1 Samwiri
7 Awo abantu b’e Kiriyasu-yalimu ne bagenda ne batwala Essanduuko ya Yakuwa mu nnyumba ya Abinadaabu+ eyali ku kasozi, era ne balonda* Eriyazaali mutabani we okukuuma Essanduuko ya Yakuwa.
2 Okuva ku lunaku Essanduuko lwe yatwalibwa e Kiriyasu-yalimu, waayitawo ekiseera kiwanvu, ne giwerera ddala emyaka 20, era ennyumba ya Isirayiri yonna yatandika okunoonya* Yakuwa.+ 3 Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti: “Bwe muba nga mukomawo eri Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna,+ muggye mu mmwe bakatonda abalala+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi,+ mumalire emitima gyammwe ku Yakuwa era muweereze ye yekka,+ naye ajja kubanunula mu mukono gw’Abafirisuuti.”+ 4 Awo Abayisirayiri ne beggyako ebifaananyi bya Babbaali n’ebya Asutoleesi ne baweereza Yakuwa yekka.+
5 Awo Samwiri n’agamba nti: “Mukuŋŋaanyize Abayisirayiri bonna e Mizupa,+ mbasabire eri Yakuwa.”+ 6 Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi ne bagayiwa mu maaso ga Yakuwa ne basiiba ku lunaku olwo.+ Ne boogerera eyo nti: “Twonoonye mu maaso ga Yakuwa.”+ Awo Samwiri n’atandika okulamula+ Abayisirayiri e Mizupa.
7 Abafirisuuti bwe baawulira nti Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti+ ne bagenda okulwanyisa Isirayiri. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya olw’Abafirisuuti. 8 Abayisirayiri ne bagamba Samwiri nti: “Tolekera awo kukoowoola Yakuwa Katonda waffe kutuyamba+ na kutununula mu mukono gw’Abafirisuuti.” 9 Awo Samwiri n’addira endiga ento eyonka n’agiwaayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekyokebwa;+ Samwiri n’akoowoola Yakuwa ayambe Isirayiri, era Yakuwa n’amwanukula.+ 10 Samwiri bwe yali awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne bajja okulwana ne Isirayiri. Yakuwa n’aleetera eggulu okubwatukira+ Abafirisuuti ku lunaku olwo, n’abaleetera okukyankalana,+ Abayisirayiri ne babawangula.+ 11 Awo abasajja ba Isirayiri ne bava e Mizupa ne bawondera Abafirisuuti ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ebukiikaddyo wa Besu-kali. 12 Samwiri n’addira ejjinja+ n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Yesana n’alituuma Ebenezeri,* kubanga yagamba nti: “Yakuwa atuyambye+ okutuusa kaakano.” 13 Bwe batyo Abafirisuuti ne bawangulwa, era tebaddamu kulumba nsi ya Isirayiri;+ omukono gwa Yakuwa gweyongera okuba ku Bafirisuuti ennaku za Samwiri zonna.+ 14 N’ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali bawambye ku Isirayiri, byaddizibwa Isirayiri, okuva e Ekulooni okutuuka e Gaasi, era Isirayiri yanunula n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga ebyo okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.
Ate era waaliwo emirembe wakati wa Isirayiri n’Abaamoli.+
15 Samwiri yalamula Isirayiri obulamu bwe bwonna.+ 16 Buli mwaka yagendanga e Beseri,+ e Girugaali,+ n’e Mizupa,+ era yalamuliranga Isirayiri mu bifo ebyo byonna. 17 Naye yaddangayo e Laama,+ kubanga eyo we waali ennyumba ye, era nayo yalamulirangayo Abayisirayiri. Yazimbirayo Yakuwa ekyoto.+