LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakuwa tajja kukyusa musango gw’asaze (1-9)

      • Yeremiya yeemulugunya (10)

      • Yakuwa amuddamu (11-14)

      • Essaala ya Yeremiya (15-18)

        • Afuna essanyu mu kulya ebigambo bya Katonda (16)

      • Yakuwa agumya Yeremiya (19-21)

Yeremiya 15:1

Marginal References

  • +Kuv 32:11; 1Sa 7:9; Zb 99:6; 106:23

Yeremiya 15:2

Marginal References

  • +Ezk 5:2
  • +Ezk 12:11

Yeremiya 15:3

Marginal References

  • +Ezk 14:21
  • +Ma 28:26; Yer 7:33

Yeremiya 15:4

Marginal References

  • +Ma 28:15, 25; Yer 24:9; Ezk 23:46
  • +2Sk 21:11; 23:26; 24:3, 4

Yeremiya 15:6

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “otambula odda kyennyumannyuma.”

  • *

    Oba, “okwejjusa ku lulwo.”

Marginal References

  • +Yer 2:13
  • +Is 1:4
  • +Zef 1:4

Yeremiya 15:7

Marginal References

  • +Ma 28:15, 18; Yer 9:21; Ezk 24:21
  • +Yer 5:3

Yeremiya 15:9

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kikwatiddwa ensonyi era kiswadde.”

Marginal References

  • +Yer 44:27; Ezk 5:12

Yeremiya 15:10

Marginal References

  • +Yer 20:14

Yeremiya 15:13

Marginal References

  • +Yer 20:5

Yeremiya 15:14

Marginal References

  • +Lev 26:38; Yer 16:13
  • +Ma 32:22; Is 42:24, 25; Yer 17:4

Yeremiya 15:15

Footnotes

  • *

    Obut., “Tonzigyaawo.”

Marginal References

  • +Yer 11:20; 12:3; 17:18; 37:15
  • +Zb 69:7

Yeremiya 15:16

Marginal References

  • +Ezk 3:1-3; Kub 10:9, 10

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 47

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    5/2017, lup. 20

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2011, lup. 30

    4/1/2007, lup. 10

Yeremiya 15:17

Marginal References

  • +Zb 1:1
  • +Yer 20:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 10

    5/1/2004, lup. 21-22

    4/1/1993, lup. 19

Yeremiya 15:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 9

Yeremiya 15:19

Footnotes

  • *

    Oba, “kuba omwogezi wange.”

Yeremiya 15:20

Marginal References

  • +Yer 1:18; Ezk 3:9
  • +Yer 20:11

General

Yer. 15:1Kuv 32:11; 1Sa 7:9; Zb 99:6; 106:23
Yer. 15:2Ezk 5:2
Yer. 15:2Ezk 12:11
Yer. 15:3Ezk 14:21
Yer. 15:3Ma 28:26; Yer 7:33
Yer. 15:4Ma 28:15, 25; Yer 24:9; Ezk 23:46
Yer. 15:42Sk 21:11; 23:26; 24:3, 4
Yer. 15:6Yer 2:13
Yer. 15:6Is 1:4
Yer. 15:6Zef 1:4
Yer. 15:7Ma 28:15, 18; Yer 9:21; Ezk 24:21
Yer. 15:7Yer 5:3
Yer. 15:9Yer 44:27; Ezk 5:12
Yer. 15:10Yer 20:14
Yer. 15:13Yer 20:5
Yer. 15:14Lev 26:38; Yer 16:13
Yer. 15:14Ma 32:22; Is 42:24, 25; Yer 17:4
Yer. 15:15Yer 11:20; 12:3; 17:18; 37:15
Yer. 15:15Zb 69:7
Yer. 15:16Ezk 3:1-3; Kub 10:9, 10
Yer. 15:17Zb 1:1
Yer. 15:17Yer 20:8
Yer. 15:20Yer 1:18; Ezk 3:9
Yer. 15:20Yer 20:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 15:1-21

Yeremiya

15 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Musa ne Samwiri ne bwe bandibadde nga bayimiridde mu maaso gange,+ sandisaasidde bantu bano. Bagobe mu maaso gange bagende. 2 Bwe banaakugamba nti, ‘Tulage wa?’ ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Ow’okufa endwadde, agende eri endwadde!

Ow’okufa ekitala, agende eri ekitala!+

Ow’okufa enjala, agende eri enjala!

