw’ekyo, ojja kugenda ku kasozi ka Katonda ow’amazima awali enkambi y’Abafirisuuti. Bw’onootuuka mu kibuga, ojja kusisinkana ekibinja kya bannabbi nga baserengeta okuva ku kifo ekigulumivu; bajja kuba boogera obunnabbi era nga bakulembeddwamu abantu abakuba ebivuga eby’enkoba, n’obugoma obutono, n’endere, n’entongooli. 6 Omwoyo gwa Yakuwa gujja kukuwa amaanyi,+ era ojja kwogera eby’obunnabbi awamu nabo, era okyusibwe obe ng’omuntu omulala.+ 7 Obubonero obwo bwe bunaamala okubaawo, kola kyonna ky’osobola okukola, kubanga Katonda ow’amazima ali naawe. 8 Oluvannyuma ojja kugenda e Girugaali,+ era nja kujja nkusange eyo mpeeyo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe. Ojja kulindirira okumala ennaku musanvu, okutuusa lwe nnajja gy’oli, era nja kukubuulira ky’onookola.”
9 Sawulo olwali okukyuka ave awali Samwiri, Katonda n’atandika okukyusa omutima gwe, era obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. 10 Awo ne bava eyo ne bagenda ku kasozi, ekibinja kya bannabbi ne kimusisinkana. Amangu ago omwoyo gwa Katonda ne gumuwa amaanyi+ n’atandika okwogera eby’obunnabbi+ ng’ali wamu nabo. 11 Abo bonna abaali bamumanyi bwe baamulaba ng’ayogera eby’obunnabbi awamu ne bannabbi, ne bagambagana nti: “Kiki ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?” 12 Awo omusajja ow’omu kifo ekyo n’abuuza nti: “Naye kitaabwe y’ani?” Awo we waava enjogera egamba* nti: “Sawulo naye ali omu ku bannabbi?”+
13 Bwe yamala okwogera eby’obunnabbi, n’agenda ku kifo ekigulumivu. 14 Oluvannyuma muganda wa taata wa Sawulo n’abuuza Sawulo n’omuweereza we nti: “Mwali mulaze wa?” N’amuddamu nti: “Twali tugenze kunoonya ndogoyi,+ era bwe zaatubula ne tugenda eri Samwiri.” 15 Awo muganda wa taata wa Sawulo n’abuuza nti: “Mbuulira, Samwiri yabagambye ki?” 16 Sawulo n’amuddamu nti: “Yatugambye nti endogoyi zaazuuliddwa.” Naye Sawulo teyamubuulira ekyo Samwiri kye yali ayogedde ku by’obwakabaka.
17 Awo Samwiri n’ayita abantu ne bakuŋŋaanira mu maaso ga Yakuwa e Mizupa,+ 18 era n’agamba Abayisirayiri nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Nze nnaggya Isirayiri e Misiri era nze eyabanunula mu mukono gw’Abamisiri+ ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwali bubanyigiriza. 19 Naye olwa leero mwesambye Katonda wammwe+ eyabaggya mu bizibu byammwe byonna ne mu nnaku yammwe yonna, ne mugamba nti: “Tulondere kabaka anaatufuga.” Kale kaakano muyimirire mu maaso ga Yakuwa nga muli mu bika byammwe era nga muli mu bibinja byammwe eby’enkumi.’”
20 Awo Samwiri n’asembeza ebika byonna ebya Isirayiri,+ era ekika kya Benyamini ne kirondebwamu.+ 21 N’asembeza ab’ekika kya Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali, ab’oluggya lwa Materi ne balondebwamu. Oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi yalondebwamu,+ naye bwe baagenda okumunoonya, tebaamulaba. 22 Awo ne beebuuza ku Yakuwa+ nti: “Omusajja oyo waali wano?” Yakuwa n’abaddamu nti: “Ali eri mu migugu yeekwese.” 23 Ne badduka ne bagenda ne bamuggyayo. Bwe yayimirira wakati mu bantu, okuva ku bibegaabega bye okudda waggulu yali asinga abantu abalala bonna obuwanvu.+ 24 Samwiri n’agamba abantu bonna nti: “Mulaba oyo Yakuwa gw’alonze,+ nti tewali muntu alinga ye mu bantu bonna?” Awo abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!”
25 Awo Samwiri n’ategeeza abantu kabaka by’anaabeetaagisanga,+ era n’abiwandiika mu kitabo, n’akissa mu maaso ga Yakuwa. Oluvannyuma Samwiri n’asiibula abantu, buli omu n’addayo ewuwe. 26 Sawulo naye n’addayo ewuwe e Gibeya, ng’awerekerwako abalwanyi Yakuwa be yali akutte ku mutima. 27 Naye abasajja abamu abatalina mugaso ne bagamba nti: “Oyo anaatununula atya?”+ Bwe batyo ne bamunyooma, era ne batamutwalira kirabo kyonna.+ Naye n’atabaako ky’akyogerako.*