LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Manase kabaka wa Yuda; ayiwa omusaayi (1-18)

        • Yerusaalemi kya kuzikirizibwa (12-15)

      • Amoni kabaka wa Yuda (19-26)

2 Bassekabaka 21:1

Marginal References

  • +1By 3:13; Mat 1:10
  • +2By 33:1

2 Bassekabaka 21:2

Marginal References

  • +Ma 12:30, 31; 2By 36:14; Ezk 16:51
  • +2By 33:2-6

2 Bassekabaka 21:3

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2Sk 18:1, 4
  • +2Sk 23:4
  • +1Sk 16:30, 32
  • +Ma 4:19

2 Bassekabaka 21:4

Marginal References

  • +Yer 32:34
  • +Ma 12:5; 2Sa 7:12, 13; 1Sk 8:29; 9:3

2 Bassekabaka 21:5

Marginal References

  • +Ezk 8:16
  • +1Sk 6:36; 7:12

2 Bassekabaka 21:6

Footnotes

  • *

    Obut., “Yayisa.”

Marginal References

  • +Lev 19:26
  • +Lev 20:27; Ma 18:10, 11

2 Bassekabaka 21:7

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2By 33:7-9
  • +2Sk 23:6

2 Bassekabaka 21:8

Marginal References

  • +1By 17:9
  • +Ma 28:1

2 Bassekabaka 21:9

Marginal References

  • +Ma 7:1

2 Bassekabaka 21:10

Marginal References

  • +2By 33:10; 36:15, 16; Yer 7:25; Mat 23:37

2 Bassekabaka 21:11

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.

Marginal References

  • +Lub 15:16
  • +Lev 18:24, 25; 2Sk 23:26; 24:3; Yer 15:4

2 Bassekabaka 21:12

Marginal References

  • +2Sk 22:16, 17; Mi 3:12
  • +Yer 19:3

2 Bassekabaka 21:13

Footnotes

  • *

    Oba, “ekipima obutereevu bw’ekintu.”

Marginal References

  • +Is 28:17; Kuk 2:8
  • +2Sk 17:6; Ezk 23:33
  • +1Sk 21:21; 2Sk 10:11
  • +Yer 25:9

2 Bassekabaka 21:14

Marginal References

  • +Ma 32:9; 2Sk 17:18
  • +Lev 26:25; Ma 28:63

2 Bassekabaka 21:15

Marginal References

  • +Ma 9:21; 31:29; Bal 2:11, 13

2 Bassekabaka 21:16

Marginal References

  • +2Sk 24:3, 4; Yer 2:34; Mat 23:30; Beb 11:37

2 Bassekabaka 21:18

Marginal References

  • +2Sk 21:23, 26

2 Bassekabaka 21:19

Marginal References

  • +Mat 1:10
  • +2By 33:21

2 Bassekabaka 21:20

Marginal References

  • +2By 33:22, 23

2 Bassekabaka 21:21

Marginal References

  • +2Sk 21:1, 3

2 Bassekabaka 21:22

Marginal References

  • +2Sk 22:16, 17; Yer 2:13

2 Bassekabaka 21:24

Marginal References

  • +2By 33:25

2 Bassekabaka 21:26

Marginal References

  • +2Sk 21:18
  • +Mat 1:10

General

2 Bassek. 21:11By 3:13; Mat 1:10
2 Bassek. 21:12By 33:1
2 Bassek. 21:2Ma 12:30, 31; 2By 36:14; Ezk 16:51
2 Bassek. 21:22By 33:2-6
2 Bassek. 21:32Sk 18:1, 4
2 Bassek. 21:32Sk 23:4
2 Bassek. 21:31Sk 16:30, 32
2 Bassek. 21:3Ma 4:19
2 Bassek. 21:4Yer 32:34
2 Bassek. 21:4Ma 12:5; 2Sa 7:12, 13; 1Sk 8:29; 9:3
2 Bassek. 21:5Ezk 8:16
2 Bassek. 21:51Sk 6:36; 7:12
2 Bassek. 21:6Lev 19:26
2 Bassek. 21:6Lev 20:27; Ma 18:10, 11
2 Bassek. 21:72By 33:7-9
2 Bassek. 21:72Sk 23:6
2 Bassek. 21:81By 17:9
2 Bassek. 21:8Ma 28:1
2 Bassek. 21:9Ma 7:1
2 Bassek. 21:102By 33:10; 36:15, 16; Yer 7:25; Mat 23:37
2 Bassek. 21:11Lub 15:16
2 Bassek. 21:11Lev 18:24, 25; 2Sk 23:26; 24:3; Yer 15:4
2 Bassek. 21:122Sk 22:16, 17; Mi 3:12
2 Bassek. 21:12Yer 19:3
2 Bassek. 21:13Is 28:17; Kuk 2:8
2 Bassek. 21:132Sk 17:6; Ezk 23:33
2 Bassek. 21:131Sk 21:21; 2Sk 10:11
2 Bassek. 21:13Yer 25:9
2 Bassek. 21:14Ma 32:9; 2Sk 17:18
2 Bassek. 21:14Lev 26:25; Ma 28:63
2 Bassek. 21:15Ma 9:21; 31:29; Bal 2:11, 13
2 Bassek. 21:162Sk 24:3, 4; Yer 2:34; Mat 23:30; Beb 11:37
2 Bassek. 21:182Sk 21:23, 26
2 Bassek. 21:19Mat 1:10
2 Bassek. 21:192By 33:21
2 Bassek. 21:202By 33:22, 23
2 Bassek. 21:212Sk 21:1, 3
2 Bassek. 21:222Sk 22:16, 17; Yer 2:13
2 Bassek. 21:242By 33:25
2 Bassek. 21:262Sk 21:18
2 Bassek. 21:26Mat 1:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 21:1-26

