Yoswa
21 Awo abakulu b’empya z’Abaleevi ne batuukirira Eriyazaali+ kabona, Yoswa mutabani wa Nuuni, n’abakulu b’ebika by’Abayisirayiri, 2 ne boogera nabo mu Siiro+ mu nsi ya Kanani, ne babagamba nti: “Yakuwa yalagira okuyitira mu Musa nti tuweebwe ebibuga eby’okubeeramu n’amalundiro ag’okulundirako ebisolo byaffe.”+ 3 Awo Abayisirayiri ne baggya ku busika bwabwe+ ne bawa Abaleevi ebibuga+ n’amalundiro gaabyo, nga Yakuwa bwe yalagira.
4 Akalulu ne kagwa ku b’empya z’Abakokasi,+ era Abaleevi abaali bazzukulu ba Alooni kabona baaweebwa ebibuga 13 okuva mu kika kya Yuda,+ mu kika kya Simiyoni,+ ne mu kika kya Benyamini,+ okuyitira mu kukuba akalulu.
5 Abakokasi abalala baaweebwa* ebibuga kkumi okuva mu mpya z’ekika kya Efulayimu,+ ekika kya Ddaani, n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase.+
6 Abagerusoni+ baaweebwa ebibuga 13 okuva mu mpya z’ekika kya Isakaali, ekika kya Aseri, ekika kya Nafutaali, n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase mu Basani.+
7 Abamerali+ okusinziira ku mpya zaabwe baaweebwa ebibuga 12 okuva mu kika kya Lewubeeni, okuva mu kika kya Gaadi, n’okuva mu kika kya Zebbulooni.+
8 Bwe batyo Abayisirayiri, okuyitira mu kukuba akalulu, ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo n’amalundiro gaabyo, nga Yakuwa bwe yalagira okuyitira mu Musa.+
9 Gano ge mannya g’ebibuga ebyabaweebwa+ okuva mu kika kya Yuda, n’okuva mu kika kya Simiyoni; 10 ebibuga ebyo byaweebwa abaana ba Alooni, ab’empya z’Abakokasi ez’Abaleevi, kubanga akalulu akaasooka kaagwa ku bo. 11 Baabawa Kiriyasu-aluba+ (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki); Kiriyasu-aluba, kwe kugamba, Kebbulooni,+ ekiri mu kitundu kya Yuda eky’ensozi, n’amalundiro agakyetoolodde; 12 naye ebitundu ebiri ebweru w’ekibuga n’ebyalo byakyo baabiwa Kalebu mutabani wa Yefune.+
13 Abaana ba Alooni kabona baaweebwa ekibuga ekyali eky’okuddukirangamu oyo eyandibaddenga asse omuntu,+ nga kino kye kibuga Kebbulooni+ n’amalundiro gaakyo. Ate era baaweebwa Libuna+ n’amalundiro gaakyo, 14 Yattiri+ n’amalundiro gaakyo, Esutemowa+ n’amalundiro gaakyo, 15 Koloni+ n’amalundiro gaakyo, Debiri+ n’amalundiro gaakyo, 16 Ayini+ n’amalundiro gaakyo, Yuta+ n’amalundiro gaakyo, ne Besu-semesi n’amalundiro gaakyo—ebibuga mwenda okuva mu bika ebyo ebibiri.
17 Okuva mu kika kya Benyamini baaweebwa Gibiyoni+ n’amalundiro gaakyo, Geba n’amalundiro gaakyo,+ 18 Anasosi+ n’amalundiro gaakyo, Alumoni n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
19 Ebibuga byonna ebyaweebwa bazzukulu ba Alooni bakabona, byali 13 n’amalundiro gaabyo.+
20 Okuyitira mu kukuba akalulu, Abaleevi ab’omu mpya z’Abakokasi abaali basigaddewo, baaweebwa ebibuga okuva mu kika kya Efulayimu. 21 Baabawa ekibuga ekyali eky’okuddukirangamu oyo eyandibaddenga asse omuntu,+ nga kino kye kibuga Sekemu+ ekiri mu kitundu ekya Efulayimu eky’ensozi n’amalundiro gaakyo. Ate era baaweebwa Gezeri+ n’amalundiro gaakyo, 22 Kibuzayimu n’amalundiro gaakyo, ne Besu-kolooni+ n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
23 Okuva mu kika kya Ddaani baaweebwa Eruteke n’amalundiro gaakyo, Gibbesoni n’amalundiro gaakyo, 24 Ayalooni+ n’amalundiro gaakyo, Gasu-limmoni n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
25 Okuva mu kitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase baaweebwa Taanaki+ n’amalundiro gaakyo, ne Gasu-limmoni n’amalundiro gaakyo—ebibuga bibiri.