Era ow’okuwambibwa, agende mu buwambe!”’+

3 “‘Era nja kubaleetera ebibonyoobonyo bina,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘ekitala okutta, embwa okuwalula, n’ebinyonyi n’ensolo okulya n’okuzikiriza.+ 4 Era nja kubafuula ekintu eky’entiisa eri obwakabaka bwonna obw’omu nsi+ olw’ebyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda, bye yakola mu Yerusaalemi.+

 5 Ani anaakusaasira, ggwe Yerusaalemi,

Ani anaakulumirirwa,

Era ani anaakyama okubuuza bw’oli?’

 6 ‘Onvuddeko,’ Yakuwa bw’agamba.+

‘Onkuba amabega.*+

Nja kukugololera omukono nkuzikirize.+

Nkooye okukukwatirwa ekisa.*

 7 Era nja kubawewa ng’omuntu bw’awewa emmere ey’empeke ku miryango gy’ensi.

Nja kutta abaana bammwe.+

Nja kuzikiriza abantu bange,

Olw’okuba bagaanye okuleka amakubo gaabwe.+

 8 Bannamwandu baabwe bajja kuba bangi gye ndi okusinga omusenyu oguli mu nnyanja.

Nja kuleeta omuzikiriza ku bamaama ne ku bavubuka mu ttuntu.

Nja kubaleetera okweraliikirira n’entiisa nga tebabisuubira.

 9 Omukazi eyazaala abaana omusanvu aweddemu amaanyi;

Awejjawejja.

Enjuba ye egudde nga bukyali misana,

N’aswala era n’afeebezebwa.’*

‘N’abatono abanaaba basigaddewo ku bo

Nja kubawaayo eri ekitala mu maaso g’abalabe baabwe,’ Yakuwa bw’agamba.”+

10 Zinsanze nze mmange, olw’okuba wanzaala,+

Ndi muntu ayomba era awakana n’ensi yonna buli kiseera.

Siwolangako era seewolangako;

Naye bonna bankolimira.

11 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Nja kukukolera ebirungi;

Nja kukuyamba mu biseera ebizibu,

Nja kukuyamba mu biseera eby’obuyinike omulabe aleme kukutuusaako kabi.

12 Waliwo omuntu yenna asobola okumenyaamenya ekyuma,

Ekyuma ekiva ebukiikakkono, era n’ekikomo?

13 Eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo nja kubiwaayo ng’omunyago,+

Nja kubiwaayo ku bwereere, olw’ebibi byonna by’okoze mu bitundu by’ensi yo byonna.

14 Nja kubiwa abalabe bo

Babitwale mu nsi gy’otomanyi.+

Kubanga obusungu bwange bukoleezezza omuliro,

Era gubookya.”+

15 Omanyi embeera gye ndimu, Ai Yakuwa,

Nzijukira onnyambe.

Ku lwange woolera eggwanga ku abo abanjigganya.+

Tondeka kuzikirira* olw’okuba olwawo okusunguwala.

Kimanye nti nvumibwa olw’erinnya lyo.+

16 Ebigambo byo nnabifuna ne mbirya;+

Era ekigambo kyo kyafuuka gye ndi okusanyuka n’okujaguza mu mutima gwange,

Kubanga mpitiddwa erinnya lyo, Ai Yakuwa Katonda ow’eggye.

17 Situula wamu n’abantu abali mu binyumu ne nsanyuka.+

Olw’okuba omukono gwo guli ku nze, ntuula nzekka,

Onzijuzza obusungu.+

18 Lwaki mbeera mu bulumi buli kiseera? Era lwaki ekiwundu kyange tekiwona?

Kigaanye okuwona.

Onooba gye ndi ng’ensulo ey’amazzi ey’obulimba

Etayinza kwesigika?

19 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Bw’onookomawo nja kukuzza gye ndi,

Era ojja kuyimirira mu maaso gange.

Bw’onooyawula eky’omuwendo ku kitali kya mugaso,

Ojja kuba ng’akamwa kange.*

Bajja kudda gy’oli,

Naye ggwe tojja kudda gye bali.”

20 “Ŋŋenda kukufuula bbugwe ow’ekikomo eri abantu bano.+

Bajja kukulwanyisa,

Naye tebajja kukuwangula,+

Kubanga ndi wamu naawe okukulokola n’okukununula,” Yakuwa bw’agamba.

21 “Nja kukulokola mu mukono gw’ababi

Era nja kukununula mu mukono gw’abakambwe.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share