LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 26
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Baagala okutta Yeremiya (1-15)

      • Yeremiya tattibwa (16-19)

        • Bajuliza obunnabbi bwa Mikka (18)

      • Nnabbi Uliya (20-24)

Yeremiya 26:1

Marginal References

  • +2Sk 23:34; 2By 36:4; Yer 25:1; 35:1; 36:1

Yeremiya 26:2

Footnotes

  • *

    Kirabika lino linnya lya Babeeri (Babulooni) eddala.

  • *

    Oba, “eri abantu.”

Yeremiya 26:3

Footnotes

  • *

    Oba, “okuvunnama.”

Marginal References

  • +Is 55:7; Yer 18:7, 8; 36:3; Ezk 18:27

Yeremiya 26:4

Footnotes

  • *

    Oba, “nnejjusa.”

Yeremiya 26:5

Footnotes

  • *

    Oba, “obulagirizi bwe.”

Marginal References

  • +2Sk 17:13, 14; Yer 7:12-14; 25:3

Yeremiya 26:6

Marginal References

  • +Zb 78:60
  • +Yer 24:9

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    4/2017, lup. 7

Yeremiya 26:7

Marginal References

  • +Yer 26:2

Yeremiya 26:10

Footnotes

  • *

    Obut., “mbaddenga nkeera ne ntuma.”

Marginal References

  • +Yer 36:10

Yeremiya 26:11

Marginal References

  • +Yer 18:19, 20
  • +Yer 38:4

Yeremiya 26:12

Marginal References

  • +Yer 1:17

Yeremiya 26:13

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwa.”

Marginal References

  • +Yer 7:3; 36:3; Ezk 18:32; Yon 3:9

Yeremiya 26:18

Footnotes

  • *

    Oba, “yejjuse.”

Marginal References

  • +Mi 1:1
  • +2By 29:1
  • +Zb 79:1; Yer 9:11
  • +Mi 3:12

Yeremiya 26:19

Footnotes

  • *

    Oba, “ng’akasozi akaliko ekibira.”

Marginal References

  • +2By 32:26

Yeremiya 26:20

Marginal References

  • +Yos 15:20, 60; 18:11, 14; 1Sa 7:2

Yeremiya 26:21

Marginal References

  • +2Sk 23:34; 2By 36:5
  • +2By 16:10

Yeremiya 26:22

Marginal References

  • +Yer 36:11, 12

Yeremiya 26:23

Marginal References

  • +Yer 2:30

Yeremiya 26:24

Marginal References

  • +2Sk 22:12, 13; Yer 39:13, 14; 40:5
  • +2Sk 22:10
  • +1Sk 18:4

General

Yer. 26:12Sk 23:34; 2By 36:4; Yer 25:1; 35:1; 36:1
Yer. 26:3Is 55:7; Yer 18:7, 8; 36:3; Ezk 18:27
Yer. 26:52Sk 17:13, 14; Yer 7:12-14; 25:3
Yer. 26:6Zb 78:60
Yer. 26:6Yer 24:9
Yer. 26:7Yer 26:2
Yer. 26:10Yer 36:10
Yer. 26:11Yer 18:19, 20
Yer. 26:11Yer 38:4
Yer. 26:12Yer 1:17
Yer. 26:13Yer 7:3; 36:3; Ezk 18:32; Yon 3:9
Yer. 26:18Mi 1:1
Yer. 26:182By 29:1
Yer. 26:18Zb 79:1; Yer 9:11
Yer. 26:18Mi 3:12
Yer. 26:192By 32:26
Yer. 26:20Yos 15:20, 60; 18:11, 14; 1Sa 7:2
Yer. 26:212Sk 23:34; 2By 36:5
Yer. 26:212By 16:10
Yer. 26:22Yer 36:11, 12
Yer. 26:23Yer 2:30
Yer. 26:242Sk 22:12, 13; Yer 39:13, 14; 40:5
Yer. 26:242Sk 22:10
Yer. 26:241Sk 18:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 26:1-24