26 Ebibuga byonna n’amalundiro gaabyo ab’empya z’Abakokasi abalala bye baafuna byali kkumi.
27 Okuva mu kitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase, Abagerusoni,+ ab’omu mpya z’Abaleevi baaweebwa ekibuga ekyali eky’okuddukirangamu oyo eyandibaddenga asse omuntu, nga kino kye kibuga Golani+ eky’omu Basani n’amalundiro gaakyo. Ate era baaweebwa n’ekibuga Beesutera n’amalundiro gaakyo—ebibuga bibiri.
28 Okuva mu kika kya Isakaali+ baaweebwa Kisiyoni n’amalundiro gaakyo, Daberasi+ n’amalundiro gaakyo, 29 Yalamusi n’amalundiro gaakyo, ne Eni-gannimu n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
30 Okuva mu kika kya Aseri+ baaweebwa Misali n’amalundiro gaakyo, Abudoni n’amalundiro gaakyo, 31 Kerukasi+ n’amalundiro gaakyo, ne Lekobu+ n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
32 Okuva mu kika kya Nafutaali baaweebwa ekibuga ekyali eky’okuddukirangamu+ oyo eyandibaddenga asse omuntu, nga kino kye kibuga Kedesi+ eky’omu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo. Ate era baaweebwa Kammosu-doli n’amalundiro gaakyo, era ne Kalutani n’amalundiro gaakyo—ebibuga bisatu.
33 Ebibuga byonna ebyaweebwa Abagerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali byali 13 n’amalundiro gaabyo.
34 Ab’empya z’Abamerali,+ Abaleevi abalala, baaweebwa ebibuga okuva mu kika kya Zebbulooni,+ Yokuneyamu+ n’amalundiro gaakyo, Kaluta n’amalundiro gaakyo, 35 Dimuna n’amalundiro gaakyo, ne Nakalali+ n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
36 Okuva mu kika kya Lewubeeni baaweebwa Bezeri+ n’amalundiro gaakyo, Yakazi n’amalundiro gaakyo,+ 37 Kedemosi n’amalundiro gaakyo, ne Mefaasi n’amalundiro gaakyo—ebibuga bina.
38 Okuva mu kika kya Gaadi+ baaweebwa ekibuga ekyali eky’okuddukirangamu oyo eyandibaddenga asse omuntu, nga kino kye kibuga Lamosi eky’omu Gireyaadi+ n’amalundiro gaakyo. Ate era baaweebwa Makanayimu+ n’amalundiro gaakyo, 39 Kesuboni+ n’amalundiro gaakyo, ne Yazeri+ n’amalundiro gaakyo—ebibuga byonna awamu byali bina.
40 Ebibuga byonna ebyaweebwa Abamerali ng’empya zaabwe bwe zaali, nga be b’empya z’Abaleevi abalala, byali ebibuga 12.
41 Ebibuga byonna Abaleevi bye baafuna mu busika bw’Abayisirayiri byali ebibuga 48 awamu n’amalundiro gaabyo.+ 42 Buli kimu ku bibuga ebyo kyalina ettaka erikyetoolodde ery’okulundirako.
43 Bw’atyo Yakuwa n’awa Isirayiri ensi yonna gye yalayira okuwa bajjajjaabwe,+ ne bagirya era ne bagibeeramu.+ 44 Ate era Yakuwa yabawa ekiwummulo ku njuyi zonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe,+ era tewali n’omu ku balabe baabwe eyasobola okubaŋŋanga.+ Abalabe baabwe bonna Yakuwa yabawaayo mu mukono gwabwe.+ 45 Tewali kisuubizo* na kimu ekitaatuukirira ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa bye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri; byonna byatuukirira.+