Koseya
13 “Efulayimu bwe yayogeranga, ng’abantu bakankana;
Yali mukulu nnyo mu Isirayiri.+
Naye yasinza Bbaali,+ bw’atyo n’abaako omusango era n’afa.
2 Kaakano beeyongera okwonoona
Nga bakola ebifaananyi* mu ffeeza waabwe,+
Bakola ebifaananyi mu ngeri ey’obukugu; byonna mulimu gwa bakozi.
Bagamba nti, ‘Abasajja abawaayo ssaddaaka ka banywegere ennyana.’+
3 Kale baliba ng’ebire eby’oku makya,
Baliba ng’omusulo ogukala amangu;
Baliba ng’ebisusunku embuyaga by’etwala okuva mu gguuliro,
Era baliba ng’omukka oguyita mu kituli eky’oku kasolya.
4 Naye nze Yakuwa Katonda wo okuviira ddala ng’okyali mu nsi ya Misiri;+
Tewaali Katonda mulala gwe wali omanyi okuggyako nze,
Era tewaali mulokozi okuggyako nze.+
5 Nze nnakumanya ng’oli mu ddungu,+ mu nsi ey’ekyeya.
6 Baalya omuddo gwabwe ne bakkuta,+
Bakkuta omutima gwabwe ne gwegulumiza.
Bwe batyo ne banneerabira.+
7 Ndibeera gye bali ng’empologoma envubuka.+
Ng’engo eteeze ku kkubo.
8 Ndibaŋŋanga ng’eddubu eribuliddwako abaana baalyo,
Era ndiyuza ekifuba kyabwe.*
Ndibakavvula ng’empologoma;
Ensolo ey’omu nsiko eribayuzaayuza.
9 Erikuzikiriza ggwe Isirayiri,
Kubanga wanvaako nze omuyambi wo.
10 Kale kabaka wo ali ludda wa akulokole mu bibuga byo byonna,+
Era n’abafuzi* bo be wayogerako ng’ogamba nti,
‘Mpa kabaka n’abaami’?+
12 Okwonoona kwa Efulayimu kusibiddwako;*
Ekibi kye kiterekeddwa.
13 Obulumi bw’omukazi alumwa okuzaala bulimujjira.
Naye mwana atalina magezi;
Ekiseera ky’okumuzaala bwe kituuka, teyessa w’alina okufulumira mu lubuto.
Ggwe Okufa, obulumi bwo buli wa?+
Ggwe Amagombe,* okuzikiriza kwo kuli wa?+
Sirisaasira.
15 Ne bw’alitinta mu bisaalu,
Empewo ey’ebuvanjuba, empewo ya Yakuwa, erijja.
Erijja okuva mu ddungu n’ekaliza oluzzi lwe n’ensulo ye.
Oyo alinyaga etterekero ly’ebintu bye byonna ebirungi.+
16 Samaliya kiribaako omusango,+ kubanga kyajeemera Katonda waakyo.+