Yeremiya

26 Ku ntandikwa y’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu owa Yuda,+ mutabani wa Yosiya, Yakuwa yayogera ne Yeremiya n’amugamba nti: 2 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya Yakuwa oyogere ebikwata ku bantu* bonna ab’omu bibuga bya Yuda abajja mu nnyumba ya Yakuwa okusinza.* Bagambe byonna bye nkulagira; tolekaayo kigambo na kimu. 3 Oboolyawo banaawuliriza, buli omu n’aleka ekkubo lye ebbi, nange ne nkyusa ekirowoozo* ne sireeta kabi ke mbadde ŋŋenda okubatuusaako olw’ebikolwa byabwe ebibi.+ 4 Bagambe nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Bwe mutampulirize, ne mugaana okugoberera amateeka ge* nnabawa, 5 era ne mugaana okuwuliriza ebigambo by’abaweereza bange bannabbi, be nzize mbatumira enfunda n’enfunda,* naye ne mutabawuliriza,+ 6 ennyumba eno nja kugifuula nga Siiro,+ era ekibuga kino nja kukifuula ekintu eky’okukolimirwa amawanga gonna ag’oku nsi.’”’”+

7 Bakabona ne bannabbi n’abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng’ayogera ebigambo ebyo mu nnyumba ya Yakuwa.+ 8 Yeremiya bwe yamala okwogera ebyo byonna Yakuwa bye yali amulagidde okwogera eri abantu bonna, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti: “Oli wa kuttibwa. 9 Lwaki olagudde mu linnya lya Yakuwa ng’ogamba nti, ‘Ennyumba eno ejja kufuuka nga Siiro, era ekibuga kino kijja kuzikirizibwa kireme kusigalamu muntu n’omu’?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Yakuwa.

10 Abaami b’omu Yuda bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bava mu nnyumba ya* kabaka ne bajja mu nnyumba ya Yakuwa ne batuula ku mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Yakuwa.+ 11 Bakabona ne bannabbi ne bagamba abaami n’abantu bonna nti: “Omusajja ono agwanidde okuttibwa+ olw’okuba alagudde akabi ku kibuga kino nga nammwe bwe muwulidde n’amatu gammwe.”+

12 Yeremiya n’agamba abaami bonna n’abantu bonna nti: “Yakuwa ye yantuma okulagula ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebyo byonna bye muwulidde.+ 13 Kale mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe era mugondere eddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe, Yakuwa akyuse ekirowoozo* aleme okuleeta akabi ke yagamba okubatuusaako.+ 14 Naye nze ndi mu mikono gyammwe. Munkole kyonna kye mulaba nga kirungi era nga kisaanidde mu maaso gammwe. 15 Kyokka mukimanye nti bwe munzita mujja kwereetako omusaayi ogutaliiko musango, muguleete ne ku kibuga kino, ne ku bakibeeramu, kubanga ekituufu kiri nti Yakuwa ye yantuma gye muli okwogera ebigambo ebyo byonna bye muwulidde.”

16 Awo abaami n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti: “Omusajja ono tagwanidde kuttibwa kubanga ayogedde gye tuli mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe.”

17 Ate era abamu ku bakadde ab’omu nsi ne basituka ne boogera eri ekibiina ky’abantu kyonna nti: 18 “Mikka+ ow’e Moleseesi yalagula mu kiseera kya Kabaka Keezeekiya+ owa Yuda, era n’agamba abantu bonna ab’omu Yuda nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:

“Sayuuni lulikabalwa ng’ennimiro,

Yerusaalemi kirifuuka ntuumu ya bifunfugu,+

Era olusozi lw’Ennyumba lulifuuka ng’ebifo ebigulumivu eby’omu kibira.”’*+

19 “Kabaka Keezeekiya owa Yuda n’abantu b’omu Yuda bonna baamutta? Teyatya Yakuwa era n’asaba Yakuwa abasaasire, Yakuwa n’akyusa ekirowoozo* n’ataleeta kabi ke yali agambye okubatuusaako?+ N’olwekyo tugenda kwereetako akabi ak’amaanyi.

20 “Ate era waaliwo omusajja omulala eyalagula mu linnya lya Yakuwa, Uliya mutabani wa Semaaya ow’e Kiriyasu-yalimu,+ eyayogera ku kibuga kino ne ku nsi eno ebigambo ebifaananako ebya Yeremiya. 21 Kabaka Yekoyakimu+ n’abasajja be bonna ab’amaanyi n’abaami bonna bwe baawulira ebigambo bye yayogera, kabaka n’ayagala okumutta.+ Uliya bwe yakimanya n’atya n’addukira e Misiri. 22 Kabaka Yekoyakimu yatuma Erunasani+ mutabani wa Akubooli n’abasajja abalala e Misiri, 23 ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri Kabaka Yekoyakimu, n’amutta n’ekitala+ n’asuula omulambo gwe mu kifo omuziikibwa abantu aba bulijjo.”

24 Naye Akikamu+ mutabani wa Safani+ yayamba Yeremiya, n’ataweebwayo mu mikono gy’abantu okuttibwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share