2 Bassekabaka

21 Manase+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 12, era yafugira emyaka 55 mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Kefuziba. 2 Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga+ Yakuwa ge yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri.+ 3 Yaddamu okuzimba ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yali azikirizza,+ n’azimbira Bbaali ebyoto, era n’akola ekikondo ekisinzibwa,*+ nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola.+ Ate era yavunnamiranga eggye lyonna ery’oku ggulu n’aliweerezanga.+ 4 Ate era yazimba ebyoto mu nnyumba ya Yakuwa,+ Yakuwa gye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.”+ 5 Yazimbira eggye lyonna ery’oku ggulu+ ebyoto mu mpya bbiri ez’ennyumba ya Yakuwa.+ 6 Yayokya* omwana we mu muliro, n’akola eby’obufumu, n’anoonya obubonero okulagulwa,+ era n’assaawo abalubaale n’abalaguzi.+ Yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa, okumusunguwaza.

7 Ekifaananyi ekyole eky’ekikondo ekisinzibwa*+ kye yali akoze yakiteeka mu nnyumba Yakuwa gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti: “Mu nnyumba eno era mu Yerusaalemi kye nnonze mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe nja okuteeka erinnya lyange libeere omwo lubeerera.+ 8 Siriddamu kuleetera Bayisirayiri kuva mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe ne bagenda okubundabunda,+ singa banaafubanga okukwata byonna bye nnabalagira,+ Amateeka gonna Musa omuweereza wange ge yabalagira okugoberera.” 9 Naye tebaawuliriza, era Manase yeeyongera okubawabya, n’abaleetera okukola ebintu ebibi okusinga amawanga Yakuwa ge yasaanyaawo mu maaso g’Abayisirayiri.+

10 Yakuwa yayogeranga ng’ayitira mu baweereza be bannabbi,+ ng’agamba nti: 11 “Manase kabaka wa Yuda akoze ebintu bino byonna eby’omuzizo; akoze ebibi ebisinga eby’Abaamoli+ bonna abaamusookawo,+ era aleetedde ab’omu Yuda okwonoona olw’ebifaananyi bye ebyenyinyaza.* 12 Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Laba ndeeta akabi ku Yerusaalemi+ ne ku Yuda, era buli anaakawulirako amatu gajja kumuwaawaala.+ 13 Nja kuleega ku Yerusaalemi omuguwa gwe nnapimisa+ Samaliya,+ era nja kukozesa bbirigi* gye nnakozesa ku nnyumba ya Akabu,+ era nja kusiimuula Yerusaalemi ng’omuntu bw’asiimuula ebbakuli n’agivuunika.+ 14 Nja kwabulira abaasigalawo ku busika bwange+ era mbaweeyo mu mukono gw’abalabe baabwe, era bajja kutwalibwa mu buwambe n’ebintu byabwe binyagibwe abalabe baabwe bonna,+ 15 kubanga baakola ebintu ebibi mu maaso gange, era bansunguwaza okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe lwe baava mu nsi ya Misiri n’okutuusa leero.’”+

16 Ng’oggyeeko ekibi eky’okuleetera ab’omu Yuda okwonoona nga bakola ebibi mu maaso ga Yakuwa, Manase era yayiwa omusaayi mungi ogw’abantu abataalina musango okutuusa lwe yagujjuza mu Yerusaalemi okuva gy’etandikira okutuuka gy’ekoma.+ 17 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Manase ne byonna bye yakola, awamu n’ebibi bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 18 Awo Manase n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu nnimiro ey’omu lubiri lwe, ennimiro ya Uzza,+ era mutabani we Amoni n’amusikira ku bwakabaka.

19 Amoni+ yalina emyaka 22 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Mesulemesi, muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 Amoni yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga kitaawe Manase bwe yakola.+ 21 Yatambuliranga mu makubo ga kitaawe gonna, era yeeyongera okuweereza n’okuvunnamira ebifaananyi ebyenyinyaza kitaawe bye yaweerezanga.+ 22 Bw’atyo yava ku Yakuwa Katonda wa bajjajjaabe, era teyatambulira mu makubo ga Yakuwa.+ 23 Oluvannyuma abaweereza ba Amoni baamukolera olukwe ne bamuttira mu nnyumba ye. 24 Naye abantu b’omu Yuda ne batta abo bonna abaakola olukwe okutta Kabaka Amoni, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.+ 25 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Amoni, ebyo bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 26 Amoni yaziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza,+ era mutabani we Yosiya+ n’amusikira ku bwakabaka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share